TOP

Lipooti ku katale k’e Nateete efulumye

By Musasi wa Bukedde

Added 16th September 2017

Lipooti ku katale k’e Nateete efulumye

Co2 703x422

Omumyuuka wa dayirekita wa Kampala, Sam Sserunkuuma ng’ayogera ku by’akatale k’e Nateete

LIPOOTI ku katale k’e Nateete eyanjuddwa n’eragira bonna abazze beenyigira mu mivuyo gy’okutunda ettaka okutudde abasuubuzi baggulweko emisango.

Stephen Ntanzi, Joseph Zziwa ne Edirisa Ndugwa abaali bakulira kkampuni y’abasuubuzi eyitibwa Nateete Vendors Co. Ltd lipooti ebalumirizza nti beetumiikiriza ne bawandiikira kkampuni ku lw’abasuubuzi nga bagisemba etwale ettaka ly’akatale ku lw’abasuubuzi, nti bo tebalyagala! Lipooti yayanjuddwa ku Lwokusatu mu lukiiko lwa loodi meeya Erias Lukwago olwatudde ku City Hall.

EBYASALIDDWAAWO Lipooti esabye Gavumenti (KCCA) okukuuma n’okutangira abatwala akatale kano okukakasa nti bakasigaza nga tewali agobye basuubuzi kubanga KCCA ekaggyamu ssente z’omusolo. l Poliisi ekole mangu fayiro ku poloti z’ettaka ebbiri okuli plot 319 ne 234 bulooka 18 okutudde akatale, eggulewo emisango ku bantu abeenyigira mu kukyusa obwannannyini.

Bannannyini kkampuni y’abasuubuzi bakkirizza okuwa KCCA liizi n’ekyapa era ekitongole kya bannamateeka ba KCCA bakiragidde kyanguwe okukola ku plot 319 ku block 18 okukakasa nti ettaka lidda mu mikono gya Gavumenti.

KCCA eragiddwa egoberere amateeka agafuga obutale mu Kampala baddemu baddukanye n’okulabirira akatale ako. l Lipooti eragidde bannamateeka ba KCCA okulondoola emisango gyonna egiri mu kkooti nga gikwaata ku poloti ebbiri ez’akatale naddala eya 319 ne 234 ku block 18.

KCCA efune abakugu babalirire ebyobugagga n’ensimbi ze yakozesa ng’essaawo akatale ako n’ebyobugagga by’abasuubuzi ebyazimbibwawo kubanga ekiseera kino omuwendo gw’ebintu omutuufu tegumanyiddwa.

KCCA ekole byonna okukakasa nti akatale kasigala mu mikono gyayo era batandikirewo okukalabirira.

Lipooti yanenyezza omu ku balooya ba KCCA eyawandiika ebbaluwa ng’eraga nti akatale k’e Nateete tebakalinaako bwannannyini era tekiddamu.

Wakati mu kuteesa ku lipooti, Loodi meeya ne bakansala abaakulembeddwa Rashid Kibirige, Kenedy Okello, Abubaker Kawalya ne ssentebe Murushid Buwembo baasabye abasuubuzi babe bakkakkamu kuba tewali akkirizibwa kubakoonako.

Bameeya okuli owa Lubaga, Joyce Ssebuggaawo n’owa Kampala Central Charles Musoke Sserunjogi baasabye abakozi ba KCCA abaludde nga bakukutira ku katale kano babonerezebwe. Lipooti eno egenda kusindikibwa ewa Minisita wa Kampala, Beti Kamya basalewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nrm1 220x290

Okulonda kwa ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa ssentebe wa NRM e Mityana kutandikidde mu ggiya

Kalendeweds1 220x290

Obunkenke e Namirembe nga Reverand...

Abooluganda n’emikwano gya bagole ababadde mu lutikko baasirikiridde buli omu nga bwatunuulira munne okutuusa Rev....

Saba 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Nakalembe1 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Sebulime1 220x290

Famire ya Ssebulime ekukkuluma...

FAMIRE y’omugenzi Ronald Ssebulime eyakubwa poliisi amasasi ng’ateeberezebwa okuba mu lukwe lw’okwagala okutta...