TOP

Omusiguze atemye nannyini mukazi n'amutta

By Paddy Bukenya

Added 19th September 2017

Omusiguze atemye nannyini mukazi n'amutta

Mus1 703x422

Nakigozi agambibwa okuttisa bba oluvannyuma lw'okumusanga n'omusiguze nga basinda omukwano mu nnyumba

OMUSAJJA omusiguze akaze amaaso n'aggyayo ejjambiya n'atemaatema omusajja nannyini mukazi bw'abasanze nga basinda omukwano mu nnyumba.

Andrew Lukwago yaatemeddwatemeddwa n'afa oluvannyuma lw'okulondoola mukazi we gweyalese awaka okugenda okukola bwe yakomyewo ne wabaawo amutemyako nti mukyala wo alabiddwako n'omusajja nga bapepeya mu ngeri y'omukwano.

Andrew atambudde mpolampola n'agenda ng'alinnya abantu bano akagere ppaka lw'atuuse ku nnyumba y'omwami amanyiddwa nga Thomas Kitagenda n'akonkona omusajja omusiguze olumulabye asiseeyo busisi jjambiya n'amutemaatema n'amutta oluvannyuma n'addayo mu nnyumba okumaliriza emikolo gyabwe.

 oliisi ngezze okuggyawo omulambo Poliisi ng'ezze okuggyawo omulambo

Bw'azzeeyo mu nnyumba omukyala gweyabadde asigudde ategeerekeseeko erya Nakigozi  yamubuuzizza nti kiki ekibaddewo nga ndaba okomyewo n'omusaayi ku mpale obadde ki yamuzzeemu n'amutegeeza nti waliwo ababbi ababadde babalumbye ku ssaawa nya ez'ekiro era baabadde ava okulwanagana nabo.


Obudde nga bukedde abatuuze balabye omulambo gwa Lukwago ku kkubo elikyama ewa Kitagenda ne batemya ku poliisi ye Butambala kyokka olutuuse ewa Kitagenda nadduka n'abulira mu kibira era ne bakwata Nakigozi n'atwalibwa ku poliisi ye Kibibiri anyonnyole

Nakigozi bino abyegaanye nti talina kyabimanyiiko wabula n'agamba nti abadde yakyawagana ne Lukwago nga asusse okumutuntuza n'afunayo Kitagenda era abadde takyali mukyala wa Lukwago.

Poliisi emugguddeko omusango gw'obutemu ku fayiro nnamba SD/5/18/09/2017 nga bwegenda mu maaso n'okuyigga omusiguze bavunaanibwe okusinziira ku akulira okunonyereza ku buzzi bw'emisango mu Butambala Wiliam Basiima

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam