TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obufumbo bwa Kenzo ne Remah buyuuga; Bayisinganya nga ffaaza ayita ku ssabo!

Obufumbo bwa Kenzo ne Remah buyuuga; Bayisinganya nga ffaaza ayita ku ssabo!

By Musasi wa Bukedde

Added 24th September 2017

Obufumbo bwa Kenzo ne Remah buyuuga; Bayisinganya nga ffaaza ayita ku ssabo!

Rem1 703x422

Rema ne Kenzo

OBUFUMBO bw’abayimbi Eddy Kenzo (Eddirisa Musuuza) ne Rema Namakula bwongedde okuyuuga!

Kenzo adduse awaka ebiseera ebisinga kati abimala ku situdiyo ye esangibwa ku Salaama Road, eka abeerayo bbalirirwe. Kenzo okwesulubabba awaka kinyiizizza Rema n’amugamba abeere musajja ekimala bw’aba amukooye amubuulire buli omu atandike obulamu obupya! Rema yayongeddeko nti kyonna Kenzo ky’anaasalawo ng’afunye obuvumu okumwatulira, ye (Rema) alayidde obutava mu maka gaabwe ag’omulembe e Sseguku ng’agamba nti naye yateekako ssente ze.

Embeera eno okusajjuka kiddiridde ebbanga ng’abaagalana bano bombi bayomba buli lukya n’obutakkaanya kumpi ku buli kintu era nga buli omu akola bibye. Wabula ekyo babadde bafubye obutakiraga mu bantu n’abawagizi baabwe okuggyako abo ababali ku lusegere ennyo.

Omu ku mikwano gyabwe ow’oku lusegere ataayagadde kumwatuukiriza linnya yakkaatirizza nti; “wali nze sikyalabawo laavu okuggyako olumu lwe babikkako ne balaga nti bali bulungi naye ng’ekiriwo, nkolagana ya mwana y’ebagatta."

 maka ga enzo ne ema agasangibwa e seguku Amaka ga Kenzo ne Rema agasangibwa e Sseguku.

ENSONGA EZIBATABUDDE Kenzo takyalina budde bwa Rema: Wadde bombi bayimbi, Kenzo okuva lwe yalinnya eddaala kati obudde bw’awaka alina butono. Asiiba ku nnyonyi ng’atalaaga amawanga gye bamupangisa okuyimba ng’eno asobola n’okumalayo emyezi 3 nga tewali mpuliziganya.

Ate bw’akomawo, amalawo ennaku 7 nga nazo alina ebivvulu olwo okwandibadde ng’okuwummulamu abeera mu situdiyo ng'ayiiya n’okukola ennyimba empya n'okukola kw’abo abaagala obuyambi.

Rema lwe yeemulugunya amuddamu kimu nti anoonya ssente. Ensonga endala ya biyitihhana nti wadde Kenzo tawa Rema budde, ate amulaba ebiseera bingi nga yeekubizza ebifaananyi n’abawala ng'ali emitala w’amayanja.

Kyokka Kenzo akiddihhana nti alina omukyala omu; Rema, abasigadde bawagizi be. Rema agob ye aba vubuka ba Kenzo awaka Mu kugezaako okutereeza obufumbo bwe, gye buvuddeko Rema yagobye abavubuka ba Kenzo omuli bawolole be n’abamuyamba ku mirimu egitali gimu.

Abeekengera nti kirabika be bamubega n’okubatabula nga bwe batambuza ebigambo wakati w’abafumbo bano. Abavubuka bano kati awaka bagendayo Kenzo gy’ali era ebiseera ebisinga babimala ku situdiyo ku Salaama Road.

Halima Namakula y'akwatiridde obufumbo Omu ku mikwano gya Rema gwe twayogedde naye yagambye nti singa si Halima abamu gwe bayita Ssenga wa Rema, singa ababiri bano tebakyali wamu kuba enfunda eziwerako y’abatabaganya.

Halima y’omu ku bantu ababaddewo mu nsonga za Rema ne Kenzo okuva ku ntandikwa ya laavu yaabwe era kigambibwa, Halima ye yapikiriza Rema okwagala Kenzo wadde waaliwo n’abasajja abalala abaali bamwegwanyiza omwali n’abagagga.

Ku kabaga ka Rema akamu ak’amazaalibwa, Halima eyayogera ku lw’abazadde ba Rema yasaba Kenzo atongoze Rema ng’omukyala ng’amuwoowa n’okwanjulibwa. We yayogerera bino nga waliwo ebigambibwa nti Kenzo alinayo omuwala omulala gw’aganza.

Kenzo bwe yabuuzibwa ku ky’okutongoza Rema nga mukyala we yategeeza nti akirowoozaako era ajja kukikola mu bbanga erinajja kyokka nga mu kiseera kino ekikulu kuzimba kitone kye n’okukulaakulanya famire ye. Halima Namakula tetwasobodde kumufuna kutangaaza ku nsonga zino olw’essimu ye emanyiddwa obutabaako kyokka ne tutegeezebwa nti ali bweru wa ggwanga.

Rema ayogedde Bwe yabuuziddwa ku bibatabudde ne bba Kenzo, Rema yasoose kusiriikirira oluvannyuma n’akkiriza nti obutakwatagana wakati waabwe weebuli naye babukolako era bajja kubugonjoola. “Olaba n’abaana abato baba n’obutakkaanya naye ate ffe abantu abakulu.

Obuzibu bubaawo mu maka. Kati mwe mulowooza ffe Katonda yatutonda mu bbumba ki eryo eritufuula ab’enjawuulo ku bantu abalala abatafuna luyombo. Naffe tulinga abalala era ebyo bibaawo.” Rema bwe yategeezezza.

Bwe yabuuziddwa ensonga entuufu ezibatabula, yagaanyi okuzoogera nti nsonga za famire era bazikolako era buli kimu kigenda kutereera. Bwe yabuuziddwa ku kya Kenzo okuba nti akyagaanyi okumuwasa mu butongole, Rema yazzeemu nti; “Bwe mundaba mbalabikira ng’omuntu ayaggayagga?

Buli kimu kye nneetaaga nkirina era ndi bulungi ne famire yange.” Kenzo ayogedde Bwe yatuukiriddwa ku ssimu Kenzo yategeezezza nti ebyogerwa tebiriimu mulamwa kuba ye ne Rema bali bumu era bali bulungi abamwogerera n’abayita bayuda n’ategeeza nti tewali nsonga emusuza mu situdiyo ng’alina amaka.

Laavu yaabwe gy’evudde Kenzo ne Rema bamaze emyaka ena (4) nga babeera wamu oluvannyuma lwa Kenzo okusuulawo Tracy Nabatanzi maama w’omwana we omukulu. Mu December wa 2014, Rema yazaalira Kenzo omwana waabwe ayitibwa Aamaal ekyayongera okuleeta essanyu mu maka gaabwe era mu 2015 ne bagula amaka ag’ebbeeyi agasangibwa e

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...