TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba NRM e Bulaaya basembye eky'okukyusa ekkomo ku myaka gya Pulezidenti

Aba NRM e Bulaaya basembye eky'okukyusa ekkomo ku myaka gya Pulezidenti

By Musasi wa Bukedde

Added 13th September 2017

Aba NRM e Bulaaya basembye eky'okukyusa ekkomo ku myaka gya Pulezidenti

As1 703x422

Patrick Asiimwe akulira ekibiina kya NRM bweru w'eggwanga

ABAWAGIZI b’ekibiina kya NRM ababeera obweru wa Uganda, abakulirwa Patrick Asiimwe basembye ekyasaliddwawo ababaka ba palamenti ab’akabondo ka NRM okuggyawo ekkomo ku myaka gya pulezidenti.

Omwogezi waabwe  ow’ekiseera  Mw. Moses Kimuli agambye nti tewali bukakafu bwonna bulaga nti omuntu bw’asukka emyaka 75, aba takyalina busobozi bukulembera ggwanga.

Kino kiddiridde ab’abaka ba palamenti ab’akabondo ka NRM okusemba okukyusa Ssemateeka enyingo eya 102 (b), ekugira omuntu asusizza emyaka 75 okwesimbawo ku bwa pulezidenti bw’eggwanga.

Mw. Kimuli yawadde eky’okulabirako ky’abakulembeze omuli Kwiini Elizabeth owa Bungereza akyakulembera abantu be obulungi wadde nga yasussa dda emyaka 75 ne Ronald Reagan eyaliko omukulembeze wa Amerika gwe yagambye nti we baamulondera yali asussa emyaka gino era n’akola bulungi mu kisanja kye.

“Emyaka sikyekikulu wabula obusobozi bw’omuntu kye ky’omugaso, n’olwekyo ababaka ba palamenti nga basalawo ku nsonga eno ekyo kye basaanye okutunuulira”, Kimuli bwe yagambye.

N”agattako nti bo ng’abawagizi ba NRM ababeera ebweru, bakyawagira Pulezidenti Museveni okugenda mu maaso n’okukwata enkasi y’eggwanga n’ekibiina kyabwe olw’obusobozi bw’ayolesezza ekiseera ky’amaze ng’akulembera.

Kimuli yagambye nti mukamawe Mw. Asiimwe mu kutalaaga kw’aliko mu mawanga ag’enjawulo mu bulaaya n’awalala  gy’agenda akunga Bannayuganda abaliyo  okwegatta ku NRM agenda kwongerako okunnyonnyola  obwetaavu bw’okuggyawo ekkomo ku myaka gya pulezidenti ekitandise okukubaganyizibwako ebirowoozo mu ggwanga.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Youcandresslikethisandstilllookcorporatenewwebuse 220x290

Engoye z'oyambala ku woofiisi ng'osobola...

Engeri gy'oyambala Hijaabu n'onyuma ku woofiisi ate n'osobola okusaala

Ensujjuwebuse 220x290

Abasajja muve ku biragalalagala...

Abanoonya amaanyi g'ekisajja mwettanire ebiro n'essunsa musigale nga muli balamu ate nga musaza kimu

Ababaka baweze okusimbira etteeka...

ABABAKA ba Palamenti abava mu Buganda bawadde Katikkiro Charles Peter Mayiga obweyamo nti ba kuyimirira n’abalimi...

Kkooti1 220x290

Ogw’ettemu ly’e Seguku gulindiridde...

OMUSANGO gwa Abdul Mukiibi agambibwa okutta Frank Katumba e Seguku ng’amutebereza okwagala mukazi we, Aisha Mubiru...

Kigandaweb 220x290

Omusumba Kiganda avuddeyo ku bya...

OMUSUMBA David Kiganda owa Christian Focus Centre anenyezza gavumenti okusirika obusirisi netebaako ky’ekola ku...