TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd September 2017

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Mus1 703x422

Ssente ng'akutte omwana eyasangiddwa nga kitaawe amusibidde mu kabuyonjo

Bya Reginah Nalunga
 
POLIISI y'omu kagugube mu munisipaali  ye Kawempe eri ku muyiggo gw'omusajja kalittima abatuuze gwe barumirizza okusuza muwala we mu kabuyonjo.
 
Francis Asaba omutuuze mu zooni ya Makerere industrial Area y'anoonyezebwa poliisi oluvannyuma lwa batuuze okumuloopa nga bwa maze ebbanga nga asuza muwala we Recheal Asaba 10 mu kabuyonjo ekimuviriddeko n'okulya envunnyu olw'okuba nti tafuna byakulya. 
 
Embeera eno ewaririzza abakulembeze ne poliisi okugenda baggyeyo omwana mu kabuyonjo gy'abadde asula wabula Asaba olutegedde nadduka ku kyalo.
 mwana nga bamufunidde ekyokulya Omwana nga bamufunidde eky'okulya

Kasim Lubowa ssentebe we kitundu kino ategeezezza nti obumenyi bw'amateeka bubadde bukendedde mu kitundu kyabwe okuggyako obutabanguko mu maka bwa gambye  nti buviriddeko abaana abato okusasulira ensobi za bazadde baabwe.

 
Agasseeko nti omusajja abadde mutuuze wa mu kitundu kino wabula mukyala we yamunobako olw'empisa embi.
 
Asabye abazadde okuzaala abaana ab'ekigero abo bebasobola okulabirira.
 
Nicholas Muyonjo akulira poliisi y'omu Kagugube ategeezezza nti Asaba ne mukyala we bakukwatibwa bavunaanibwe omusango gw'okwesamba obuvunaanyizibwa bwabwe,omusango guli ku fayiro nnamba SD:REF 09/22/09/2017

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Looya1 220x290

Lukyamuzi ne Bwanika basabye kkooti...

EYALI omubaka Ken Lukyamuzi atutte akakiiko k’ebyokulonda mu kkooti Enkulu ng’ayagala ekalagira kayise ekiragiro...

Kasimba 220x290

Abeddira akasimba basonda za kuzimba...

Yategeezezza nti ekika kirina enteekateeka y’okuzimba ekizimbe gaggadde ekituumiddwa 'Akasimba Plaza' okukolerwa...

Seb1 220x290

Hanson Baliruno akubye abawagizi...

Hanson Baliruno akubye abawagizi be omuziki ne yeebaza Katonda olw'ekirabo eky'obulamu

Cot1 220x290

Abalamuzi bayimirizza akeediimo...

ABALAMUZI bakyusizza obukodyo bw’okusaba Gavumenti ebongeze emisaala ne bayimirizza n’okwekalakaasa kwe babadde...

Fdc1 220x290

Salaamu Musumba alangidde ababaka...

OMUMYUKA wa Ssabawandiisi wa FDC Salaamu Musumba alangidde ababaka ba Palamenti ‘’obufere’’ n’ategeeza ng’ekibiina...