TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Munaana bafu ate kkumi tebamanyikiddwaako mayitire mu nkuba efudemba ensagi zino

Munaana bafu ate kkumi tebamanyikiddwaako mayitire mu nkuba efudemba ensagi zino

By Muwanga Kakooza

Added 13th September 2017

Munaana bafu ate kkumi tebamanyikiddwaako mayitire mu nkuba efudemba ensagi zino

Ye1 703x422

Minisita Ecweru ng'ayogera ku nsonga z'ebigwa tebiraze mu Palamenti

ABANTU munaana bakakasiddwa nti be bakafa n’abalala kumi tebakubikako kimunye nga basuubirwa okuba nabo abafu olw’enkuba efukumuka ennaku zino.

Enkuba erimu kibuyaga eyonoonye ebirime, okutta ebisolo, amaka g’abantu n’enguudo n’okuleeta amataba.Abasinze okukosebwa bali mu bifo bya nsozi e Bugisu okuli Bududa , Sironko , Bulambuli  nemu bugwanjuba e Bundibugyo, Rukungiri, Kisoro  wamu n’e Elegu mu disitulikiti y’e Amuru.

Minisita w’ebigwa bitalaze Mike Ecweru bino abitegeezezza palamenti. N’agamba nti abantu emitwalo ena bebakosebwa mu bitundu ebyo ng’ate abalala wakati w’emitwalo ettaano n’omunaana basuubirwa okukosebwa amataba e Teso.

Abantu emitwalo ena beetaaga aw’okusula n’eky’okwebikka. Mu nsozi e Bugisu e Buluceke ne Bumayoka abantu mu maka 30 bali mu katyabaga olw’olwazi olwolekedde okubasanyaawo olw’enkuba.

Ecweru agambye nti gavumenti yasindise emmere n’abantu abasobola okununula abali mu mataba. Abantu 6,650 gavumenti egenda kubajjulula okubagya mu nsozi ebatwale e Bulambuli.

Yasabye abakulembeze okumatiza abantu okuva mu nsozi baleme kufiirayo nkuba batwalibwe mu bifo gavumenti gy’esobola okubakuumira.

Bo ababaa baasabye gavumenti erowooze ku ky’okugula obuuma obukwata laddu kuba nayo eyolekedde okugyonyesa abantu mu biseera by’enkuba esuubira okutonnya okutuuka mu  December .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.