TOP

Eyalumbye poliisi abbe emmundu bamukubiddeyo

By Musasi wa Bukedde

Added 19th September 2017

Abadde agezaako okudduka ne tumunyweza ne tumuteekako empingu naye nga yenna avulubanye omusaayi,”

Sulaitmmundu1 703x422

Sulait nga bamussa ku kabangali ya poliisi okumutwala mu ddwaaliro.

 Bya PATRICK KIBIRANGO

OMUSAJJA alumbye poliisi y’e Kasubi n’agezaako okusikambula emmundu ku baserikale.

Ekyaddiridde kabadde kanyolagano wakati we ne poliisi ekiwalirizza abaserikale okukuba amasasi mu bbanga.

Wakati mu lutalo, eyalumbye poliisi bamukubye ne bamutwala mu ddwaaliro ng’atonnya musaayi.

Sulait Munyadabusa, omutuuze w’e Kasubi mu Zooni III nga mutembeeyi ye yalumbye poliisi n’ayagala okusika ku muserikale emmundu ku ssaawa nga 11:00 ez’oku makya.

Omuserikale annyonnyodde

Omusajja oyo alabika alina bye yazze anywedde. Yatuuse ku poliisi ku ssaawa 11:00 ez’oku makya nga ntudde ku kabalaza ne yeefuula aliko by’angamba.

Nabadde sinnamwanukula, n’ankwata amataayi kwe kumusindika n’agwa eri. Oluvudde wansi atandikiddewo okunsikako emmundu wabula ne mulemesa.

Ekiddiridde kubadde kukwata katebe akabadde okumpi akankube ne nkabaka ne tulwanagana awo ne baserikale bannange we batuukidde ne tumukwata ne tumuyingiza mu kaduukulu.

Kyokka olutuuse munda n’akola olutalo n’atandika okukuba abasibe ekituwalirizza okumuggyayo wabula olubadde okumufulumya n’ayagala asike emmundu ku muserikale omulala.

Oluvannyuma omusajja ono abase eccupa ebadde okumpi agikube omuserikale kyokka n’agyewoma okutuusa bwe tulwanaganye naye ne tumusinza amaanyi oluvannyuma lw’okukuba amasasi mu bbanga n’atya.

Abadde agezaako okudduka ne tumunyweza ne tumuteekako empingu naye nga yenna avulubanye omusaayi,” bwatyo Posiano Asiyu omuserikale alumiriza Sulait okwagala okumubbako emmundu bwe yannyonnyodde.

 ulait nga bwafaanana Sulait nga bw’afaanana.

 

Abooluganda lwa Sulait babiwakanyizza

Oluvannyuma lw’akanyolagano kano n’okubwatuka kw’amasasi, abantu baakungaanidde ku poliisi y’e Kasubi okulaba ogubadde.

Mu baagenze ku poliisi mwe mwabadde n’abooluganda lwa Sulait.

Mukyala we n’abalala  olwakubye eriiso ku Sulait nga yenna takyafaananika, ne batabukira poliisi nga baagala ebabuulire omusango omuntu waabwe gw’azzizza.  

Christine Nannono, mulamu wa Sulait yategeezezza nti poliisi okuggyako ng’ebalaze obukakafu nti ddala omuntu waabwe abadde asika emmundu ku muserikale, tebasobola kukikkiriza kuba tebamumanyi ng’omuntu omuzzi w’emisango. Ekirala bagamba nti talina kitamiiza ky’akozesa.

Sulait yateereddwa ku kabangali ya poliisi n’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago okufuna obujjanjabi.

Yasoose kuggulwako omusango gw’okugezaako okubba emmundu ku muserikale ku SD:Ref 04/17/09/2017 nga bwe bakyanoonyereza.

Kyokka akulira poliisi ye Kasubi, Shiba Nyombi agaanye okubaako ky’ayogera ku nsonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nom1 220x290

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka...

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka ku mukolo gw'okutuuza omulabirizi

Grave1 220x290

Abaffamire ya Nkoyooyo batabuse...

ABA FFAMIRE y’eyali Ssaabalabi­rizi w’ekkanisa ya Uganda, omu­genzi Bp. Livingstone MpalanyiNkoyoyo baguddemu ekikang­abwa...

Sit24 220x290

Abawala babuutikidde abalenzi mu...

Abawala babuutikidde abalenzi mu bya senior 6

Sophia 220x290

Kabakko ayogedde ebya Sheebah ne...

OMUYIMBI Kabakko (akutte akazindaalo) akkakkanyizza emitima gy’abawagizi ba Sheebah Kalungi (mu katono) abangi...

Tim1 220x290

Engeri Omubaka Peter Sematimba...

Engeri Omubaka Peter Sematimba gy'ayiseemu ebigezo bya senior 6