TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri ab'emmundu gye basse aba Poliisi ku Kaleerwe

Engeri ab'emmundu gye basse aba Poliisi ku Kaleerwe

By Musasi wa Bukedde

Added 18th September 2017

Engeri ab'emmundu gye basse aba Poliisi ku Kaleerwe

Ded1 703x422

Edduuka we battidde abaserikale.

ABATEMU ab'emmundu abasse abaserikale ba poliisi ababadde bakuuma abakozi ba kkampuni y’emigaati eya Denovo ababadde bakuhhaanya ssente ku Kaleerwe.

Baasoose kubalinnya kagere nga bwe babalinda zimale okuwera. Baabazingirizza mu Kiwonvu Zooni e Mulago. Okukuhhaanya ssente baatandikidde Nateete, Kasubi, Bwaise, Nabweru, Lugoba, Kawempe, nga n’ababbi bwe babalondoola.

Bwe baamaze okuggyayo ez’e Mpereerwe, ababbi ne bamanya nti ekibalo kyabwe kikutteyo. Bwe baatuuse ku dduuka eddala e Mulago okumpi n’essundiro ly’amafuta erya Total ku luguudo lw’e Gayaza olwo ababbi abaabadde batambulira ku bodaboda nnya ne bagamba nti ‘kaggweeramu wano.’

Mu ngeri ya kikomando, pikipiki z’ababbi bbiri nga buli emu eriko abasajja babiri ze zaasoose ku dduuka era mu ddakiika ntono ddala n’emmotoka ng’ewerekerwako pikipiki z’ababbi endala bbiri yagguse.

Ababbi beegabye ku nguudo oluva e Kampala okudda e Gayaza n’oluva e Gayaza okuyingira ekibuga ne bazisalako era bino byonna byakoleddwa ng’abali mu mmotoka ekika kya Toyota Noah UAY 999F eyabaddemu abakuhhaanya ssente nga tebamanyi.

Baalinzeeko omuserikale wa poliisi omu n’afuluma n’ayingira mu dduuka era yabadde afuluma n’omuwala ng’akutte ekisawo kya ssente ne batandika okukuba amasasi.

Amasasi gaavuze okumala eddakiika nga kkumi era gaagenze okusiriikiriramu, ng’abaserikale ba poliisi babiri Hassan Mubiru ne Moses Kalungi ababadde bakolera ku poliisi y’e Mutundwe, battiddwa.

Ddereeva eyabadde abavuga naye amasasi gaamukutte mu mbiriizi n’abakozi basatu ng’omu amasasi gaamukutte omukono ate abalala babiri ne bazirika.

Ate abaabadde batambula ebyabwe bangi gaabakwatiddemu amagulu. Omuserikale Kalungi ye yabadde awerekedde omuntu asolooza ssente ate nga Mubiru asigadde mu mmotoka.

Amasasi bwe gaavuze, Mubiru kwe kufuluma ataase munne naye ne gamukwatirawo.

BATUTTE EMMUNDU BBIRI Okusinziira ku baabaddewo ng’ettemu lino likolebwa, olwamaze okufukirira abaserikale n’abakozi ba Denovo amasasi, baakuhhaanyizza ebisawo bya ssente byonna ebyabadde mu mmotoka ne kye baabadde bafulumya edduuka ne bagenda.

Baatutte n’emmundu z’abaserikale bbiri ze baabadde nazo ne bagenda nga bwe bawandagaza amasasi mu bbanga. Kyokka emu ku pikipiki z’ababbi yagaanye okwaka ne bagireka. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi ya Kampala n’emiraano, Emilian Kayima, abantu abaakoseddwa kuliko; Angella Nantongo, Winnie Nansamba n’abalala babiri Noel Nakatudde ne Nakiwala ate ddereeva Kasirye Ssengonzi amasasi gwe gaakutte mu mbiriizi, yafudde ng’atuusiddwa mu ddwaaliro e Mulago.

Obubbi buno, bwabaddewo ku ssaawa 2:00 ez’ekiro ku Lwomukaaga e Mulago mu Kiwonvu. Ababbi munaana abaabadde ku pikipiki nnya ekika kya Bajaj be baabubaddemu.

John Bahika, omu ku basula ku kizimbe kino ng’alinako ne bizinensi yagambye nti, abakuhhaanya ssente za Denovo bazinona buli lunaku ku ssaawa 3:00 ekiro.

POLIISI EZUDDE OLUKWE

Mu baserikale ba poliisi abaatuuse mu kifo ekiro, kwabaddeko n’omuduumizi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano Frank Mwesigwa eyategeezezza nti, bazudde olukwe nga lwakoleddwa abamu ku bakozi mu kkampuni ya Denovo. Denovo kkampuni ekola emigaati, keeki, amandaazi n’ebirala era Mwesigwa agamba nti, mu bamu ku bakozi kwe kuli eyaluse olukwe. “Ne nnannyini kkampuni eno naye anenyezebwa kubanga toyinza kubeera ng’otambuza ssente ennyingi n’okozesa mmotoka yaabuyonjo,” Mwesigwa bwe yagambye.

Mu kifo awaabadde ettemu, poliisi yakwatiddewo omusajja omu avuga bodaboda oluvannyuma lw’okusangibwa ne pikipiki UDM 961R nga talina bigyogerako nga naye talina wadde akawandiiko akamwogerako.

POLIISI YABADDE WA?

Okumpi ne we battidde abaserikale, waliwo poliisi za mirundi esatu mu mmita ezitasukka 500 wabula ababbi baakoze effujjo lyonna ne batuuka okuvaawo nga tewali abakubye ku mukono. Ku poliisi eziri mu kitundu kino, kuliko eri ku kkanisa ya Synagogue of All Nations eya Nabbi Kakande, poliisi y’e Mulago n’ey’oku Kaleerwe wabula tewali wadde omuserikale eyabanuukudde.

ABASIMATTUSE BALOJJA

Everest Hakiiza y’omu ku baasimattuse. Twamusanze ku kitanda e Mulago gy’ajjanjabibwa n'ategeeza nti; Nabadde nva mu kibanda kulaba mupiira.

Nabadde ne bannange, twabadde twakatambulako ebigere nga bitaano byokka kwe kuwulira amasasi. Mu kiseera ekyo twabadde mu kibinja ne bannange bwe twabadde tuva mu kibanda okulaba omupiira wabula buli omu yakutte lirye.

Wabula mu kudduka ekintu kye saasoose kutegeera nti ssasi kyankubye okugulu okwa ddyo ne ngwa ne ngezaako okusituka ng'okugulu kuzitowa nnyo. Nangeze okwetunuulira nga ndi mu kitaba ky’omusaayi omuyitirivu ogwabadde gukulukuta okuva mu kugulu kwange era awo we nategeeredde nti kirabika abasajja bankubye amasasi. Wadde nabadde ngudde, amasasi gaasigadde gavuga.

ABAAFIIRIDDWA BANNYONNYODDE

Olunaku lw'eggulo akaseera kaabadde kazibu ku ggwanika e Mulago oluvannyuma lw’abehhanda z’abagenzi abaserikale Moses Kalungi ne Hussein Mubiru okweyiwa ku ggwanika.

Harriet Kajumba 48, ow’e Bweyogerere Kirinnya yategeezezza nti, bba yasembye okwogera naye ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu ku Lwomukaaga ku ssimu ng’amubuuza ku mukadde amuzaalira omukyala eyabadde ali obubi era nga yeetaaga ssente ku kitanda e Bombo.

Kajumba yategeezezza nti bba yamutegeezezza nti yabadde asindise ssente wabula amawulire ge yazzeemu okufuna, nti yabadde akubiddwa amasasi agaamuttiddewo.

Ate Aida Namakula Nnamwandu wa Mubiru, agambye nti bba yavudde awaka ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi nga bulijjo okugenda ku mulimu kyokka nga mugonvu.

Ye Prossy Nassuuna Nnamwandu wa Kalungi, agamba bba yasiibye musanyufu kubanga yabadde amaze okugula ebintu by'abaana abadda ku ssomero era n'ekyemisana yakiridde waka wabula yagenze okuddamu okumuwuliza nti bamusse.

OMUGAGGA ABADDE ABAKOZESA Abamu ku baserikale ba poliisi y’e Mutundwe abataayagadde kwatuukiriza mannya gaabwe, bagambye nti, abagenzi Mubiru ne Kalungi baluddde nga bakuuma emmaali y’omugagga wa Denovo ategeerekeseeko erya Kasozi, emyaka egisoba mu esatu. Era ababiri bano bokka b'abadde yeesiga era nga be bawerekera mmotoka omuli ssente era nga ne baba tebali ku 'ddyute' bayitibwa okuwerekera ssente.

Emmotoka eno ebaddenga ebanona buli kawungeezi ne baweebwa emmundu ne bagenda okukuhhaanya ssente.

ABASERIKALE BABAKUNYIZZA Omuduumizi wa poliisi ya Kampala South, Haji Siraje Bakaleke, yatuuseeko ku poliiisi e Mutundwe okumanya engeri abaserikale gye baavudde ku poliisi okufiira ku Kaleerwe.

Yasoose mu kafubo n’atwala poliisi y’e Nateete, Muhammad Byansi n’omumyuka w’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Katwe, Francis Tumwesigye.

Oluvannyuma abaserikale bonna ku poliisi y’e Mutundwe baggyidddwaako sitatimenti ku ngeri bannaabwe gye baavudde ku poliisi. Baakizudde nga Hassan Mubiru, omu ku battiddwa yabadde alina kukola misana, ate ye Moses Kalungi ng’alina kukuuma ku poliisi eno ekiro.

ATWALA POLIISI AGGALIDDWA Samuel Kazibwe atwala poliisi y’e Mutundwe ne munne Sgt. Patrick Emojong baakwatiddwa ne baggalirwa e Makindye nga bwe babanoonyerezaako.

Bakaleke yalambuddeko famire z’abagenzi n'abakubagiza era n’asaba abantu okubeera abakkakkamu kubanga poliisi enoonyereza.

Yasabye buli alina ky’amanyi ku butemu buno abategeeze. Yagambye nti poliisi egenda kukwatagana n'abehhanda okukola ku by’okuziika. Ye atwala poliisi y’e Nateete etwala ey’e Mutundwe Muhammad Byansi, awaddeyo amabugo ga 100,000/- eri buli famire y’abagenzi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sharifah1 220x290

Sharifah Kateete waakuvuga ddigi...

Wadde ng'olutalo ku ngule ya MX125 luli wakati wa Wazir Omar ne Fortune Ssentamu, Sharifah Kateete alayidde okubalaga...

Kasozi 220x290

Owa KCCA yeesunga kukaabya URA...

Oluvannyuma lwa Allan Okello, Charles Lukwago ne Nicholas Kasozi okukomawo, Mike Mutebi mugumu nti bagenda kulabya...

Ssengalogo 220x290

Ssenga nsobola okuloga omulenzi...

Mpulira bagamba osobola okuloga omusajja n’akwagala. Ggwe olina ku ddagala ssenga.

Ssengalogo 220x290

Mukazi wange alabika yayenda n’azaala...

Nnina abakyala babiri, mukyala muto ali mu kyalo naye kati omukyala oyo alabika ayenda era yazaala omwana mulenzi....

Ssengalogo 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Nneegatta oluvannyuma ne ngenda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto naye kati mmaze emyezi...