TOP

Museveni avuddeyo ku by’ettaka n’ettemu

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2017

Museveni avuddeyo ku by’ettaka n’ettemu

Sev1 703x422

Pulezidenti Museveni ng’abuuza omubaka omukazi ow’e Lwengo, Cissy Namujju.

PULEZIDENTI bwe yabadde e Masaka yayogedde ku bintu ebikulu ebiruma abantu okuli abagagga abasengula abatuuze, ettemu eryeyongedde naddala e Masaka, abeesenza mu ntobazzi n’abantu abaagobeddwa mu birombe bya zaabu e Mubende.

Yagambye nti alina essuubi ddene mu kakiiko akabuuliriza ku ttaka akakulirwa Omulamuzi Catherine Bamugemereire era be kanaazuula nga beenyigidde mu kubba ettaka bajja kuggalirwa e Luzira n’ebyapa byabawe bisazibwemu.

Ku Ssande yabadde ku leediyo Buddu e Masaka mu kaweefube gw’aliko okunnyonnyola lwaki kyetaagisa okukyusa ennyingo mu Konsitityusoni ekwata ku ttaka okuwa Gavumenti olukusa okukozesa ettaka awayita oluguudo oba pulojekiti endala awatali kulemesebwa nnannyini ttaka.

Yagambye nti ekigendererwa kulwanyisa babbi nga n’abamu bali mu Gavumenti abamanya awagenda okuyita oluguudo ne banguwa ne bagulawo.

 ajat itamiisi amuddu ku ddyo ne etty akayiza nga baaniriza pulezidenti useveni bwe yabadde agenda ku leediyo uddu okuttaanya ku nsonga zettaka mu kitundu kye asaka Hajat Kitamiisi Namuddu (ku ddyo) ne Betty Nakayiza nga baaniriza pulezidenti Museveni bwe yabadde agenda ku leediyo Buddu okuttaanya ku nsonga z’ettaka mu kitundu ky’e Masaka.

 

Oluvannyuma ne balinnyisa emiwendo kwe baguliza Gavumenti ettaka. Gavumenti bw’egaana okusasula badduka mu kkooti olwo pulojekiti n’eyimirira okutuusa nga kkooti esazeewo ku kwemulugunya okwo.

Yeewaddeko ekyokulabirako nti aba UNRA bwe baali bakola oluguudo oluva e Kanoni –Sembabule-Villa Maria baalya ettundutundu ku ttaka lye e Kisozi nga liweza yiika 21 ne bamuwa obukadde 69 zokka era yakkiriza oluguudo okugenda mu maaso teyalemesa.

“Ndowooza mulaba obusiru bwange kirabika nze simanyi kukola ssente kuba nandisabye ssente nnyingi nnyo naye olw’okuba nze nnina omutima gw’eggwanga lyange nnaleka oluguudo ne lukolebwa”, bwe yagambye. N’agattako nti bwe yagenze mu maka ge e Kisozi yasanze kifuuse kibuga olw’oluguudo olwakolebwa.

N’akiggumiza nti Gavumenti terina kigendererwa kubba ttaka lya bantu. Kyokka ate teyinza kuleka bantu abatono ababbi okulemesa pulojekiti ezigasa abantu bonna nga bayita mu kukubisaamu ensimbi ze basaba ku ttaka lyabwe.

Yawadde ebyokulabirako bya pulojekiti ezizze ziremesebwa ng’eya layini y’amasannyalaze agagenda e Rwanda. Baatuuka e Ntungamo ne wabeerawo omusajja Kahiirwa alina ettakalye yiika 18 mwe baali baagala kuyisa layini.

Ekitongole ky’amasannyalaze kyabalirira nga buli yiika yaakusasulwa obukadde butaano kyokka Kahiirwa n’asaba akawumbi kamu n’ekitundu.

Yanokoddeyo akabuga k’e Kyegegwa abaali baagala amazzi wabula omutuuze omu Kabugo n’alemesa nga Gavumenti yali emuwa obukadde busatu n’ekitundu n’agaana ng’ayagala obukadde 100 era puloojekiti eno yayimirira kati emyaka musanvu.

Ate ku puloojekiti y’oluguudo lwe Kamwenge- Fortportal nnanyini ttaka eyategeerekeseeko erya Lusambwa naye yalemesa okuluyisa mu ttaka lye Gavumenti bwe yamubalirira ekitundu kimu kya kuna ekya yiika nga bamuwa obukadde 89 n’abugaana ng’ayagala akawumbi kamu n’obukadde 12 era kino kyawaliriza gavumenti okukyusa ekkubo ne liyita ewalala.

 

Museveni yewunyizza oba Lusambwa oluguudo luno ye talukozesa kyokka nga yali alulemesa. N’agamba nti okusobola okwanguyaako okugonjoola emisango gy’ettaka wajja kussibwawo kkooti ezenjawulo okugiwulira mu bwangu.

Zino tezijja kulwawo kubanga emirundi mingi abeemulugunya ku nsasula baba batono, abasing bamatira ensimbi ezibaliriddwa omukugu wa Gavumenti. Ekyo kiri bwe kityo kubanga omukugu wa Gavumenti asooka kuzuula emiwendo gy’ettaka mu kitundu n’agattako ebitundu 30 ku 100 n’okusasulira ebintu ebirala ng’ennimiro n’amayumba.

Pulogulaamu kwe yayogeredde ku Ssande yakubiriziddwa Haji Umar Ssekasamba.

AYONGEDDE OKULABULA ABASIIGA GAVUMENTI ENZIRO

Museveni yalabudde omubaka wa Kalungu West Joseph Sewungu ne pulezidenti wa DP, Nobert Mao n’abooludda oluvuganya abagenda basiiga Gavumenti enziro ku by’ettaka. “Boogera nti Museveni ayagala kunyaga ttaka kyokka webuuze gavumenti bw’erikozesa nze mbeera nfuniramu wa?” bwe yebuuzizza.

N’agattako nti Gavumenti tegenda kusirika egenda kubuulira abantu ekituufu. Yagambye nti aba DP baava ku mulamwa gw’amazima n’obwenkanya kubanga ye we yabeerera mu DP okusiiga enziro si gwe gwali omulamwa gw’ekibiina.

Yasabye abantu bamuwagire okukyusa mu Konsitityusoni okutereeza Ebyettaka kubanga ababbi bwe batwala ssente ennyingi, batwala za muwi wa musolo.

Ssente ezibasasulwa ziva mu ggwanika lya ggwanga. Ku mivuyo gy’ettaka e Masaka, yagambye nti akakiiko ka Bamugemereire tekajja kubataliza n’asaba abantu bwe kagenda e Masaka babaloopeyo balinde kimu kubasanga Luzira.

Ssekasamba yamuloopedde ofiisi y’ebyapa e Masaka nti kati efulumya ebyapa bibiri ku poloti emu. Pulezidenti yamwanukudde

EBIBIRA, ENTOBAZZI N’EBIROMBE

Yeewuunyizza abantu abava gye bavudde ne batandika okuwamba ebifo ng’awali zaabu e Mubende ne Busia abantu gye beewang’amya ne bakaayana nti byabwe.

Ku by’obuvubi, yagambye nti olw’envuba embi amakolero mangi gaggaddewo. Tubadde n’amakolero agalongoosa ebyennyanja 21 naye kati wasigaddewo mukaaga gopkka.

Ekivuddeko obuzibu be bantu ababadde bagenda mu nnyanja ne bavuba obwennyanja obuto. Yawekeddwako Baminisita w’Ebyobulimi Vincent Ssempijja, Oweggwanga ow’Ebyettaka Persis Namuganza, Chris Balyomunsi n’abalala.

Wano we yategeerezza nti ab’e Masaka yalagira Ssempijja okubasimira ebidiba mu Lwera basobole okulunda ebyennyanja bave mu kulekaana nti Gavumenti ebalemesezza. Yalung’amizza nti amakolero ne bwe gaggalawo Gavumenti teyinza kuleka bantu kufiirwa mirimu kye yavudde ewaayo ttulakita zisime ebidiba abantu basobole okulunda ebyennyanja. Ssekasamba wano weyamubuulizza nti: Naye nga Lwera gy’oyogerako abantu bazimbyemu amayumba?

N’ayanukula nti bwe kibeera nga baazimbamu amayumba mu bukyamu gaakumenyebwa kubanga Gavumenti yalekawo ekitundu kino abantu balundirewo ebyennyanja. Bwe yatuuse ku kyeya ekibonyaabonya Uganda yagambye nti kivudde ku bantu abazze balima mu bibira n’entobazi.

ENVUBA EMBI Yategeezeza nti Gavumenti tekomye ku kulwanirira ttaka wabula erwanyisizza n’envuba embi. Bannayuganda balinga amaka g’omugagga naye ng’abaana balina empisa embi bagezaako okwonoona eby’obugagga bya kitaabwe. “Empuuta bw’ogireka emyaka esatu, etandika okwalula ne tuweza ebyenyanjaza Gavumenti ate gigenda mu maaso kuzivumirira y’ensonga lwaki ebibira, entobazi n’ebisaalu bisanyiziddwawo era nga kino kyatuviirako ekyeya omwaka oguwedde.

YASISINKANYE ABAKULEMBEZE E MASAKA

Yasoose kusisinkana bakulembeze abenjawulo n’abakulira ebyokwerinda, mu baka ga pulezidenti mu Kizingu e Masaka. Yakiggumizza nti gavumenti teyagala kutwaala ttakka ly’abantu ku bwerere kyokka erina okulisasulira ssente ezigya mu ttaka, ezitanyigiriza gavumenti n’okugibba ate n’omuntu aliyirirwa asigale ng’afunye obwenkanya. Ssekasamba yamujjukizza nti abanene mu gavumenti be bagula ettaka ne basindiikiriza abantu. Museveni yamwanukudde nti eno y’emu ku nsoga lwaki gavumenti eyagala okukola ennongoosereza egonjoole ekizibu kino okuwonya gavumenti okunyagululwa.

ETTEMU MU GGWANGA

Ku ttemu e Masaka n’ebitundu by’eggwanga ebirala, yagambye nti ebitongole by’okwerinda okunmala ekiseera amaanyi bibadde bigatadde mu byalo, kyokka kati ebitundu by’ebyalo biteredde, kati amaanyi bagenda kugassa mu bitundu by’ebibuga bamalewo ettemu lino. Ebitundu by’e Masaka bibadde birumbibwa abasajja b’ebijambiya ne batemaatema abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba

So1 220x290

Maama togwa mu luwombo!

Maama togwa mu luwombo!