TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd September 2017

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini

Mob1 703x422

Namuwonge

ETTEEKA erikugira abakozi ba Gavumenti okwambala obubi mu ofiisi litandise okuluma. Lyatandikidde ku mukyala Rosemary Namuwanga ow’omu minisitule y’eby’amateeka ne Konsitityusoni, era nga eyamuyimirizza ye muwandiisi ow’enkalakkalira mu kitongole ekyo Muky. Josephine Namuwongo.

Muky. Namuwongo ebbaluwa yagitaddeko omukono ku lwa mukama we. Namuwanga akolera mu kkooti y’e Kasangati ng’omuwandiisi era nga ye mutaputa mu kkooti eyo. Yayimiriziddwa ku mulimu okumala wiiki bbiri okutandika nga September 21, 2017. Ebbaluwa yannyonnyodde nti Namuwanga bwe yabadde agenze mu ofiisi y’omuwandiisi ow’enkalakkalira okubuuza ensonga eyabadde eremesezza okumusasula omusaala n’ensako eby’omwezi gwa July, yayambadde akateteeyi akamutippye ekintu ekikontana n’ekiragiro ekyaweebwa abakozi ba Gavumenti.

Ku ntandikwa ya May omwaka guno, minisitule y’abakozi ba gavumenti yafulumizza ekiragiro ekiwera abakozi ba gavumenti okwambala mmini ne balambika ebibonerezo bye bagenda okuwa oyo anaakijeemera.

Adah Muwanga akulira embeera z’abakozi yategeeza ng’etteeka lyakafuluma nti baakusooka kulabula buli mukozi yeddeko bw’alema basobola okugaana okumwongeza omusaala oba okusala ku musaalagwe, okumukuza ku mulimu, okussibwa eddaala, okumuyimiriza ku mulimu okumala ekiseera ekigere byonna bwe birema asobola okufiirwa omulimu.

Amateeka gano gakola ku bakozi ba Gavumenti bonna okuli abakola mu minisitule ez’enjawulo, Gavumenti z’ebitundu n’ebitongole bya Gavumenti.

 

EKITONGOLE EKIRAMUZI KYOGEDDE Ow’eby’amawulire mu kitongole ekiramuzi, Solomon Muyita yategeezezza nti, Namuwanga baamulagidde asooke adde eka yetereeze okutuusa nga October 4 lwanaddamu okukola.

Yagaseeko nti, ministule y’abakozi ba Gavumenti yayisa ekiragiro ku nnyambala y’abakozi nga n’ekitongole ekiramuzi mwebakirtwalidde n’agamba nti Namuwanga yamenye etteeka nnamba 2b ne h agakwata ku nnyambala eyabalagirwa.

Yagambye nti, etteeka Namuwanga lye yamenye liragira omukozi wa Gavumenti obutayamba ngatto ziraga kitundu ku bigere, engoye zitippa, engoye eziraga ekitundu ku mabeere, engoye ennyimpi, obutakuza nviiri mpanvu, obutasiiga nnyo mimwa negitemagana n’ebirala era likwata ku basajja n’abakazi. Ne poliisi etteeka lino yatandise okuliteeka mu nkola abantu abambadde obubi tebakyakkirizibwa kuyingira ku kitebe kya poliisi e Naggulu.

ETTEEKA BYE LIRAMBIKA KUNNYAMBALA:

• Abakozi tebalina kwambala mmini, engoye eziraga ebitundu by’omubiri n’okukola enviiri eza langi ezaaka. obusikaati n’obuteteeyi obwambuka waggulu w’amaviivi birina kukoma waka.

• Engoye ezitaliiko mikono n’endala zonna ezitangaala, ng’omuntu osobola okulaba ebitundu ebiri munda tebikkirizibwa ku mulimu.

• Engoye zirina okubikka ebitundu by’omubiri ng’ekkundi, amaviivi, omugongo, amabeere n’ebitundu byonna ebyensonyi.

• Engatto ezisonsekebwamu (open) zino abakazi ze bambala nga zireka ebigere wabweru nga biringiza. Okuzambala mpozzi nga kiragiro kya musawo.

• Abakazi tebakkirizibwa kubeera n’enviiri za langi ezaaka, ne bwezibeera za butonde ezirimu ttinti kimenya etteeka. Ebiviiri ebisibe oba okuteekako embira. Enviiri zirina okukuumibwa nga nnyonjo.

• Okwambala empale mu biseera by’emirimu mpozzi nga ya ssuuti z’abakazi eziriko n’akakooti. Erina okubeera nga mpanvu ng’etuuka ku bukongovule ate nga tekutippye. • Ebyokwewunda ng’emikuufu egireebeetera ku ngulu ne ‘ear rings’ oba ppini tebirina kuddamu kwambalwa mu ofiisi.

• Obugoye bukatippa tebulina kuddamu kwambalibwa mu budde bw’okukola. olugoye lulina okuba nga lunene olw’ekigero. Enjala zirina kubeera nnyimpi nga tezisukka 3cm era nga si za langi.

• Okwezigula n’okwewunda kwonna kulina okusigala nga kwa kigero. ABASAJJA

• Alina kwambala mpale empanvu n’e ssaati z’emikono emiwanvu, okusibirako eettaayi n’ekkooti.

• Engatto nzirugavu oba kitaka z’ezikkirizibwa zokka. Langi endala zonna ezaaka tezikkirizibwa.

• Engatto ezitabikka bigere ziwereddwa, okuggyako ng’omusawo ye yasembye omuntu okuzambala olw’obulwadde. Ebigatto bya nigiina, sappatu, ne langi ezaaka oba entobeke, lugabire, byonna biwereddwa.

• Omusajja bw’ayambala essuuti erina okuba ng’eri mu langi enzikivu nga kiragala omukwafu, kitaka, bbulu, n’enzirugavu.

• Enviiri zirina okukuumibwa nga nnyimpi era nga nnyonjo. Abasajja abatera okukuza enviiri n’okusiba ebiraasi, emirimu gya gavumenti balina okugyesonyiwa bwe baba si beetegefu kukyusa. Kyokka ekiragiro tekyayogedde ku Shawurini.

• Empale zikatippa ziwereddwa. Empale erina okuba nga yeetadde.

• Abakulira abakozi ba Gavumenti mu bitongole ebyenjawulo balagiddwa okumanyisa abakozi bonna ku nkyukakyuka zino ezaaleeteddwa okusobola okwewala okumenya amateeka.

Bitarakwate yagambye nti amateeka ku nnyambala kiri mu mateeka agafuga abakozi ba gavumenti aga Uganda Public Service Standing orders, 2010. Gano galagira omukozi wa gavumenti yenna okwambala mu ngeri emuweesa ekitiibwa era ng’atwalibwa nga wa buvunaanyizibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.