TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayizi 20 baweereddwa satifikeeti mu kazannyo akaategekebwa Vision Group ne National Drug Authority

Abayizi 20 baweereddwa satifikeeti mu kazannyo akaategekebwa Vision Group ne National Drug Authority

By peter ssaava

Added 12th September 2017

Abayizi 20 baweereddwa satifikeeti mu kazannyo akaategekebwa Vision Group ne National Drug Authority

Vi1 703x422

Abamu ku bayizi abaweereddwa satifikeeti

KAMPUNI ya Vision Group ng’eri wamu n’ekitongole ekikola ku mutindo gwe ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority bawadde abayizi satifikeeti ssaako okubasasulira ku bisale bye ssomero olw’okwetaba mu kuwandiika amabaluwa agakwata ku biragalalagala.

Vision Group ng’eyita mu lupapula lwayo olwa New Vision baatongoza empaka z’okuwandiika amabaluwa mu mwezi gw’omusanvu omwaka guno  okuva mu bayizi ab’enjawulo era nga gano gaali gafulumira mu katabo k’ebyenjigiriza akafulumira mu lupapula lwa New Vision.

Leero ku makya ,akulira kampuni ya Vision Group etwala n’olupapula lwa Bukedde , Robert Kabushenga ng’ali wamu ne Dr Sheila Ndyanabangi okuva mu minisitule y’ebyobulamu ssaako abasunsuzi abalala mu Vision Group bagabidde abayizi satifikeeti ne ceeke okuli ssente z’ebisale ze baawangudde  omuli abaafunye emitwalo 50, 70 n’akakadde kamu.

Abayizi 20 okuva mu masomero ga pulayimale ne siniya be baasusunsuddwa era be bawereddwa satifikeeti n'ebisale bye ssomero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gofo 220x290

Kkamera gwe zaakwata ng’abba bbooda...

OMUSAJJA kkamera za poliisi e Mukono gwe zaakwata ng’abbye boodabooda mu bitundu by’e Nansana-Ganda akwatiddwa...

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...