TOP
  • Home
  • Amawulire
  • FDC erangiridde olutalo ku by'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti

FDC erangiridde olutalo ku by'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti

By Muwanga Kakooza

Added 18th September 2017

FDC erangiridde olutalo ku by'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti

Nan1 703x422

Nathan Nandala Mafaabi ng'ayogera mu lukung'aana lw'abannamawulire ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi

FDC erangiridde ‘olutalo’ oluzingiramu okusaba essaala n’okwekalakaasa nga bawakanya eby’okukyusa Konsityusoni okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti kye balumiriza nti kigenderera kulemeza Pulezidenti Museveni mu buyinza okutuusa lw’alifa.

Basabye bannaddiini okuli ne Paapa okuvaayo okwogera ku nsonga zino ne basuubiza n’okukolagana n’ebibiina by’obufuzi ebivuganya gavumenti okuli DP n’aba NRM abakiwakanya okulaba nga Konsityusoni tekyusibwa.

Ebikonge by’ekibiina okwabadde Ssabawandiisi Nandala Mafabi,akolanga pulezidenti Alice Alaso ne ssentebe wakyo Wasswa Biriggwa bino be baabitegeezezza bannamawulire e Najjanankumbi mu Kampala.

Era ne boogerera Pulezidenti Museveni amafukuule nga bamugerageranya n’eyali Pulezidenti Idi Amin eyerangirira nti yali agenda kuba Pulezidenti okutuusa okufa.

Alaso yategeezezza nti ekibiina kigenda kuddamu essaala eza buli wiiki ez’okusabira eggwanga okulaba nga Konsityusoni tekyusibwa. N’agamba nti ekibiina kigenda kutalaaga eggwanga nga kikunga abantu okulwanyisa eby’okukyusa Konsityusoni okuggyamu akawayiro 102 (b) akaggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Nandala Mafabi yagambye nti Lwokuna bagenda kwekunga beekalaase  nga batwala ekiwandiiko mu palamenti nga bawakanya eby’okukyusa akawayiro kano. Ate Biriggwa n’agamba nti okukyusa akawayiro kujja kuleetawo okuyiwa omusaayi mu ggwanga.

‘’Tusaba bannaddiini okuli abalabirizi, abasumba ba Klezia ne Paapa okutwegatako okulwanyisa ekikolwa ky’okukyusa Konsityusoni’’ Mafabi bwe yagambye.

Biriggwa yalangidde ababaka ba palamenti abawagira okukyusa Konsityusoni nti balina omulugube ogubaletera okulowooza ku kukkusa embuto zaabwe. Ate Mafabi n’agamba nti abamu ku bawagira bino ‘’akawunti’’ zaabwe mu bbanka ‘’nkalu’’ nga bwavu bwe bubakoza bino.

Abamu ku babaka ba NRM bategeka okuleeta ekiteeso nga basaba sipiika olukusa abakkirize okuleeta ebbago ly’etteeka ly’okukyusa  Konsityusoni   baggyemu ekkomo ku myaka gy’obukuku 75 eyagala obwa Pulezidenti gy’alina okukomako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa