TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bobi wine annyonnyodde ekyamutwala mu ggwa lya America

Bobi wine annyonnyodde ekyamutwala mu ggwa lya America

By Musasi wa Bukedde

Added 20th September 2017

Bobi wine annyonnyodde ekyamutwala mu ggwa lya America

Bo1 703x422

Bobi ng'ali mu ggwanga lya America

Bya Ronald Mugenyi

OMUBAKA Bobi Wine asinzidde mu ggwanga lya America n'asambajja ebyo byonna ebibadde by'ogerwa mbu yaweereddwa ssente n'adduka mu ggwanga aleme kubaawo nga bayisa ekiteeso ekiggya ekkomo ku myaka gya Pulezidnti.

Bobi ategeezezza nti yayitibwa ku mirimu emitongole mu kibuga New York okwetaba mu lukung'aana lw'ebyobulamu n'okwogera ku nsonga z'aba maama abafiira mu ssanya n'ensonga endala nnyingi ez'okuyamba bannayuganda abatali b'e Kyaddondo bokka wabula bannayuganda bonna okutwaliza awamu.

Bobi agambye nti olwaleero agenda ku sisinkana nagagga Bill Gates ng'ono ye mugagga asinga munsi yonna ssaako n'eyali pulezidenti w'eggwanga lya America Barrack Obama era ng'ekigendererwa kwekulaba nga bongera okunyweeza enkolagana ne ba nnayuaganda bafube okulaba nga basalira ensonga z'ebyobulamu amagezi.

Bobi agambye nti kyamwewunyisiza nnyo okuwulira ng'abantu batandise okwogera ebitakwatagana n'okumusibako amatu g'embuzi mbu yadduse mu ggwanga okwewala ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti ekintu kyayise okumusibako amatu g'embuzi okumuliisa engo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo