TOP

Kkooti eragidde Sudhir ne bbanka bateese

By Musasi wa Bukedde

Added 14th September 2017

BALOOYA ba Bbanka ya Uganda Enkulu n’aba Sudhir Ruparelia beenyodde mu kkooti - kyokka Omulamuzi David Kutosi Wangutusi n’abawa amagezi ensonga bazimali­re mu kuteesa ebweru wa kkooti kubanga gwe banaamegga ajja ku­guvaamu n’ebinuubire ebyamaanyi.

Sudhirmpanga1 703x422

Balooya Musinguzi (ku kkono) Peter Kabatsi ne Sudhir ku kkooti eggulo.

 Bya ANNET NALUGWA

BALOOYA ba Bbanka ya Uganda Enkulu n’aba Sudhir Ruparelia beenyodde mu kkooti - kyokka Omulamuzi David Kutosi Wangutusi n’abawa amagezi ensonga bazimali­re mu kuteesa ebweru wa kkooti kubanga gwe banaamegga ajja ku­guvaamu n’ebinuubire ebyamaanyi.

Bbanka Ekulu yatwala Sudhir mu kkooti ng’eyagala asasule obuwumbi 400 bwe balumiriza nti yabufiiriza Crane Bank.

Kyokka ng’omusango ogwo tegunnawulirwa Sudhir n’agenda mu kkooti ng’ayagala bannamateeka ba MMAKS ne AF Mpanga abakiikirira Bbanka Enkulu bave mu musango.

Ensonga zaawa agamba nti bano baali bannamateeka ba kkampuni za Sudhir okuli Meera Investments Limited, Rosebud Limited, Speke Resort ne Crane Bank okumala emyaka 12 era be bamu ku bajulizi b’ayagala okuleeta mu kkooti.

 ooya panga owookubiri ku kkono nabakungu ba banka nkulu okuli argaret asule Looya Mpanga (owookubiri ku kkono) n'abakungu ba Bbanka Enkulu okuli Margaret Kasule.

 

Bannamateeka ba Kampala Asso­ciated Advocates (KAA) abakiikirira Sudhir okuli Peter Kabatsi ne Bruce Musinguzi, baategeezezza nti Balooya abo okuwoleza Banka enkulu kikontana n’amateeka agalung’amya engeri bannamateeka gye bakolamu emirimu gyabwe.

Ekyo kiri bwe kityo kubanga bamanyi ebintu bya Sudhir bingi, tekikkirizibwa okubeera nga be bawolereza eyamuwawaabira.

Kyokka David Mpanga owa FA Mpanga ne Timothy Masembe Kanyerezi (MMAKS), abawolerereza banka enkulu baayanukudde nti ensonga ezireeteddwa Sudhir teziri­imu ggumba.

Bo baali balooya ba kkampuni za Sudhir so si balooya ba Sudhir ng’omuntu.

Baayonged­deko nti etteeka erifuga bbanka lyawukana nnyo n’etteeka erifuga kkampuni ezabulijjo.

Ekirala ensonga ze baakolako ez’amakampuni ga Sudhir ezimu zaali ndagaano za kugula po­loti okugeza e Kawempe, oku­somesa oba okutendeka abakozi b’amakampuni ga Sudhir nga tezirina we zikwataganira ne bigam­bibwa nti Sudhir yakozesa ssente za Crane Bank z’asabibwa okuliwa.

Mpanga yayongedde okukig­gumiza nti Sudhir ne bw’agezaako okunonooza oba okugezaako okum­weyambisa ng’omujulizi we era nakyo tekiriimu ggumba.

Kubanga omuntu tayogera bwogezi nti looya Mpanga oba looya omulala yenna ajja kuba mujulizi wange. Wateekwa okubaawo ensonga ez’amaanyi ezisalawo lwaki abeera omujulizi era obujulizi bwe bukoma wa?

Era waliwo ebibuuzo ebikulu ebi­teekwa okuddibwamu okuli Mpanga nga ye mujulizi omukulu?

Asobola okulowoozebwako ng’omujulizi? Era bwe kiba bwe kityo aba mujulizi wa ludda ki?

N’agattako nti Sudhir yan­dibadde n’ensonga ssinga Mpanga ye yereese oba okusaba okwegatta mu musango.

Kyokka kkampuni ye yatuukirirwa Banka enkulu eyagiwa ebiragiro okuyita mu mateeka, Sud­hir akomyewo ssente za Crane Bank.

Kkooti etawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi eyabadde ewulira ensonga zino yabadde ekubyeko nga n’abantu abalala bali bweru.

 mulamuzi angutsi Omulamuzi Wangutsi

 

Era omulamuzi oluvannyuma lw’okuwuliriza balooya yawadde amagezi: ssinga nze mbadde mmwe ensonga twandizimalidde bweru wa kkooti mu kuteesa.

Kubanga bwe munaaleka kkooti ebasalirewo, oludda olumu lujja kuva wano n’ebinuubule eby’amaanyi ate mwenna muludde nga mukolagana.

Wano we yaweeredde Sudhir omukisa okubaako ky’agamba. N’ategeeza: Ssebo omulamuzi oku­bimalira ebweru kijja kuba kizibu mu kiseera kino nga Crane Bank eri mu mikono gya Banka enkulu.

Kyokka ye Muky. Margaret Kasule eyakiikiridde Banka enkulu talina kye yayogedde. Ate Looya Mpanga n’agattako nti ensonga bwe ziba zaakumalira bweru wa kkooti, omu­lamuzi omukulu (Principla Judge) y’alina okuba omutabaganya.

Omulamuzi Wangutusi yawadde olwa November 14, 2017 okuwa ensalaye ku nsonga eno, ssinga eby’okuteesa binaaba bigaanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bujingo2703422 220x290

Bugingo ennyumba gye yazimbidde...

OMUSUMBA Aloysius Bugingo akudaalidde abantu ababadde balowooza nti, enju ye gaggadde gy’azimbira omugole Susan...

Lab2703422 220x290

Aba Ssebulime balangidde minisita...

FAMIRE ya Ronald Ssebulime banyiivu olwa kye baayise Minisita Nantaba okwongera okubalaata n’atuuka n’okujaguza...

Tta 220x290

Nantaba awadde Museveni amannya...

MINISTA Idah Erios Nantaba akaabidde mu kusaba mw’agambidde nti abaagala okumutta bali mu Gavumenti mwennyini era...

Lumba 220x290

Abadde afera abaagala Viza bamuyodde...

KITUUFU Kampala si bizimbe. Abantu basula bayiiya ng’ate abalala bafera bannaabwe okuba obulungi.

Kola1 220x290

Empeta za bba wa Babirye zibuzaabuza...

ABALONZI b’omubaka Paul Musoke Ssebulime owa Buikwe County North era bba w’omubaka omukazi owa Buikwe bali mu kwewuunaganya...