TOP

Omuwala afiiridde mu mmotoka ya Sipapa

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2017

Omuwala afiiridde mu mmotoka ya Sipapa

Fub1 703x422

Omugenzi Nalwadda

OMUWALA wa yunivasite afiiridde mu mmotoka ya Sipapa polomoota w’abayimbi amaze akabanga ng’agugulana n’eyali munywanyi we Chameleone.

Kyokka Sipapa agamba nti akabenje we kaabeereddewo, mmotoka yabadde agirekedde makanika we era yeewuunyizza bwe yawulidde nti efunye akabenje.

Kigambibwa nti eyabadde mu mmotoka eno ye Frank Muyisa mukwano gwa makanika wa Sipapa ayitibwa Richard Kasozi. Byazze bwe biti: Ku ssaawa 6:00 ez’ekiro, Frank Muyisa yaleese banne ku kabaga ng’agamba adduka kuleeta kambe ak’okusazisa keeki.

Ono yabadde ku bbaala ya The Game eyayitibwanga Stake Out ku kabaga mukwano gwe, Richard Kasozi, akola obwamakanika e Wandegeya ke yabadde akoledde muganzi we anaateera okuzaala (Baby Shower), Kelvin Kasozi naye eyabadde ku kabaga.

Mukwano gwa Richard agamba olw’okwagala okukozesa obwangu, Muyisa yalinnye bodaboda era yasibidde ku ‘hostel’ emu e Wandegeya gy’asula. Ku ‘hostel’ yasanze mwanamuwala Shamim Nalwadda 19, amanyiddwa nga Mimi Sham agambibwa okuba muganzi we era bwe babadde batera okupepeya, amulindiridde.

Mu mbeera ey’okwagala okulaga ebbeeyi n’okulya esswaga mu kifo ky’okumutambuliza ku bodaboda mu mpewo, yasazeewo kuvuga mmotoka ya pulomoota w’abayimbi amanyiddwa nga SIPAPA ekika kya BMW eya langi enzirugavu eyeebikkula eyabadde esimbiddwa mu luggya lwa ‘hostel’ ng’eno Kasozi gwe baabadde bagiwadde okugikanika.

Kasozi yagireseewo nga bagenda ku kabaga kubanga yabadde etuuza abantu babiri ate ng’alina mikwano gye abalala be yabadde agenda nabo. Olw’okuba obudde bwabadde bumuyiseeko nga ne be yabadde alese ku kabaga bamulindiridde okusala keeki, Muyisa yasimbudde sipiidi.

Yabadde yaakavugako mmita nga 100 ne yeekanga mmotoka ekika kya ‘box body’ eyabadde esimbye ku mabbali g’ekkubo, mu kugiwuugula yamulemeredde. Yatomedde omusajja agambibwa okuba nti yabadde mulalu. Mu maaso waabaddewo enkonge y’omuvule ogwatemwa, ekitundu ne kisigalawo.

Eno yagikubye n’agisigula olwa sipiidi, emmotoka ne yeefuula. Olw’okutya wakati mu kuyuuga, Nalwadda yayisizza omutwe mu ddirisa eryabadde eriggule ng’ayagala okubuukamu.

Eby’embi mu kwefuula, mmotoka yamunyize omutwe n’afiirawo ate ye Muyisa eyasimattuse yadduse nga na kati tamanyiddwaako mayitire.

SIPAPA AY OGEDDE Charles Oryem amanyiddwa nga SIPAPA owa SIPAPA Entertainment nnannyini mmotoka eyakoze akabenje, era nga Pulomoota eyawagira ennyo Chameleone gye buvuddeko kyokka oluvannyuma ne baawukana bubi nnyo ne batuuka n’okwerangira obubbi n’eddogo.

Chameleone yatuuka n’okukissa ku Sipapa nti ye yawaga mukyala we Daniella Atim okunoba! Sipapa yasangiddwa ku poliisi y’e Wandegeya eggulo ku makya nga yenna ‘annyogoze’. Yategeezezza nti mmotoka ye yabadde agiwadde Kasozi (makanika) okugitereeza era yeewuunya engeri gye yatuuse mu mikono gya Muyisa eyakoze akabenje. “Mmotoka yange nabadde ngiwadde Kasozi kugikanika ate Muyisa yagimuggyeeko atya okugitomeza?” bwatyo obwedda SIPAPA bwe yeebuuza wakati mu kunyolwa olwa mmotoka ye ey’ebbeeyi eyaweddewo n’okuba nti yafiiriddemu omuntu.

Ono agamba amawulire ga mmotoka ye okukola akabenje yagafunye okuva ku muwala omu omucakaze gwe yasanze ng’ava mu bitundu by’e Kololo okulya obulamu eyabadde amunyumiza ku kabenje omufiiridde mukwano gwe era mu kunnyonnyola ebikwata ku mmotoka mw’afiiridde, nga bikwataganira ddala n’eyiye.

Yakubye ku ssimu ya Kasozi okukakasa oba ye mmotoka ye nga tagikwata. Ng’obudde bukedde waliwo omuntu eyamukubidde (Sipapa) n’amutegeeza nga mmotoka ye bwe yabadde efunye akabenje Sipapa oluvannyuma yakoze sitetimenti ku poliisi kyokka ne bamutegeeza nga bwe batasobola kumuwa mmotoka okutuusa nga bakutte Muyisa eyakoze akabenje.

Nalwadda aziikiddwa Annet Nalwadda gwe twayogedde naye ku ssimu eyasoose okutegeeza nti ye mukulu wa Nalwadda, yagaanyi okubaako ekiwanvu ky’ayogera ku mugenzi okuggyako okutubuulira amannya ge era we twayogeredde naye eggulo baabbadde mu kkubo nga bagenda Buikwe mu Kyaggwe okuziika.

Poliisi eyogedde Charles Ssembuulidde omwogezi wa poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano yagambye nti banoonya omuvubuka agambibwa okuba nga ye yakoze akabenje kano. Ssebambuulidde yategeezezza nti, okusinziira ku kunoonyereza kwe baakakola kyazuuliddwa nga Muyisa yabadde avugisa kimama era olwamaze okukola akabenje wakati mu bantu okukuhhaana yeemuludde n’adduka.

“Poliisi we yatuukidde, yasanze omuwala ali bubi n’omulalu gwe baatomedde era bassiddwa ku kabangali okutwalibwa mu ddwaaliro e Mulago, eby’embi mu kutuuka Nalwadda yabadde afudde ate omulalu we bwakeredde ng’e Mulago adduseeyo. Twagguddewo omusangu ku fayiro TAR179/2017 ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso,” Ssebambulidde bwe yategeezezza n’agamba nti Nalwadda abadde abeera Ndejje

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo