TOP

Abatuuze ku byalo mwenda basuliriwa kusengulwa

By Paddy Bukenya

Added 11th September 2017

Abatuuze ku byalo mwenda basuliriwa kusengulwa

Yo1 703x422

ABATUUZE ku byalo mwenda mininsita w'eMengo baasengula ku ttaka bavudde mu mbeera ne bakuula empaanyi zeyayisizza mu bibanja byabwe ne bawanjagira pulezidenti abayambe

Abatuuze bano abasoba mu 10000 abali ku ttaka lya mininsita
w'ebyobusuubuzi n'amakolero eMengo Thoban Muhamood ku byalo mwenda mu muluka gwe Ggolo ne Nindye mu gombolola ye Nkozi mu Mpigi bebawanjagidde pulezidenti Museveni abayambe kubanga bolekedde okusengulwa ngate tebalina gyebatwala famire zaabwe.

Abatuuze abasinze okukosebwa Muhamood be b’omuluka gwe Ggolo
ogukolebwa ebyalo musanvu okuli Bukasa, Luku, Lwalaalo,
Buseera,Kiwanga ,Bukalunga ne Namugeye nga abamu bamulumiriza okubatwalako ebibanja byabwe mu lukujjukujju, okusenda emmere yaabwe ne mmwaanyi ekibaviiriddeko enjala n'obwavu mu kitundu.

Wano abatuuze nga bakulembeddwaamu kansala w'omuluka guno Gerald Kasozi nabakulemebeze be kitundu bonna bavudde mu mbeera ne bakuula empaanyi abasajja abagamba nti baatumiddwa mininsita Muhamood zebaayisizza mu bibanja byabwe nga bagamba nti ayagala kubatwalako bibanja byabwe nga ayita mu kubatisatiisa.

Mu lukiiko lwebatuuzizza ku ssomero lya Ggolo P/S basabye munnamateeka we ssaza lya Mawokota Simon Peter Kawuki abayambe ku kuzuula nanyini ttaka omutuufu kubanga babuliddwa gwebawa obusuula oluvanyuma lwa Muhamood okubabuzabuza nga ettekalye aliwandiisa mu manya ga kampunize ssatu okuli Mukoni Farm, Katonga Farm ne Four Ways group of Campany kyokka nga tebamanyi na ttakalye weriyita.

Bategezeza nti ekyayongedde okubatiisa bebasajja abazze ku bagenda mu bakulembeze bekintu nga babategeza nga Muhamood bweyabaguzizza ettaka lyokulusozi era nti bagenda kutandika kwasa mayinja kyokka nga waliyo abantu nemmere yaabwe.

Bayongerako nti abasajja bebatamanyi bagenda basimba empaanyi mu bibanja byabwe nga tewali gwebayogeddenaye nokubagobaganya mu nnimiro nga babagaana okuddamu okulimiramu emmere yaabwe nga tebalina kiwandiiko kyona wadde okubaliyirira ebintu byabwe ebirimu.

Munamateeka Kawuki aabagaanye okuddamu okuwa obusuulu bwamancoolo nga agamba nti wakusooka kwogera ne Muhamood abatangaaze kampuniye entuufu gyebalina okutwala obusuulu nga ettaka lye limaze okupimibwa abantu
bategeere nanyini ttaka omutuufu.

Balumirizza Muhamood okubaleetera abasirikale n'emundu mu kitundu okubatisatiisa abatwaleko ebibanja byabwe ku kifuba n’okusibisa abamu mu makomera nga akozesa poliisi ye kitundu mu bukyamu ne basaba Kabaka abayambe ku musajjawe.

Wabula bino byonna Muhamood abisambazze agamba nti abasenze abamu besenza bw'esenza ku ttaka lye era abalinako ebibanja abatuufu tayina gw'asengula ku mpaka ali mu nteseganya nabo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata