TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukazi agobye bba mu maka lwakusuula buvunaanyizibwa

Omukazi agobye bba mu maka lwakusuula buvunaanyizibwa

By Saul Wokulira

Added 10th September 2017

Omukazi agobye bba mu maka lwakusuula buvunaanyizibwa

Muk1 703x422

Mukasa ng'atubidde n'engoye zeebaamusuulidde wa bweru

OMUKAZI asudde ebintu bya bba ebweru n'amugoba mu nnyumba ng'amulumiriza okulekawo amaka ge n'asulanga mu Bannakyeyombekedde.
 
Bino bibadde ku kyalo Lukonda mu ggombolola y'e Kayonza mu disitulikiti y'e Kayunga.
 mukyala agambibwa okufuumuula bba mu nnyumba Omukyala agambibwa okufuumuula bba mu nnyumba

Robinah Tibenda y'agobye bba Haruna Mukasa n'ennyumba n'agisiba nga amulumiriza okusuula obuvunaanyizibwa bw'omu maka.

 
Abafumbo bano balina abaana bataano era baludde nga baneneng'ana ng omukyala anenya bba olw'okusuulawo amaka ng'ennaku ezimu omusajja asula mu Bannakyeyombekedde ate nga ab'eka tabalekedde wadde eky'okulya.
 nnyumba ukasa mwe baamufuumudde Ennyumba Mukasa mwe baamufuumudde

Mukasa adduse n'ayita ssentebe wa LC1 ku kyalo kino  Moses Kalyowa n'amuloopera ensonga.

   
 Agamba nti omukazi ayagala kutunda bibanja agende mu tawuni y'e Kayunga aggulewo edduuka era ye Mukasa bwe yagaana enteekateeka eno omukazi we omukyala wo weyatandikira okutabuka 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba