TOP

Eddwaliro ly'e Mbale ddwadde!

By Muwanga Kakooza

Added 13th September 2017

Eddwaliro ly'e Mbale ddwadde!

Him1 703x422

Akulira minisitule y'ebyobulamu Dr. Ruth Aceng ng'alina by'annyonnyola

AKAKIIKO ka palamenti akavunaanyizibwa ku by’obulamu kasabye gavumenti okukangavvula abakulira eddwaliro ly’e Mbale  olw’obujjama obuyitiridde mu ddwaaliro.

Ababaka era baagala gavumenti eyongere amaanyi mu kukaka abakozesa bodaboda okwambala ebikofiira oluvannyuma lw’okukizuula abantu abasinga abaagwa ku bubenje mu malwaliro  omuli n’e Mulago bwabatuusibwako ‘boda boda’.

Bongedde okwemulugunya ku muze gw’okusaba abalwadde ssente mu malwaliro ga gavumenti ne banokolayo ery’e Iganga lye bagamba nti liyitiddemu ‘abafere’ n’abasawo abatuufu abasaba ssente ng’atalina kizibu okumukolako. Ne bawa eky’okulabirako nti okukuula erinnyo bw’otabawa 3,000/- tebaliggyaamu.

Bino biri mu lipooti y’akakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku by’obulamu eyavudde mu kubuuliriza n’okulambula amalwaliro g’omu Kampala n’obuvanjuba bwa Uganda bwe babaddeko.

Ab’akakiiko baagambye nti bennyamivu olw’embeera embi eddwaliro ly’e Mbale gye lirimu n’abaliddukanya okulemererwa okutuukiriza obuyonjo. Ne bagamba nti engeri kasasiro n’ebintu ebirala ebiva mu ddwaliro gye bikwatibwa mbi nnyo. Era kwe kusaba abakulira eddwaliro lino bakangavvulwe olw’obulagajjavu.

Basabye gavumenti okussaawo omutindo gw’ebyobuyonjo ogulina okugobererwa amalwaliro gonna  ng’abatabituukiriza bakangavvulwa. Baasabye gavumenti okufunira abasawo bonna yinifoomu okuli n’amannya gaabwe kikendeeze obufere n’okusaba abalwadde ssente mu malwaliro ga gavumenti.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba