Bya MARTIN NDIJJO NE SAUL WOKULIRA
ABA famire y’omugenzi Ivan Ssemwanga bawadde maama w’abaana b’omugenzi abasatu, Zari Hussein ebiragiro ebikakali obutaddamu kulinnya ku kiggya we baamuziika nga tamaze kufuna lukusa.
Bamulumiriza nti buli lw’ajja mu Uganda agenda ku malaalo ga Ssemwanga n’akolerako ebikolwa bye bateebereza okubeera eby’obulogo.
Wabula Zari bino abiwakanyizza nti bamusibako matu ga mbuzi kumuliisa ngo era abaddizza omuliro n’agattako okubalabula nti tewali ayinza kumugaana kugenda ku malaalo ga taata w’abaana be.

Ekiragiro kya famire tekikoma ku Zari yekka wabula n’abantu abalala era okutuuka ku kiggya oteekwa kusooka kufuna lukusa okuva mu bakulu mu famire abakwatibwako ensonga eno.
Ku Mmande owa Bukedde yatuuseeko ku kyalo Nakaliro mu Kayunga mu maka awaziikibwa Ssemwanga, kyokka abavubuka be yasanzeewo ne bamugaana okuyingira mu geeti nga bagamba nti yabadde alina kusooka kufuna lukusa kuva eri abakulira famire y’omugenzi.
Abavubuka bano baalumirizza Zari nti gye buvuddeko yagenda ku malaalo ga Ssemwanga n’ayiwako omwenge n’assaako n’ebintu ebitategeerekeka bye baalowooza nti ddogo, okuva olwo abakulira famire ne bamugaana okuddamu okulinnyayo ekigere n’abantu abalala nga tebamaze kusaba lukusa.
Bano era bagamba nti Zari alina abantu ku kyalo b’akolagana nabo abamuwa amawulire okumubagulizaako nti awaka tewali muntu mu kiseera ekyo n’ajja n’akola by’ayagala ku malaalo olumala n’abulawo.

ZARI AYANUKUDDE
Bwe yabuuziddwa ku nsonga zino, Zari yabyegaanyi ng’agamba nti talina ky’abimanyiiko.
Kyokka yakiggumizza nti abamugaana okugenda ku malaalo tebalina tteeka mwe basinziira.
“Eby’eddogo nze sibimanyi, ku malaalo ga Ssemwanga ng’endayo kumulambulako nga taata w’abaana bange n’okumubuuzako era olumala okusaba nga nvaayo era seetaaga kusooka kufuna lukusa,” Zari bwe yategeezezza.
Yawakanyizza n’ekyokugendayo ng’abawaka tebamanyi n’ategeeza nti lw’asembye okugendayo ku nkomero ya August awaka waaliwo omu ku ba ssenga b’omugenzi.
Okuva Ssemwanga bwe baamuziika mu mwezi gwa May, yafuuka nkola ya Zari buli lw’ajja mu ggwanga okugenda ku malaalo ga Ssemwanga nga tannaba kuddayo e South Africa era ono amanyi n’okwekubya ebifaananyi ng’agatuddeko abantu abamu kye bavumirira nga bagamba nti kikontana n’obuwangwa bwa Buganda.

ABA FAMIRE BASANYUKIDDE ENSALA YA KKOOTI
Aba famire ya Ssemwanga basanyukidde ekya kkooti okugaana okuziikula omulambo gwa Ssemwanga baggyeyo ssente ze baamuziika nazo ne bagamba nti kati omuntu waabwe agenda kuwummula mirembe.
Kino kidiridde omulamuzi Margaret Oumo Oguli okugoba omusango Mugugu gwe yawaabira ekitongole ekikola ku by’okuziika ekya A-Plus Funeral Management ne Bank Enkulu ng’ayagala amalaalo ga Ivan Ssemwanga gasimulwe baggyemu ensimbi ze baamuziika nazo.
Samuel Muwanga omu ku bataata b’omugenzi Ssemwanga yagambye nti okuva abantu lwe baatandika eby’okuziikula ebisigalira bya Ssemwanga emitima gyabeewanika ne basigalira ku saba Katonda bireme kuyitamu.
Era kati bakkakkanye oluvannyuma lw’omusango okugobwa.