TOP

Swiiti wadde onkwatidde mu bwenzi nkufa bitole!

By Musasi wa Bukedde

Added 10th September 2017

Swiiti wadde onkwatidde mu bwenzi nkufa bitole!

Era1 703x422

OMUKAZI asanze bba ng’asinda omukwano n’omukazi omulala mu buliri bwabwe.

Omukazi atabuse n’abuuza bba nti, ‘‘ssebo, oyo omukazi gw’oleese alina ki kye sirina? Okimanyi nti oli mutemu. Oteeka otya omukazi omulala ku buliri bwange?’’. Wabula omusajja ensonyi yazifudde busungu n’atandika okukuba omukazi ne beevulunga mu bisooto. Omukazi yalabye omusajja ayagala kumutta kwe kuddukira ku poliisi eyakutte omusajja.

 

Omusajja olwatuuse ku poliisi n’atandika okwekola obusolosolo ng’agamba nti newankubadde mukyala we amukwatidde mu kikolwa ky’obwenzi, ekyo tekimuggyako kwagala mukyala we era amufa bitole nga n’ensi yonna ekimanyi. Bwatyo yasabye abaserikale nti bwe kuba kumusiba babasibe bombi n’omukyala.

Yafukamidde wansi n’amusaba ekisonyiwo n’okumukuba akaama. Emmanuel Mpairwe 24, ow’omu Ssebina Zooni ku Kaleerwe ye yatuuyanye nga mukazi we Ritah Kyomugisha amukwatidde mu bwenzi. Oluvannyuma Mpairwe yayimbuddwa ku kakalu ka poliisi ng’omusango guli ku fayiro nnamba SD: REF: 17/05/09/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba