TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abawakanya ekkomo ku myaka mugende ew’omusawo - Museveni

Abawakanya ekkomo ku myaka mugende ew’omusawo - Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 15th September 2017

Abawakanya ekkomo ku myaka mugende ew’omusawo - Museveni

Mi1 703x422

Pulezidenti Museveni Pulezidenti ayanukudde ebibuuzo ng’ayogera mu lukiiko lwa bannamawulire mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe.

PULEZIDENTI Museveni awadde amagezi abantu ababuusabuusa oba omuntu awezezza emyaka 75 aba akyasobola okukulembera eggwanga, bagende beebuze ku basawo abakugu bababuulire.

Yasinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe ku Lwokusatu ekiro. Bwe baamubuuzizza nti: Ssebo Pulezidenti, okyalina endowooza gye wasooka okuba nayo nti omuntu awezezza emyaka 75 aba anafuye mu mubiri nga tasobola bulungi kukulembera ggwanga? N’addamu nti: Abasawo be batuufu okunnyonnyola obusobozi bw’omuntu kuba be baabikugukamu.

Yabadde ayanukula ekibuuzo ekyamubuuziddwa oba awagira ekyasaliddwaawo ababaka ba NRM abaasazeewo okukyusa Ssemateeka baggye ekkomo ku myaka gya Pulezidenti 75.

Museveni yagambye nti olukiiko olwabadde luyisizza kino si lukiiko lutongole olwa NRM, kyokka babaka ba kibiina abalina eddembe ku ndowooza zaabwe. Yagambye nti ababaka bano asuubira nti baasoose kucookoozebwa!

Bannamawulire okuli Siraje Kizito owa Bukedde ne Simon Kasyate owa NTV be baakubirizza olukuh− haana luno era nga ne baminisita okwabadde; Beti Kamya owa Kampala, Chris Baryomunsi ow’ebyamayumba ne Mwesigwa Rukutana amyuka Ssaabawolereza wa Gavumenti baalwetabyemu.

Pulezidenti yayogedde ku nsonga endala okuliETTAKA Ssemateeka akyogera nti Gavumenti eyeetaaga ettaka esobola okulitwala mu buliwo, kyokka ng’emaze kuliyirira nnannyini lyo ssente ezisaanidde.

Abantu abasinga babadde basiima ssente omubalirizi wa Gavumenti z’abawa kuba omuwendo guba gumanyiddwa era kiba kizibu okuseera abantu ku bbeeyi emanyiddwa n’omwana omuto. Kyokka olw’abantu abatono ababadde bagaana ssente eziba zibaweereddwa, kibadde kiviirako pulojekiti nnyingi okwesiba era n’ekitundu ne kifiirwa.

Bano babadde bagattako n’okuvumaganya Uganda mu mawanga amalala nti eby’eyo tebisobola, ekintu ekibi ennyo. Gavumenti eyagala omuntu bwe bamala okumubalirira ssente nga bazimuwa, ng’omulimu tegunnatandika.

Kyokka bw’aba tamatidde asobola okuddukira mu kkooti oba akakiiko akanaaba kateereddwaawo ne yeekubira enduulu. Omusango guno gulina okuwozebwa mu kiseera ekigere okugeza obutasussa myezi esatu. Era ssinga nnannyini ttaka aguwangula, Gavumenti ejja kumwongerayo ssente endala nga bazigatta ku ze yasooka okusasulwa.

Kyokka mu kiseera ng’omusango guwozebwa, pulojekiti ya Gavumenti erina okuba ng’egenda mu maaso. Ekigendererwa mu bino kwe kulaba ng’emirimu gya Gavumenti tegisannyalala. Kyewuunyisa ate okuwulira omuntu agamba nti Museveni ayagala kutwala ttaka lya bantu. Babagambye nti oluguudo lw’e Kajjansi nninako emigabo?

Bulijjo bw’owaayiriza agenze okulima bw’akomawo, okuswala okudda wa? Abantu abalemesa Gavumenti nga basaba ssente ezitasoboka mbageraageranya ku muntu asaba ejjembe ly’embwa, oyo aba agenderera kukulemesa. Bano etteeka be lizze okukolako. ENGERI GYE BABALIRIRAMU SSENTE Babala ebintu byonna ebiri ku ttaka ne babiwa omuwendo gwa ssente ogubigyamu. Basooka kupima bunene bwa ttaka Gavumenti lye yeetaaga okukolerako. Okumanya omuwendo, beebuuza ku bantu abali mu kitundu abaasembayo okutunda.

Ettaka balibala lyokka, n’ekizimbe ekiriko bakibala kyokka. Bwe kubaako ebirime, basinziira ku miwendo egigerekebwa akakiiko k’ebyettaka aka disitulikiti (District Land Board) buli mwaka. Bagattako ssente z’okutaataaganya omuntu. Ettaka bwe baba balyagala mu bbanga eritasussa myezi mukaaga, bakubisaamu ebitundu 30 ku buli 100 ku ssente ze babaliridde. Kyokka bwe baba nga balyetaaga mu bbanga erisussa emyezi omukaaga, bakubisaamu amagoba ga bitundu 15 ku buli 100.       Pulezidenti ayanukudde ebibuuzo       1 Ebintu bya Gavumenti bibaamu akasoobo mu kuliyirira abantu.

Ate pulojekiti nnyingi ezizze zisuubizibwa ne basenda n’ebizimbe nga e Naggulu, Shimon, Nakawa. Abantu banaggya wa obwesige mu bye mugamba? Gavumenti bw’erwawo okuliyirira omuntu, ssente baba balina okuzongeramu amagoba buli mwaka oguyitawo. Eky’obuteesiga Gavumenti, bingi ebizze bikolebwa okugeza ettaka lya UBC twaliwa musigansimbi n’azimbako wooteeri ya Pearl of Africa Land. Bwe wabaawo pulojekiti etetambula bulungi ng’endala zitambudde, tekitegeeza nti olemereddwa.

2 Bw’ogamba nti abantu abanaaba tebamatidde bajja kugenda mu kkooti, ddala olaba omuntu waabulijjo alina busobozi ki okuwangula Gavumenti? Ekirungi omuwendo gw’ettaka gumanyiddwa mu buli kitundu. Ebbeeyi y’ebirime ebeera yagerekebwa olukiiko lw’ettaka olwa disitulikiti era aba disitulikiti be balwerondera.

3 Lwaki tolinze kakiiko ka Bamugemereire ke wateekawo okunoonyereza ku mivuyo gy’ettaka ne bafulumya lipooti yaabwe? Ebintu Bamugemereire by’anoonyereza tebimanyiddwa, kyokka kino ekiriwo kimanyiddwa bulungi era twetaaga okukinogera eddagala mu kiseera kino.

4 Busuulu omutono gwe wagereka owa 1,000/-, olowooza si y’avuddeko ebizibu by’ettaka bye tulina mu ggwanga? Obwannannyini bw’ettaka obwa mayiro nkola ya sitaani eyaleetebwa Abazungu mu ndagaano ya 1900.

Bakabaka abaaliwo be baatulyamu olukwe ne bakolagana n’Abazungu ne bawaayo ensi yaffe nabo ne babasasulamu mayiro z’ettaka. Abaafuna ettaka abatono baatandika okunyigiriza abantu nga babaggyako busuulu n’envujjo ebiyitiridde.

Abantu baatandika okwekalakaasa ekyaleetera Gavana okuteekawo ekkomo ku busuulu abasenze gwe basasula wa siringi 8 mu tteeka lya ‘Envujjo law of 1928.’ Nnannyini ttaka baamuteekako n’etteeka nga tasobola kugoba musenze ku ttaka, okuggyako ng’afunye olukusa okuva ewa Gavana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ju1 220x290

Laba ekyabadde ku Introduction...

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n'erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

Bobiwine4e1575702705296 220x290

Engule Bobi Wine gye yawangudde...

ENGULE Bobi Wine gye yafunye ey’omuntu asinze okulwanirira eddembe lyobuntu mu Afrika esuubirwa okumwongerako ku...

Kubayo 220x290

Basse omulaalo ne bamuziika ne...

ABATEMU balumbye amaka g’omusuubuzi e Kajjansi ne bawamba omulaalo. Baamututte ku lusozi e Kajjansi okumpi ne Nakigalala...

Kiwalabyeweb 220x290

Kiwalabye awangudde Omutanzania...

Frank Kiwalabye oluwangudde omusipi gwa Africa n'alangirira bwakolerera ogw'e nsi yonna

Ndiko 220x290

Muwala wa Nyombi Thembo asaliddwaako...

FAMIRE ya Nyombi Thembo eyita mu kaseera kazibu oluvannyuma lw’abaana baabwe babiri okugwa ku kabenje.