TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Uganda ereese enkola empya ku kirwadde kya Sickle cells

Uganda ereese enkola empya ku kirwadde kya Sickle cells

By Muwanga Kakooza

Added 15th September 2017

Uganda ereese enkola empya ku kirwadde kya Sickle cells

Sar1 703x422

Minisita Sarah Opend ng'annyonnyola ku kirwade kya Sickle Cells

GAVUMENTI egenda kuleeta enkola y’okukebera  abagenda okufumbirinagwa okukakasa oba tebalina bulwadde bwa ‘siko seero (nalubiri)’’. Uganda erimu abantu obukadde mukaaga abalina ‘akasigo’ k’obulwadde buno.

Gavumenti era etandise okukebeza abaana bonna abazaalibwa okulaba nga tebalina nsigo zireeta bulwadde buno.

Bino minisita w’eggwanga ow’ebyobulamu Sarah Opendi ye abitegeezezza palamenti ng’ayanukula ebibuuzo by’omubaka Betty Nambooze by'amusoyezza ebikwata ku bulwadde bwa ‘siko seero’ Katikkiro wa Buganda bwe yatuuma ‘’nalubiri’’.

Opendi agambye nti Bannayuganda abawera obukadde mukaaga balina akasigo ak’obulwadde buno era basobola okubusiiga abaana baabwe singa baba tebeekebezza kumanya oba abaagala baabwe be bagenda okufumbiriganwa nabo nabo balina akasigo kano.

Abantu babiri omusajjja n’omukazi bwe baba balina obulwadde buno basobola okubusiiga omwana sso ng’ate omu ku yekka bw’aba alina omwana asobola okuzaalibwa ng’alina ‘akasigo’ kabwo kyokka nga tebumukata.

Opendi yagambye nti abaana abali wakati wa 20,000 ne 25,000 be bazaalibwa nga balina ‘siko seero’ . N’agamba nti enkola y’okujanjaba obulwadde buno okuwonera ddala mu Uganda teriimu wadde waliwo eddagala erisobola okuwewezaako abulina n’aba mu bulamu bulungi

Engeri y’okubuwonya ekolebwa mu mawanga g’ebweru ya kukyusa busomyo mu magumba g’omuntu abulina. Yagambye nti Uganda erimu amalwaliro 40 agasobola okugendebwamu abalina ‘siko seero’ okujanjabwa.

Yagambye nti minisitule eyogeraganyizza n’abakulembeze b’ensikirano omuli ne Kabaka okuyamba mu kulwanyisa obulwadde buno era egenda kusisinkana ne bannaddiini ku nsonga y’emu. Yagambye nti enkola y’okugema obulwadde buno w’eri era abantu basanidde okugijjumbira.    

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera