TOP

Batongozza etteeka ku kirime kya Vannila

By Musasi wa Bukedde

Added 19th September 2017

Batongozza etteeka ku kirime kya Vannila

Ri1 703x422

ETTEEKA erigenda okugobererwa abalimi ba vanilla mu gwangga litongozeddwa.

Omukolo gw’okutongoza eteeka lino gw’abadde mu Gomboloola ye Katimu mu disitulikiti ye Luwero ku lwokutaano lwa wiiki ewedde.

Okusinziira ku akwanagannya emirimu mu operation wealthy creation major Alex Baguma agamba nti etteeke lino ligendereddwamu okutumbula omutindo gwa vanilla ssaako n’okumalawo obubbi bwa vanilla mu gwangga ekintu ekiviiriddeko omutindo gwa vanilla okugwa.

Baguma ategeezezza nga ekirime kino bwekiri ekyetunzi ennyo mu nsi yonna nga era buli mu munnayuganda asaanye okwenyigira mu ku kirima.

Etteeka lino likugira okunoga vanilla omuto,obutasuubula vanilla nga tolina bbaluwa ntongole ekukkiriza,obutamala gasaanyaawo nimiro ya vanilla nga era buli Gombolola y’akubeera n’akakiiko akagenda okussa etteeka lino mu nkola.

Ebibonerezo biri wakati w’okusasula engasi ya mitwalo 40 n’okusibwa emyezi mukaaga wabula abalimi ba vanilla abetabye ku mukolo guno baagala ekibonerezo ekiweebwa omubbi wa Vannila kibeere kinene ddala okusingako.

Omugagga Aga Sekalala nga ono ye ssentebe wa balimi ba vanilla mu gwangga nga era mu suubuzi wa vanilla ye bazizza nnyo Gavumenti okuvaayo n'ekola etteeka erigenda okuyamba okutumbula obulimi bw’e kirime kino. 

Ssekalala yasabye bannayuganda kati okola ennyo nga balima vanilla ku banga alimu ssente n’abawa amagezi okuva mu lugambo ne ndowooza ekyamu nti gavumenti y'esala emiwendo gya vanilla mu myaka egiyise.

Ya sabye abalimi ba vanilla okugezaako okukuuma omutindo gwa vanilla okutuuka n’omutindo gwe nsi yonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.

Bada 220x290

Gavumenti etandika Lwamukaaga okugaba...

GAVUMENTI efulumizza pulaani y’okugabira abanaku emmere Pulezidenti Musevi gye yasuubizza oluvannyuma lw’okuyisa...