TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muganda wa Ivan Ssemwanga bamuggye e S.Afrika nga muyi

Muganda wa Ivan Ssemwanga bamuggye e S.Afrika nga muyi

By Martin Ndijjo

Added 14th September 2017

GEORGE Ssemwanga mukulu w’omugenzi Ivan Ssemwanga eyamutwala e South Afrika n’amuyigiriza n’okukola ssente bamukomezzaawo mu Uganda ng’embeera ye eyungula ezziga.

Sirpinto2 703x422

Sir Pinto,(mu katono ye mugenzi Ssemwanga)

Bya Martin Ndijjo, Joseph Makumbi ne Joseph Mutebi

GEORGE Ssemwanga mukulu w’omugenzi Ivan Ssemwanga eyamutwala e South Afrika n’amuyigiriza n’okukola ssente bamukomezzaawo mu Uganda ng’embeera ye eyungula ezziga.

Ssemwanga amanyiddwa nga Sir. Pinto, yakomezeddwaawo okuva mu kibuga Pretoria gy’abadde abeera oluvannyuma lw’okujjanjabibwako mu South Afrika kyokka ng’embeera ye yeeyongera kwonooneka.

Lawrence Ssennyonga amanyiddwa nga ‘King Lawrence’ owooluganda lwa Ssemwanga era bwe baali bacakala n’okumansa ssente, yategeezezza Bukedde nti, abadde amaze wiiki nnamba nga mulwadde e South Afrika kyokka baalabye ayongera kuba bubi, kwe kumuzza kuno.

 ir into ku ddyo ngayogera mu lumbe lwa van semwanga e uyenga Sir Pinto (ku ddyo) ng’ayogera mu lumbe lwa Ivan Ssemwanga e Muyenga.

 

Zari Hussein maama w’abaana b’omugenzi Ivan Ssemwanga nga kati y’alabirira bizinensi z’omugenzi e South Afrika yagambye nti, Pinto yakomezeddwaawo mu Uganda wabula tannaddamu kuwuliza mbeera gy’alimu.

Obulwadde bwa Pinto, bukanze aba famire ya Ssemwanga nga batya nti puleesa yandibamalawo bonna.

“Ssemwanga yafa oluvannyuma lw’okukubwa puleesa, awaka tulinawo omulwadde jjajjaffe Samuel Muwanga. Kati ne Sir. Pinto naye wuuyo embeera mbi.” Omu ku bazzukulu mu famire ya ba Ssemwanga bwe yategeezezza.

Ne King Lawrence yakkaatirizza nti, famire puleesa egisumbuwa nnyo. Yagasseeko nti, ye akyatidde n’okugenda mu ddwaaliro lya Kampala International Hospital awali omulwadde okumulabako wabula abaagenzeeyo amawulire ge babawa gatiisa.

George Ssemwanga, ye yasooka Ivan Ssemwanga (omugenzi) okugenda e South Afrika era n’akola ssente ne ziwera n’ajja mu Kampala n’azimba ebisulo by’abayizi e Makerere n’akola ne bizinensi mu Kikuubo n’azimba n’amaka ag’ebbeeyi e Muyenga abamu ge baali bayita aga Ssemwanga (omugenzi).

Eno, gye baakuma n’olumbe okumala ennaku nnya n’omulambo gwa Ssemwanga mwe gwatuukira okuva e South Afrika.

Ssemwanga (omugenzi) bwe yagenda e South Afrika, Sir. Pinto yamulaga engeri gye bakolamu emirimu n’okumufunira aw’okusula okutuusa lwe yeetongola.

Ssemwanga (omugenzi) buli lwe yalinga akomawo mu Uganda, ng’ajja ne Sir Pinto era nga tebatengana.

Okwawukanako ne banne, Sir Pinto si muntu wa kwemulisa era ebiduula gye baamansizanga ssente n’akabinja ka Rich Gang, teyabeerangayo nnyo.

Amaka g’e Muyenga bagatunda

W’alwalidde, ng’amaka ge ag’e Muyenga gatundibwa. Gye buvuddeko, kkampuni ya Ram Properties etunda n’okugula ettaka n’amayumba, yatadde ggoloofa eno erimu ebisenge omukaaga ebisulwamu n’amaliiro gaggadde, ku mukutu gwabwe ogwa Facebook era bagamba nti etundibwa ddoola 1,700,000 (mu za Uganda obuwumbi mukaaga).

Wadde abasinga bulijjo balowooza nti ennyumba eno ya Ssemwanga, ensonda ezeesigika zaategeezezza nti bwe yafuna ekirowoozo okugitunda, Ssemwanga yagyegezaamu n’asasulako ssente ezimu kyokka n’alemwa okuzimalayo.

Oluvannyuma Ivan (omugenzi) yasalawo bagitunde bagabane ssente, n’afa nga tekinnakolebwa.

Edward Cheune mmemba wa ‘Rich Gang’ era nga muganda wa Ssemwanga bwe yabuuziddwa ku ssimu, bino yabiwakanyizza n’agamba nti ennyumba aba Ram gye balanga eri Munyonyo ate eyaabwe (eya Ssemwanga) eri Muyenga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...