TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ayiiyizza oluyimba oluyozaayoza Uganda okutuuka ku meefuga

Ayiiyizza oluyimba oluyozaayoza Uganda okutuuka ku meefuga

By Musasi wa Bukedde

Added 11th September 2017

Ayiiyizza oluyimba oluyozaayoza Uganda okutuuka ku meefuga

Ug1 703x422

Bya Sandra Namirimu

JOSHUA Bob Muhumuza ng'amannya ge amatuufu ate aga siteegi ye Jimica y’omu kw'abo ab’esowoddeyo okubaako okwebaza kwebalaga eggwanga lyabwe okuweza emyaka 55 n’okweyozaayoza nga bayimba ennyimba ezisuuta eggwanga lino.

Ono mutuuze w’e Ntebe ku kyalo Nkumba, wa myaka 24 ng'abadde muyizi ku tendekero lya Nkumba yunivasite gy’eyafudidde diguli mu by’obulambuzi.

“Sweet Uganda”  lweruyimba  lweyayiiyiza okuyimbira eggwanga okuliyozaayoza ng'ategeeza nti lujjudde okwagala, okuwaana, ekitiibwa, okwewulira, omwoyo ggwegwanga, okwagaliza byonna ebisangibwa mu ggwanga lyatu.

Oluyimba luno luli mu nnimi ssatu ezisinga okutegeerwa abantu mu ggwanga okuli oluzungu, oluganda n’oluswayiri ng'ayolesa nti buli lulimi oluleetebwa mu ggwanga lino lukirizibwa.

Ono agamba ekyamusikiriza okutandika okuyiiya akayimba kano kubanga yawulira akulira vision group Robert Kabushenga ng'ategeeza abavubuka okuvaayo okuyiiya ekintu kyona ekisobola okusuuta n’okuyozaayoza abantu ne ggwanga okutuuka ku kkula ly’emyaka gino.

Muhumuza agamba yatandika okuyiiya oluyimba luno wiiki emu emabega era n'afulumya eddoboozi  mu sityudiyo ya Waterfront esangibwa e Ntebe, asuubira bwanaba afunnye okuyambibwa okufulumya vidiyo ng’ebijjaguzo by’amefuga tebinatuuka.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba