TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kadaga akunze Abazungu okuwonya abaddugavu okugwirana nga bagenda mu mawanga gaabwe okukuba ekyeyo

Kadaga akunze Abazungu okuwonya abaddugavu okugwirana nga bagenda mu mawanga gaabwe okukuba ekyeyo

By Muwanga Kakooza

Added 13th September 2017

Kadaga akunze Abazungu okuwonya abaddugavu okugwirana nga bagenda mu mawanga gaabwe okukuba ekyeyo

Du1 703x422

SIPIIKA Rebecca Kadaga asabye Abazungu okuyamba Africa okunyweeza enfuga ya demokulase kitangire abaddugavu okugwirana nga bagendayo okukuba ekyeyo  n’okwekukumayo olw’embeera y'ebyenfuna embi eri mu mawanga gaabwe.

Agamba nti eby’obufuzi ebirungi mu Africa bijja kuleeta enkulaakulana nga kigenda kuwonya Abafirika okugwiirana nga bagenda mu mawanga g’Abazungu.

‘’Lwaki abavubuka baffe bafiira mu nnyanja Mediterenean nga badduka ekibabu ?. Ensonga eri nti eby’enkulaakulana bikyatwesambye’’ Kadaga bw’agambye.

Yabadde ayogerera mu kibuga London  ku mikolo gy’okukuza emyaka 25 bukyanga kibiina kya West Minister Foundation kitondebwawo,okusinziira ku mawulire agaafuniddwa okuva mu palamenti.

Yagambye nti ky’ekiseera okulaba ng’embeera mu Africa erongooka abaddugavu basigale mu mawanga gaabwe. N’agamba kisobola okukolebwa singa bamusiga nsimbi beeyongera mu Africa.

Wakati wa JANUARY NE August 2017 abantu 2,400 be baafa nga bagezaako okuva ku lukalu lwa Africa okugenda mu Bulaaya nga bayita ku nnyanja Mediterenean. Mu 2017 abantu abasoba mu mitwalo kkumi be beesozze Bulaaya nga bayita ku nnyanja eyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba