TOP

Bamukutte ku by’okutta Omuchina

By Musasi wa Bukedde

Added 10th September 2017

Bamukutte ku by’okutta Omuchina

Ye1 703x422

POLIISI ekutte omusajja agambibwa okusika emmanduso n’atta omukazi Omuchina ku kkolero ly’amabaati erya Nile Still and Plastics e Nangwa - Mukono ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.

Ekitongole kya poliisi ekikola ku misango eminene ekya Flying Squad, kyakutte Peter Waluda oluusi eyeeyita Robert Katara nga yasangiddwa yeekukumye Bugoloobi mu Kampala.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Asan Kasingye yagambye nti, tebalina kubuusabuusa kwonna ku muntu gwe baakutte kubanga n’essaati gye yalimu ku Lwokutaano nga September 1, 2017 lwe baakuba Yond Yung Ye Su 50, amasasi era gye baamusanzeemu. Akatambi ka kkamera za kkampuni ke baakozesezza okuzuula Waluda.

Waluda n’abalala be baasooka okukwata bagguddwaako emisango ku fayiro CRB 1133/2017 e Mukono

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Br1 220x290

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto...

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto Gama De Olivieira amanyiddwa nga Bebeto eyali emmunyenye ya Brazil

Carol 220x290

Omwawule akoze siteetimenti ekontana...

REV. Isaac Mwesigwa bwe yaggyiddwa e Soroti yatwaliddwa butereevu ku kitebe kya poliisi e Naggulu mu Kampala n’akola...

Jit1 220x290

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka...

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka abagambibwa okukuliramu okwekalakaasa e Kawempe

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...

Abazibizi bayambye KCCA okusigala...

ABAZIBIZI ba KCCA okuli Peter Magambo ne Filbert Obenchan beetisse olunaku oluvanyuma lw'okuteebera ttiimu yaabwe...