TOP

Ente zitondoka e Lukaya lwa musana

By Musasi wa Bukedde

Added 15th September 2017

Ente zitondoka e Lukaya lwa musana

Keb4 703x422

ABATUUZE b’e Lukaya bali mu bweraliikirivu olw’enkuba egaanyi okutonnya mu kitundu kyabwe ekivuddeko ebisolo okufa n’ebirime okukala. Bagamba nti newankubadde enkuba etonnya mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo kyokka ekitundu kyabwe enkuba tebannaba kugirabako.

Abatuuze bangi enkuba baabadde bagisuubira okutonnya nga bwe kiri mu bitundu ebirala kyokka n’ebabula. Omugga gwa Kattabazungu mwe babadde baggya amazzi gutandise okukalira.

Abamu ku balunzi okuli, Twaha Ddemba ne Sulaiman Kavuma baategeezezza nti omusana gukazizza omuddo ente zaabwe gwe zibadde zirya nga kati omuddo baguggya ku byalo ebyewala.

Embeera eno evuddeko ente zaabwe okutondoka enjala ng’ate n’amazzi ge zinywa nago ga kkekwa. Embeera eno teri ku balunzi bokka wabula n’abalimi ng’emisiri gya kasooli, ebijanjaalo n’ebirime ebirala bye babadde bakoola tebiriimu mpeke.

Bagamba nti embeera eno yandibaviirako okulumwa enjala. Abaasimba emmwaanyi bagamba nti zitandise okusiriira ebikoola ekiraga nti ziyinza obutabala bulungi.

Abdu Rashid Kayondo yagambye nti wadde omusana gumukosezza naye yagusalidde amagezi bwe yaguze jjenereeta n’atandika okukuba amazzi gaafukkiriza mu nnimiro ye okusobola okutaasa ebirime okukala.

Kayondo yagambye nti yalima omusiri gwa lumonde ng’asuubira enkuba okutonnya mu August kyokka bw’alabye tetonnya kwe kusalawo okumufukkirira kyokka ng’akozesezza ssente nnyingi.

Abalimi baasabye Gavumenti ebakendeereze ku bbeeyi y’ebikozesebwa nga jjenereeta ne payipu ze batambuza nga bafukirira kibayambe okutaasa ebirime byabwe ng’omusana gwaka n’okulwanyisa enjala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe