TOP

Mutebi Ayanjudde 10 n’avuluga abaamudduseeko

By Musasi wa Bukedde

Added 10th September 2017

Mutebi Ayanjudde 10 n’avuluga abaamudduseeko

Mu1 703x422

Mutebi (wakati) n’abamu ku bazannyi abapya be yayanjudde.

KCCA FC yayanjudde abazannyi 11 omutendesi Mike Mutebi n’alabula abasangiddwaawo nti ateerwaneko, waakuvundira ku katebe. Mutebi bwe yabadde ayanjula abazannyi bano, yategeezezza nti, wadde si ba mannya nnyo, omupiira gwe balina mu magulu tajulira baayabulidde ttiimu eno.

Mu bazannyi Mutebi be yaleese kuliko; Julius Maliyamungu eyabadde mu Maroons, Filbert Onbenchan (Saints), James Begisa (Blessed Sacrament Kimanya), Allan Oryek (Sadolin), Mohammed Abdallah (Soana), Faisal Kiberu (Nyendo Diamond FC), Abubakar Sadiq (KIU), Patrick Kaddu (Maroons), Faisam Malango Ndjibu (Busia Fisheries), Tito Okello (KCCA FC ento) ne Ibrahim Wamannah.

Mutebi yagambye nti bano bagenda kufuula KCCA ttiimu ey’omulembe okusinga n’emyaka egiyise. “Bukya mbeera na bazannyi bano basusse, balina buli kimu omuzannyi omulungi ky’alina okubeera nakyo ate nga balina ennyonta y’okuwangula. We bali sijja kujulirira banziruseeko,” Mutebi bwe yategeezezza.

Allan Oryek y’asuubirwa okusikira Geoffrey Sserunkuuma, Abdallah azannye eya Ntege, Filbert adde mu ya Kayizzi. Ndjibu, eyakwata ekyokubiri mu bateebi abaali mu Big League gwe baagala okuteeka mu nnamba ya Tom Masiko ate Faisal Kiberu azibe eddibu lya Brian Majwega.

Dennis Rukundo, asuubirwa kusikizibwa Kaddu ate James Besiga adde mu kya Ssentongo. KCCA yawangula liigi sizoni ewedde ng’ey’omwaka guno egiggulawo Lwakubiri ne Maroons ku kisaawe e Lugogo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba