TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

By Henry Nsubuga

Added 23rd September 2017

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Seg1 703x422

DPC W'e Mukono Sseguya ng'agezaako okukkakkanya abatuuze ababadde balumiriza poliisi okutulugunya omuntu n'afa

OMUSIBE  azaalidde poliisi ebizibu bw’akwatiddwa n’aggalirwa mu
kaduukulu okukkakkana nga yeeyimbyemu omuguwa ne yeetugira mu
kaduukulu.

Abatuuze bawakanyizza eky’okwetuga nga bagamba nti poliisi mu kukwata
omusibe ono baamutulugunyizza nnyo nga kyandiba nga yabafuddeko ne
baagala bapange eby’okwetuga okubuza obujulizi.

 Ssalongo Muhammad Maviiri omuvuzi wa bodaboda e Namanve y'agambibwa okwetugira
mu kaduukulu ka poliisi ya Model Police Post esangibwa mu kibangirizi ky’amakolero e Namanve.

Maviiri yaloopeddwa ku poliisi eno, mukaziwe ng’agamba nti yamukuba
oluvannyuma lw’okufuna obutakkaaanya mu maka.

Kigambibwa nti omusibe yeetuze mu kiro ekikeesezza olwaleero
ng’akozesa omusipi wadde ng’ate abatuuze bagamba nti tekisoboka kuba
teri musibe asibibwa mu kaduukulu ng’ali mu ngatto, n’omusipi nga bino
bimuggyibwako.

 Abatuuze okuli Paul Lwanga eyabaddewo nga Maviiri akwatibwa agambye
nti abasirikale baamukubye nnyo n’akaaba naye nga tebamuweeza.

Bino babinnyonnyodde DPC w’e Mukono, Rogers Sseguya ne bamutegeeza nti
OC atwala poliisi eno Justus Niyonzima asusse okubaliisa akakanja.

DPC Sseguya agambye nti batandise okunoonyereza ku kituufu ekyasse
Maviiri naye nga bbo mu kiseera kino kye bamanyi nti yeetuze.

Agambye nti omulambo gwe gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago
okwekebejjebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...