TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Vision Group esiimye William Pike Kabushenga gweyaddira mu bigere

Vision Group esiimye William Pike Kabushenga gweyaddira mu bigere

By Herbert Musoke

Added 23rd September 2017

Vision Group esiimye William Pike Kabushenga gweyaddira mu bigere

Pik1 703x422

William Pike eyakulembera Vision Group okuva mu 1986 ppaka 2006 Kabushenga weyakwasibwa obuyinza

AKULIRA kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde Robert Kabushenga atenderezza omusingi omunywevu ogwasimibwa gwe yaddira mu bigere William Pike oguyambye kkampuni eno okukula n’okukulembera mu kisaawe ky’amawulire mu Uganda.

Bw’abadde ku mukolo gw’okuggulawo e kizimbe kya ‘Pike House’ eyali Club Silk ekyagulwa Vision Group ekyabbuddwamu amannya ga William Pike, olw’okujjukira n’okumwebaza emirimu n’enkola ze yatandikawo okuzimbiddwa Vision Group okutuuka ku mutendera kweri leero.

“Twagala okwebaza omusingi gwe wasimira kkampuni eno kwetutambulira okutuusa essaawa ya leero.

Ssente ze twakozesezza okugula n’okulongoosa ekizimbe kino zonna zaffe, omulimu gw’okukirongoosa okukissa ku mutindo kwe tukikozesereza gwatutte emwezi ebiri gyokka.

 

 
Zino z’enkola zewatandika omuli okukwata obulungi ssente n’okukola emirimu mu bwangu ate nga gwa mutindo n’ebirala byonna ebituyambye okwekuumira ku ntikko”, Kabushenga bw’agambye.
 
Ayongeddeko nti Pike y’omu ku bantu abakoze ennyo okuzimba ekitongole ky’amawulire mu ggwanga kuba yatandika Vision Group mu kazimbe kamu kyokka n’aleka ng’agigulidde ettaka okwazimbibwa
ebizimbe bye yalekawo Kabushenga ky’agamba nti yafuuka nono bulijjo okusigala nga bazimba n’okugaziya Vision group nga mu kiseera kino Vision Group etudde ku yiika nnya n’ekitundu.

“Tosobola buteebaza Pike olw’omulimu gw’okuzimba ekitongole ky’amawulire mu Uganda kuba ng’oggyeeko okutandika Vision group kati kkampuni esinga obunene n’amaanyi mu kisaawe ky’amawulire mu Uganda, y’omu ku baatandika leediyo za FM ez’obwanannyini”, Kabushenga bw’agamba.

 
Ssentebe w’alukiiko oluddukanya Vision group Mw.David Ssebabi naye yeebazaizza Pike okusimira Vision group omusingi omunyweevu nabo kwe bongerezza okugizimba ng’agamba nti Pike musaale mu lugendo lwa kkampuni eno.

“Nagenda okuggya ku bwa ssentebe bw’akakiiko nasisinkanawo omusingi omunyweevu okuddukanyizibwa kkampuni ekitwanguyirizza naffe okwongereza ku kyatandikibwa era byonna ebituukiddwako kwe byesigamye”, Mw. Ssebabi bw’agamba.

 
Akubirizza abakozi ba Vision group okutunuulira enkulaakulana etuukiddwako ng’akabonero akalaga ekkubo kkampuni ly’ekutte n’okumanya nti okukolera awamu n’amaanyi ky’ekigenda okutwala n’okukuumira kkampuni eno ku ntikko gy’eri mu kiseera kino.

 

 
Ye Pike eyakulira Vision group okuva mu 1986 okutuuka mu 2006, ng’ajudde essanyu, yeebazizza abakulira Vision group okumujjukira n’okukuuma omutindo gwa kkampuni nga guli waggulu.
 
“Nga tutandika kkampuni eno twatandika n’ekizimbe kimu nga tukuba olupalula lumu lwokka, wabula twagenda nga tugula mpola mpola nga we nagendera twalinawo ebizimbe bibiri okuli omukubirwa ekyapa n’ekyali kiteekerwateekerwamu amawulire”, Pike bw’agamba.

Ayongerako nti kisannyusa okulaba nga mu kiseera kino kkampuni erina ebizimbe ebiwerako nga n’emikutu gy’amawulire ewezezza omuli olupapula lwa Bukedde olusinga okutunda mu Uganda, leediyo, TV n’emikutu gya yitaneeti ky’agamba nti kyamaanyi kuba embeera y’amawulire ng’ekyuka n’ebitongole birina okutambula n’ekyukakyuka ezijja.

Ono awadde abavubuka amagezi obutalowooza nti buli kimu kye beegwanyiza basobola okukifuna mu bwangu omulundi gumu wabula okukola empola empola kuba enkulaakulana mu bulamu lugenda omuntu lwalina okutambula n’amagezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...