TOP

Gwe battidde bba ayogedde

By Musasi wa Bukedde

Added 10th September 2017

Gwe battidde bba ayogedde

Mo1 703x422

Namusu

RESTY Namusu namwandu wa Richard Matovu eyalumbiddwa awaka mu kiro n’attibwa asabye poliisi etandikire ku musajja gw’ateebereza eyavuga ffiriigi gye yagula ku lunaku olwo akolera ku siteegi e Bulenga kubanga ateebereza ye yamulukira olukwe n’ampanga ababbi abaatemula bba nga baagala ssente.

Yagambye nti ku lunaku lwe baabalumba emisana bba yalina ssente 1,900,000/- n’agulako ffiriigi e Kyengera n’asigazaawo 1,100,000/- era bwe yatuuka awaka yasasula ddereeva ono ssente 20,000/- ng’aziggya ku nnyingi ng’amulaba.

Agamba nti mu kiseera ekyo ddereeva alina essimu gye yafuna n’ategeeza eyakuba nti, amugumiikirizeemu obudde we bunaazibira agenda kuba amusasula.

Namusu agamba nti mu kiro ekyo nga babalumbye, abatemu baasooka kusaba ‘waleti’ kyokka nga ddereeva eyaleeta ffiriigi yekka ye yali alabye ku ‘waleti’ eno. Namusu mutuuze w’e Bulaga era bba Roger Hahera yattibwa nga babalumbye omubba ssente. N’abatuuze basabye poliisi enoonye omusajja eyavuga ffirigi kubanga ebigambo namwandu birimu eggumba.

Roger Hahera atwala poliisi y’e Buloba bw’atuukiriddwa agambye nti, abatuuze bettanire enkola ya mayumbakkumi kigenda kuyambako poliisi okukwata abatemu bano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muza 220x290

Kenzo ategese kulumba Muzaata e...

EDDY Kenzo ategese kulumba Sheikh Nuuhu Muzaata ku muzikiti e Kibuli bw’aba agaanye okwetonda ku by’okumuvvoola...

Lemisaweb 220x290

Empaka za zooni zibanyumidde

Zooni ya Ssebaggala mu Mpereerwe esitukidde mu mpaka z'okubaka ng'ewangudde endala ttaano

Kayiiraweb 220x290

Abembogo beekulisizza okuwangula...

Omutaka Kayiira Gajuule asabye bannabyamizannyo okukuuma omutindo n'empisa basobole okugenda mu maaso

Rugbyweb 220x290

Abasawo balaze ttalanta mu rugby...

Abayizi abasoma obusawo balaze ttalanta mu muzannyo gwa rugby bwe basitukidde mu mpaka z'e Masaka

Kasirye3 220x290

Kasirye Ggwanga aweze okulwanyisa...

MUNNAMAGYE Maj. Gen. Kasirye Ggwanga alangiridde ng’obwanga bw’abwolekezza e Butambala alwanyise abanene abasaanyaawo...