TOP

Wadde sazaala naye Mukama ampadde abaana

By Musasi wa Bukedde

Added 10th September 2017

Wadde sazaala naye Mukama ampadde abaana

Lo1 703x422

WADDE nga Katonda teyamuwa kirabo kya kuzaala mwana, Mukyala Gladys May Nayiga Bazira, abaana b’azaalidde mu mulimu gwe ogw’obusomesa tebamujuza ku myaka 91 gy’alina. Yagambye nti, okuva mu P5, yayagala nnyo obusomesa, omulimu gw’akoze okutuusa kati mu ssomero lye erya Ssanyu Nursery School, lye yatandika oluvannyuma lw’okuwummula emirimu gya Gavumenti.

Anyumya bwati olugendo lwe mu bulamu n’obusomesa: Katonda teyampa mwana kyokka sejjusa kuba mbadde musanyufu ebbanga lyonna kuba nasooka ne nkuza abaana ba baze ate nga nnina n’abayizi ku ssomero nabo be ntwalira ddala ng’abaana bange era bankuumye nga ndi musanyufu ng’omukwano gwonna ngubawa kyokka okukkiriza Katonda okubeera omulokozi wange ky’ekisinze okumpanguza.

OBUZAALE N’OKUSOMA Nazaalibwa nga 30, September, 1926 mu ddwaaliro e Mengo nga kitange ye mugenzi Adrian Lubega ne Maama Kasalina Lubega e Masooli - Kiteetikka. Nalwawo okugenda ku ssomero nga maama ayagala nsigale awaka ndere bato bange wadde baganda bange abalala baali basoma naddala abawala kuba kitaffe yayagala nnyo okusomesa abaana ab’obuwala.

Wabula maama yansomeserezanga awaka era ηηenda okutuuka ku ssomero lya Lubiri Girls eryali mu Lubiri e Mmengo mu 1937 ku myaka 11, nga nsobola okubala okutuuka ku 100 ne walifu y’Oluganda n’Olungereza nga ngisoma.

Nasomayo olunaku lumu, enkeera ne nneerema okuddayo anti natuuka ne batuwandiisa ku ttaka kyokka nga nali simanyi kuwandiika wadde nali nsobola okusoma ate ng’abamanyi okuwandiika be bawa ebitabo. Banziza ku ssomero ne bampa olupapula nga kwe mpandiika.

Nga wayise wiiki emu, waliwo omuwala omupya eyajja ye ne bamuwa ekitabo kuba yawandiika bulungi ne kinnyiga omutima okukamala era kyandeeta okwefubako mu kuwandiika nange mpeebwe ekitabo. Mu luwummula, maama yalwala omusujja ne gumulinnya ku mutwe ne bamutwala e Buwaya gye yali azaalibwa ne bamusibira mu ‘Nvuba’, (ekinnya mwe baasibiranga abatabuse emitwe), okumala wiiki ssatu nga nze mmulabirira.

Bwe yatereera n’andaba yambuuza ennaku ze tumaze n’anyolwa olw’okuba nali nsubiddwa okusoma naye naddayo ku ssomero ne mmaliriza P1 ne P2. Mu P5, omusomesa w’okubala yakunjagaza era okuva olwo ne nsalawo nti ηηenda kubeera musomesa wa kubala wadde ndibeera sisasulwa.

Bwe twali mu P6 mu 1942muky. Cox eyali akulira essomero lya Gayaza High yajja ku ssomero ng’anoonya abayizi abanaayingira mu ssomero lyabwe omwaka oguddako. Abasomesa baawaayo amannya g’abawala mukaaga nga nange mwe nagendera.

Ku mukaaga, abasatu baali baweebwa bbasale nzijuvu ate abalala nga basasula kitundu. Nafuna bbasale ya kitundu nga nnina kusasula 100/- kuba mu kiseera ekyo nga basasula 250/- buli lusoma.

Nayingira Gayaza High mu 1943, kyokka omu ku bawala abaali bafunye bbasale teyajja olwo ne bampa nga nsasula kitundu kya 56/- buli lusoma okutuusa lwe namalako.

Nakoma mu Jr. 3 olwo mu 1947 ne nneegatta ku Buloba National Teachers’ College. Okutuuka eno nagendera ku loole esomba emmere y’enkoko ate nga baali banneetaaga nga tezinnawera ssaawa 12:00 ez’akawungeezi kyokka natuuka 2:00 za kiro olwa loole okutambula nga bw’ekyama mu nnimiro okutikka emmere.

Eno nasoma emyaka esatu okumalako okutendekebwa n’okuweebwa ebbaluwa era nali mukulembeze nga njagala nnyo n’okuyimbaOBUWEEREZA BWANGE Nga tumalirizza okutendekebwa mu busomesa, nalina kusooka kuweerezebwa Ndejje kyokka olw’okuba saali mulokole ate ng’e Ndejje yaliyo eddiini nnyingi nneeraliikirira engeri gye nnaabeerayo era nasabirira bankyusizeemu. Oluvannyuma bankyusa ne bampeereza e Mityana mu kukola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera