TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eddwaliro ly'omutima litongozza wiiki y'ebikujjuko

Eddwaliro ly'omutima litongozza wiiki y'ebikujjuko

By Joseph Makumbi

Added 18th September 2017

Eddwaliro ly'omutima litongozza wiiki y'ebikujjuko

Mul1 703x422

Abasawo b'eddwaliro ly'omutima e Mulago ng'abannyonnyola ku bujjanjabi bwebawa abantu abatawaanyizibwa endwadde z'omutima

EDDWALIRO ly'omutima erimanyiddwanga  Uganda Heart Institute e Mulago batongozza wiiki nnamba ey’ebikujjuko olw’obuwanguzi obutuukiddwaako mu kujjanjaba obulwadde bw’omutima  nga kati endwadde z'omutima ebitundu 95 ku 100 zisobola okukeberebwa ne zijjanjabibwa mu Uganda. 

Dr. John Omagino dayirekita wa Uganda Heart Institute bwabadde ayogerako eri bannamawulire e Mulago ategeezezza nti, emabega obulwadde bw’omutima bwonna abantu bwebabadde bafuna ng’ekirowoozo kibeera kimu kugenda South Afrika ne Buyindi.

Agasseeko nti, ku ssaawa eno, obulwadde bw’omutima basobola okubukebera ate ne babujjanjaba ku ssente entono.

Agamba nti, obulwadde bw’omutima babwawulamu emitendera esatu okuli; obusobola okujjanjabibwa mu lunaku lumu omulwadde n’adda ewaka okugeza abaana abalina ekituli ku mutima, omutendera ogw’okubiri bebalina ebituli ebibiri n’obuwujjo bw’omutima obuliko obuzibu nabwo basobola okubujjanjaba mu lunaku lumu.

Ayongerako nti, omutendera ogw'okusatu bwebwo bwebajjanjabira mu mitendera okugeza singa omwana  aba alina omutima omulwadde nga balina okusooka okumujjanjaba newayita ekiseera nebamuddamu okutuuka lwawona era bano bokka mwebayinza okufuna abayinga nebasalawo okuwereza ebweru w’eggwanga.

Omogino agamba nti, musango oguyinza n’okusibya omuntu mu Uganda singa awandiikira omuntu ebbaluwa emukkiriza okugenda ebweru okujjanjabibwa omutima ng’ate obusobozi webuli mu ggwanga.

Agattako nti, omulwadde w’omutima yetaaga ddoola 5,000 eza Uganda 18,000,000/- ekiyambako omuntu okukkekkereza ssente z’ennyonyi n’ebyetaago ebirala ebweru w’eggwanga.

Entikko y’ebijaguzo yakuberawo nga September 29, ensi yonna lwegenda okujaguza olunaku lw’omutima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...

2 220x290

Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu...

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu...

Wed9 220x290

Laba ekyali ku Mbaga ya Bobi Wine...

Yalonda ennaku z’omwezi ezeefaananyiriza Kabaka ze yagattibwako ne Nabagereka kye yava yaliwo nga 27 August 2011...

Kidnap4 220x290

Poliisi ezingizza ababadde bawamba...

ABA LDU bazingizza abavubuka ababadde bagezaako okuwamba omuwala wa yunivasite, ne babakubamu amasasi okukkakkana...

Djj 220x290

Dj Frank Jay ebitaala byamuta

Dj Frank Jay takyasabirwa. ali Butuluki akuba baayo miziki ayoola ssente.