TOP
  • Home
  • Amawulire
  • LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd September 2017

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Lum1 703x422

Bya Florence Tumupende

LUMAAMA Francis Mugumya Ntambaazi atabukidde abazadde okukomya okwetundako ebibanja ne badda mukugulira abaana baabwe Bodaboda mu kifo ky’okubaweerera ne batevuma nsi nga bakuze.

“ Uganda ne Buganda biragawa ng’abandibikulaakulanyizza muze mukuwuddiisa abaana bammwe nga mu bagulira Bodaboda?

Mummwe abali wano,waliwo atakimanyi nti bwowerera omwana oba omuwadde obugagga obw'ensibo?

Mu Bodaboda n’okutembeeya ennyaanya mu butale mwe mugenda okuva abasawo,abalamuzi,abasomesa,bannamawulire oba abakulembeze abenkya?

Abaana bammwe bagenda ku bettira nga mulaba bwe banaakimanya nti mwabalimba nakubagulira Bodaboda n’okusiibya mu butale nga benjeera”. Lumaama Mugumya bweyategeezeza.    

Okwogera bino yasinzidde mu lukiiko lw’essazza Kabula oluggulawo omwaka omuggya ,Buganda kweyasiimidde n'ekwasa omukulembeze w’obusiraamu mu Lyantonde Sheikh Mubaraka Ssentale kimeeme w’embuzi nga bamwebaze emirimu amatendo gy'akoze mu Ssaza lino ne disitulikiti okutwaliza awamu.

Lumaama Ntambaazi yasabye abakulembeze mu nzikiriza ezenjawulo n’abakulembeze mu byobufuzi okumukwasizaako bakwate abaana abataayayiza mu butale ne mu bibanda bya Firimu ssaako n’abazadde abakyalemedde abaana awaka olw’okuba sizoni y’okusiga ekubye kkoodi.

Mungeri y’emu yakyukidde abaami ba Ssaabasajja abamaggombolola n’emiruka abakyalina Bursaries  za Ssaabasajja mu kifo ky’okugenda nga baziwa abaana abakoze obulungi nga bwagenda okubagolola ettumba,awamu n’abo abatamanyi buvunaanyizibwa bwabwe obwabakwasibwa.  

Disitulikiti Khadi w’e Lyantonde Sheikh Mubaraka Ssentale yasinzidde mu lukiiko luno nasaba Gavumenti ku nsonga y’etteeka ly’ettaka okusasula bannannyini ttaka nga babawa ensimbi ezegasa mukifo ky’okufuuka emomboze ekiyinza okuvako ettemu mu Uganda.     Mulukiiko luno mwegattiddwamu n’abakulembeze ab’enzikiriza ezenjawulo n’abakungu mu Gavumenti eyawakati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...