TOP

Tuzudde Nabbi Kakande gy'ali

By Musasi wa Bukedde

Added 13th September 2017

ABAGOBEREZI ba Nabbi Kakande abaa­genze mu kkanisa okusinza ku Lwokuna oluwedde, baatandise okwekuba obwama, Nabbi bw’ataalabiseeko wadde nga baabadde babategeezezza nti waali.

Pastorkakande1 703x422

Kakande bwe yalabiseeko mu kkanisa.

Bya MUSASI WAFFE

ABAGOBEREZI ba Nabbi Kakande abaa­genze mu kkanisa okusinza ku Lwokuna oluwedde, baatandise okwekuba obwama, Nabbi bw’ataalabiseeko wadde nga baabadde babategeezezza nti waali.

Kino kyabakanze kubanga amawu­lire gaabadde gamaze okusasaana nga kigambibwa nti Kakande yabadde agudde eddalu. Amawulire agagambibwa okusasaanyizibwa abawakanya Kakande, gaabadde gamaze okutegeeza nti, ali mu ddwaaliro ly’abalwadde b’emitwe e Butabika.

Ttiimu y’abayambi ba Kakande mu kkanisa ya Synagogue Church of All Na­tions, e Mulago ku Bbiri nabo baakoze­sezza emikutu okuli 'Facebook', 'Twitter', 'WhatsApp' ne bakunga abantu okujja ku Ssande nga September 10, Nabbi ajja kubeerayo.

Ku Ssande abantu baakedde kwey­iwa wa Kakande kyokka essaawa we zaaweredde 8:00 ez’olweggulo bangi ne baterebuka nga Nabbi talabiseeko. Oku­saba kwakulembeddwa Basumba balala.

Mu kiseera kino, amawulire gaabadde gongera kusasaana ku mikutu gya yintaneti nti embeera ya Kakande yeeyongedde okuba obubi ne ku kkanisa ye taliiyo.

Ebyo okubaawo, abantu ab'enjawulo abagamba nti babadde basabira wa Kakande baabadde bamaze okulabika mu Christian Life Church e Bwaise ey’omusumba Jackson Ssennyonga ne bawa obujulizi bwe bayita ebintu ebiky­amu ebikolebwa ewa Kakande.

Obujulizi bw’abantu bano bwabadde ng’obukkirizika bwe baagambye nti Kakande takyalinnya mu kkanisa ali Butabika.

Abalala baawa obujulizi nti Kakande yabuze, takyalina maanyi kubanga omusota ogumuyamba okufuna amaanyi gwafudde. N’ebirala.

ALABIKAKO MU BAGOBEREZI BE

Wabula ku Lwokuna nga August 24, Kakande yalabiseeko mu kkanisa n’anenya abagenda bazunza ehhambo ze batalinaako mitwe na magulu.

Yagambye nti, “Naye lwaki abantu boogera ebintu bye batalinaako bukaka­fu okutta erinnya lya Kakande? Buli omu yandibadde afaayo ku bimukwatako"

Yategeeza abagoberezi nti, bukya atandika kuweereza Mukama, taser­ebanga wadde okukendeera mu maanyi olw’amafuta g’obuweereza n’obwannabbi agaamufukibwako n’ategeeza nti ye tag­wanga ku ddalu era waali mulamu nnyo.

“Abagamba nti nnagudde eddalu, be balalu. Buli ayagala okukakasa nga ndi mulamu ajje wano. Mbeerawo ku Lwokuna ne ku Ssande. Ennaku endala mbeera nkola mirimu mirala ku faamu” Kakande bwe yategeezza abagoberezi.

Omwogezi w’ekkanisa ya Kakande, Muky. Grace Kembabazi yategeezezza Bukedde nti ne ku Ssande eno, Ka­kande yazze mu kkanisa kyokka yatuuse ssaawa 11:00 ez’olweggulo. Yabuulidde n’okusabira abalwadde okutuuka mu ttumbi.

 akakande mwannyina wa akande yaddukira wa senyonga Nakakande mwannyina wa Kakande yaddukira wa Ssenyonga.

 

Kakande abadde wa?

Grace Kembabazi yategeezezza nti ebiseera ebimu mukama we awaayo obudde okunoonya Mukama. Abeera yekka ng’asaba n’okusiiba. Abeera ku faamu ye e Bulenga ng’anoonya Mukama, kyokka avaayo n’alambula faamu.

Guno si gwe mulundi ogusoose Ka­kande obutajja mu kkanisa. Emirundi mingi bw’aba ebweru w’eggwanga oba mu kusaba kw’okunoonya Mukama, Abasumba abalala bakola emirimu gyonna egy’obuweereza. N’agamba nti Nabbi Kakande ne bw’abeerawo era waliwo ttiimu y’abantu emuyambako, emirimu tagikola yekka.

Bukedde yagenze e Bulenga, kyokka teyasobodde kulaba Kakande. Wab­ula baliraanwa be baategeezezza nti babadde bamulaba ng’ali ku faamu.

DDALA KAKANDE YAGWA EDDALU?

Grace Kembabazi yategeezezza nti olugambo bwe lwasasaana, Kakande yali amaze wiiki ssatu nga taliiwo ali mu Philippines gye yagenda okwetaba mu nkuhhaana za Nabbi TB Joshua ow’e Nigeria.

Bwe yakomawo ne yeewa ekiseera okunoonya Mukama.

Lwaki Kakande asirika n’atabuulira bantu kituufu? Kembabazi yagambye nti nkola ya mukama we obutayanukula bamulumba. Ye eyamutuma amumanyi. Ekirala Kakande alowooza nti abantu beetaaga kuyamba kuyigiriza kukola so si kubasiibya mu kkanisa buli lunaku. Ye kyava akulemberamu okulima n’okusomesa abavubuka okweyimi­rizaawo.

Ku Ssande ewedde yazze mu kkanisa nga buyise, kyokka enkya ku Lwokuna gy’ali ne ku Ssande.

Abantu bakendedde ewa Kakande?

Kembabazi yagambye nti eri abayitawo balaba ng’abantu abakendedde kubanga tebakyabalaba nga bakwatiridde ebweru w’ekkanisa ne batuuka mu luguudo. Yagambye nti baagula ekifo ekiriraanye ekkanisa ne bagigaziya kati abantu bonna babeera munda.

Kyokka waliwo abantu abawera abagamba nti bavudde ewa Kakande ne beegatta ku ya Ssennyonga abawa obu­julizi mu kusaba Ssennyonga kwe yatu­uma P5.

Bano kuliko Jennifer Nakakande agamba nti mwanyina wa Kakande, Rose Duraru, Florence Nakato ne Mariam Kisaakye ne Bob Mukisa Kisolo.

KAKANDE EBYO Y’ABYEPANGIRA - SOLOMON MALE

Omusumba Solomon Male agamba nti yamala ne Kakande ebbanga ddene mu buweereza yategeezezza Bukedde nti, bonna abalowooza nti Kakande yagudde eddalu, agudde oba okuddirira teba­mutegeera.

Yagambye nti, byonna ebigenda mu maaso Kakande y’abipanga asobole okukomawo n’akakodyo akapya alage ensi ng’amawulire n’abantu abalala bwe basasaanya obulimba.

“Ssennyonga talowooza nti y’atadde akazito ku Kakande kubanga naye Ssen­nyonga by’akola apanga bipange yafuna bufunyi mukisa n’alandira ku kwanika Kakande ku basezi.” Male bwe yagam­bye.

Amawulire agaalaga engeri Kakande gye yapangamu abasezi be yatwala mu kkanisa ne bawa obujulizi, okuva olwo, Kakande yakosebwa, kati apanga kudda n’amaanyi. Abawakana mulindeeko katono mujja kulaba.

“Okumanya abamwogerako teba­lina kazito konna ke bamutaddeko, buli avaayo okumulumiriza by'ayogera bw'obigenderera tebikwatagana kati wali­wo omusajja agamba nti abadde akola ne Kakande, agamba asomera ku UCC e Tororo nti ate asoma byamikono, UCC esomesa bya bizinensi byokka olaba nga tebikwatagana.” Male bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, Kakande toyinza kumuyita mu kumwogerako bigambo n’omusobola era y'ensonga lwaki Bp. Da­vid Kiganda yamukongokako. Yapanga abantu ne bamuwaako obujulizi ng’ate abawa obujulizi ewa Kiganda Kakande y’abasindikayo era bwe yasituka yalaga nti byonna ebibadde byogerwa bulimba busa.

“Okuva edda, Kakande bwataaberan­gawo ng’ekkanisa n’okugiggala bagig­gala n’abantu nga tebagendayo kubanga bamanyi nti y’alina amaanyi bano abay­ambi be tebalina kye bali, obutabeerawo tekitegeeza nti yagudde eddalu.” Male bwe yategeezezza.

 

ENTALO ZIRINA OKUBEERAWO MU KKANISA – DAVID MARTIN SSEBUGUZI

Omusumba David Martin Ssebuguzi owa Living Faith City Church ku Bat Valley bwe yatuukiriddwa ku biriwo mu Synagogue n’obutakaanya wakati wa Kakande ne Ssenyonga yagambye nti, ekisooka entalo mu kkanisa zirina okubeeramu okusobozesa enjiri okubuulirwa.

Yagambye nti, okulwanagana wakati wa Ssennyonga ne Kakande kiraga nti kuliko omu aweereza Katonda ate omulala aweereza sitaani ng’akolera okusaanyawo omulimu gwa Mukama ogukoleddwa.

“Yesu yagamba tulibalabira ku bibala byabwe, naffe tulinda omutuufu n’omukyamu wakati waabwe bombi tujja kumulabira ku bibala.” Ssebuguzi bwe yategee­zezza.

Yagaseeko nti, abantu abasabira ewa Kakande ne Christian Life Church balinga abaawunzibwa kizibu okubabuulira ekigambo ne bawulira ye omulimu gwe ku ssaawa eno, kukwata kw’abo abatannagendayo abal­age ekituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi

Kayihura1 220x290

'Eby'okutta Kaweesi byandeetera...

GEN. Kale Kayihura azzeemu okwogera ne Bukedde n’ategeeza nti, abamulumiriza okutta eyali omwogezi wa poliisi,...