TOP

Katenda Luutu asuddewo abaana be

By Musasi wa Bukedde

Added 10th September 2017

Katenda Luutu asuddewo abaana be

Yr1 703x422

Katenda Luutu.

NNAALONGO atutte omukungu wa ofiisi ya Pulezidenti ku poliisi ng’amulumiriza okumuzaalamu abaana basatu n’amusuulawo nga tamuwadde buyambi nga kwagasse n’okumukuba bwe yabadde amuyise amuweyo obusente.

Nnaalongo Beatrice Namulira 36, ow’e Naakuwadde yatutte Livingstone Katenda Luutu omuwi w’amagezi owa Pulezidenti era yaliko omubaka wa Pulezidenti e Kalangala ku poliisi ya CPS mu Kampala ng’amuvunaana emisango esatu, obutalabirira baana, okumukuba n’okumuggyako ssente ze 12,000,000/- mu lukujjukujju.

Oluvannyuma lw’okumutwala ku poliisi, Katenda baamuyise enfunda ssatu nga talinnyayo okutuusa lwe yennyula ne yeeyanjula mu ofiisi ekola ku nsonga z’amaka n’abaana ku CPS. Yasisinkanye atwala ekitongole ekikola ku nsonga z’amaka n’abaana, Diana Night ne Namulira eyamuloopye era oluvannyuma lw’enteeseganya ng’alaze nti emisango gyonna egimuvunaanibwa agikkiriza, yakoze akakalu ne yeeyama okulabirira mukazi we.

Mu mukono gwe nga August 18, 2017, Katenda yeeyamye okusasula ebbanja ly’ennyumba Namulira mw’asula lya myezi musanvu 770,000/-, okubasasulira fiizi n’ebirala era ne yeeyama okutuukiriza bino okutuusa ng’abazimbidde e Busunju.

Namulira agamba nti, okuva lwe yakola akakalu kano nga August 18, essimu n’agiggyako. Nasala amagezi ne nsobola okumutuukako ampe ssente wabula yankuba abantu ne bakuhhaana n’abagamba nti, “ndi mutabufu wa mutwe”, Namulira bwe yategeezezza. Yagambye nti okuva awo, yagenda ku poliisi ya CPS n’aggulawo omusango gw’okumukuba ku fayiro SD:28/10/08/2017 ne bamusindika mu ddwaaliro.

YAMUGANZA ATUTTE NSONGA MU OFIISI Namulira agamba nti, mu 2007, yafiirwa bba Rogers Kikwanguyira abooluganda lw’omusajja ne baagala okwezza ebintu byonna. Mu biseera ebyo, Katenda ye yali omubaka wa Pulezidenti e Kalangala.

Agamba yagenda mu ofiisi ye (Katenda) amuyambe era nga wayise ekiseera yatandika okumukubira essimu nga bw’amugumya. “Taata bwe yafa nga bwe ngoba ne ku nsonga z’ebintu bya baze, nava e Kalangala ne hhenda ku ttaka lya kitange ne ntandika okubeera eyo. Lumu Katenda yanteeka mu mmotoka ye tugende ku ofiisi ye ankolere ku nsonga zange wabula twasibira mu loogi.

Nga tuli eno yansaba nti mmusonyiwe nti yabadde tasobola kukihhambirawo. Eno twamalayo ennaku ssatu nagenda okudda awaka waayita akaseera katono ne nkizuula nti ndi lubuto. Namukubira essimu n’alukkiriza era nakubawo balongo kati ba myaka 10. Wadde nze nali mmwagala nnyo kyokka nga ye laavu ye eringa masannyalaze evaako ate n’eddako kyokka ng’ebiseera ebisinga obungi eba evuddeko.

Oluvannyuma Katenda lumu yansanga ku kkubo ng’antunda ebyokulya n’atandikirawo okunneegayirira tuddihhane nti n’omulimu gwe gwali gugootaanye lwa balongo nti kati yali ategedde ensobi ye. Yahhamba nti yali angulidde n’ettaka e Busunju yiika10 ng’ayagala hhende ntandike okubeera eyo.

Bino bwe nabinnyonnyola ab’awaka, bahhamba hhende kubanga nnyinza okufa abaana ne basigala nga tebalina we babeera. Katenda bwe yahhamba okuntwala e Busunju, yandagira ntunde omugabo gwange ewa kitange ne ntunda poloti yange ku 8,000,000/- ate mu bbanka nalinayo 4,000,000/- omugatte nga ziri 12,000,000/-. Yantwala mu maka ge e Mulago gye nafunira olubuto olulala. Olwamala okutunda ewange, ssente zonna yazinsabanga okutuuka lwe zaggwaawo bwe natuuka okuzimusaba yagaana okuzimpa n’ekyaddirira n’angoba awaaka n’abaana.

Kati mbadde nsula ku nnyumba za Zaitun Nambogga e Naakuwadde wabula oluvannyuma lw’okumala ebbanga lya myezi musanvu nga sisasula yangobye. Nnina abaana mukaaga okuli aba Katenda basatu n’aba baze omugenzi basatu era bonna mbeera nabo. Famire ya Katenda Luutu yategeezezza nti yabadde mulwadde nga tasobola kwogera ku nsonga ezo.

Muwala we Irene Namutebi yategeezezza nti, abaana Namulira bw’aba agamba nti ba Katenda, balina okusooka okubakebera omusaayi (DNA) ate ku bya ssente z’abanja, yagambye nti Namulira apangirira afune ssente mu Katenda Luutu ng’akozesa olukujjukujju

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...