TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavumenti egenda kussa empooza ku mwenge n'amazzi bafune ezookulwanyisa akawuka ka mukenenya

Gavumenti egenda kussa empooza ku mwenge n'amazzi bafune ezookulwanyisa akawuka ka mukenenya

By Muwanga Kakooza

Added 18th September 2017

Gavumenti egenda kussa empooza ku mwenge n'amazzi bafune ezookulwanyisa akawuka ka mukenenya

Min1 703x422

Minisita ng'annyonnyola

GAVUMENTI egenda kutandika okuwooza emisolo ku mwenge n’amazzi g’omu bucupa ensimbi eziguvaamu ziyambe  mu kujjanjaba  n’okulwanyisa obulwadde  bwa Siriimu.        

Abantu akakadde kamu n’emitwalo 30 mu Uganda be balina akawuka ka Siriimu kyokka nga gavumenti etegeka okussaawo ensawo ey’okukeberanga abantu ng’asangibwa nako batandikirawo eddagala.

Pulezidenti Museveni era alina entegeka z’okulwanyisa akawuka kano okulaba ng’omwaka 2030 we gunaatukira nga Siriimu ssi bwe bumu ku bulwadde obussa Bannayuganda ku bunkenke.

Okusinziira ku tteeka lya Siriimu eryayisibwa palamenti wamu n’amatteeka agalissa mu nkola agaaleteddwa minisita w’ebyobulamu Ruth Aceng, emisolo ebitundu bibiri buli kikumi eginaawozebwanga ku mwenge okuli bbiya, waragi n’emyenge egy’ekizungu emirala emika (sprits) zigenda kweyambisibwa kujanjaba balina akawuka ka Siriimu.

Akakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku kulwanyisa obulwadde bwa Siriimu akakulirwa    Judith Alyeku  kabadde kekenneenya ensonga zino ne kakiriziganya ne gavumenti emisolo egyo  okugyibwa ku mwenge n’ebintu ebirala gavumenti by’eneeba esazeewo zissibwe mu nsawo y’okulwanyisa obulwadde bwa Siriimu emanyiddwa nga ‘aids trust fund’.

Engeri endala gavumenti gy’esobola okufunamu ssente ez’okujanjaba Siriimu mulimu okuweebwa obuyambi obw’ekika kyonna. Kyokka ababaka bawakanyizza eky’okutondawo ekitongole ekyetongodde  ekirina ne maneja okukola okuddukanya ensawo  y’okulwanyisa obulwadde bwa Siriimu ng’ababaka bagamba nti bijja kukolebwa minisitule okutwalira awamu.

Ababaka era bagambye nti tekyetaagisa lukiiko lugenda kuddukanya nsawo eno kussaawo bantu bagenda kuganyulwa mu ‘nsawo ya Siriimu’ kuba abanaaganyulwamu bamanyiddwa nti be balina akawuka ka mukenenya era nga baba basusuddwa minisitule y’ebyobulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid2 220x290

Ekiri mu Toto Festival e Namboole...

Ekiri mu Toto Festival e Namboole

Man2 220x290

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana...

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako

Nom8 220x290

Norman Musinga mukyala we amuwadde...

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Nom3 220x290

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse...

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse nemukazi we

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards