TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baleese obukodyo okulemesa ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti

Baleese obukodyo okulemesa ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti

By Musasi wa Bukedde

Added 24th September 2017

Baleese obukodyo okulemesa ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti

Ru1 703x422

Ssemuju Nganda

ENKALU ku kukyusa etteeka ly’emyaka gya Pulezidenti zikyatagaza enjuyi zombi era ab’oludda oluwakanya ekiteeso bategese obulippo butaano okukiremesa okuggusibwa. Wabula n’oludda oluwagira okuggyawo ekkomo ku myaka nalwo lugambye nti lwetegese bulungi okwahhanga obukodyo bw’abawakanya ekiteeso era baakutegulula kalippo ku kalippo.

Enkalu zaatandise ku Lwakuna, ekiteeso lwe kyabadde kisuubirwa okwanjulwa wabula ne kitateekebwa ku birina kuteesebwako nga Sipiika, Rebecca Kadaga agamba nti yeetaaga obudde okuyita mu kiteeso wamu n’ebiteeso ebirala ebiri mu kkowe lye limu.

Ab’oludda oluwakanya ekiteeso baakozesezza embeera gye baayise ey’obunkenke eyabaddewo okusaba omumyuka wa Sipiika, Jacob Oulanyah eyabadde akubiriza kw’olwo ayimirize olutuula olwo era ne bagaana n’okutuula; ekyawalirizza Oulanyah okuyimiriza olutuula n’alagira badde mu Palamenti ku Lwokubiri essaawa 8:00 ez’emisana.

Ebiteeso bibiri bye byasoose okutwalibwa mu ofiisi ya Sipiika nga kuno kuliko ekya Raphael Magyezi (Igara West) ekisaba ennyingo 102 (b) ekyusibwe. Ennyingo eno ekugira omuntu asussizza emyaka 75 okwesimbawo ku Bwapulezidenti bwa Uganda.

Ekiteeso ekyokubiri ky’eky’omubaka Patrick Nsamba (Kassanda North) ekisaba wassibwewo akakiiko akakuhhaanya ebirowoozo ku nnongoosereza zonna ezeetaagisa mu Ssemateeka kassibwewo mu bwangu; ke kaba katunula ne ku ky’emyaka gya Pulezidenti.

OBULIPPO BUTAA NO ABAWAKANYA BWE BAT EGESE

1Akalippo ke bakulembezza ka kulaba ng’ekiteeso ky’omubaka Nsamba kye kisooka mu ddiiro. Mu ntegeka yaabwe, ekiteeso kino bwe kireetebwa ne kitasimbirwa kkuuli, kijja kuba kibawadde omukisa okusaba Sipiika asindike ekiteeso kya Magyezi mu kakiiko akakuh− haanya ebirowoozo ku nnongoosereza za Ssemateeka zonna ezeetaagisa.

Ekiteeso kya Nsamba bakyesigamizza ku kuluhhamya Sipiika Kadaga kw’azze akola ku biteeso byonna ebizze bireetebwa nga byekuusa ku kukyusa Ssemateeka, bwe yalagira Gavumenti ng’eyita mu Minisita waayo avunaanyizibwa ku ssemateeka etegeke ennongoosereza zonna ze baagala zikolwe mu Ssemateeka nga March 2018 tannayita.

Oulanyah yabadde ategeezezza bannamawulire nti Olwokuna we lwatuukidde ng’ekiteeso kya Nsamba kyatuuseeyo dda n’ebisaanyizo byonna ate ekya Magyezi nga kibulako ennyinyonnyola enzijjuvu; wano nawo baagala beesigamewo okusaba ekiteeso ekyasoose okutuuka mu ofiisi ya Sipiika nga kijjudde kye baba basooka okuwuliriza.

Aba NRM abawagira okuggyawo ekkomo kino bakiwakanya nga bagamba nti Olwokuna we lwatuukidde ng’ekiteeso kyabwe kyatuuse dda mu ofiisi ya Sipiika nga kiriko ebyetaagisa byonna (“Notice of Motion” ne “Motion”).

Etteeka nnamba 47 mu ntambuza Ruth Nankabirwa y’emirimu gya Palamenti lirambikanti ekiteeso kyonna okwanjulwa, kirina okuba nga kimaze ennaku ezitakka wansi wa ssatu nga kitwaliddwa mu ofiisi ya Sipiika nga kissiddwaako sitampu.

2 Bongeddeko n’akalippo akalala ak’ekiteeso ekyokusatu ekitegekeddwa omubaka w’abakozi, Sam Lyomoki ekyagala wateekebwewo etteeka eriwa Pulezidenti abeera awummudde enkizo ez’enjawulo; omuli n’obutavunaanibwa musango gwonna.

Baagala n’okugattako ekiteeso ekirala ekikomyawo ekkomo ku bisanja bya Pulezidenti bireme kusukkanga bibiri nga bwe kyali nga Ssemateeka tannakyusibwa mu 2005. Mu kibalo kyabwe, okweyongera kw’ebiteeso ebigwa mu ttuluba erimu kyongera okuggumiza obwetaavu bw’okussaawo akakiiko akakuhhaanya ebirowoozo by’ennongoosereza zonna ezeetaagisa mu Ssemateeka.

Okussaawo akakiiko bujja kuba buwanguzi eri abawakanya eky’okukyusa etteeka ku myaka; wabula aba NRM nga bakulemberwa Nnampala Ruth Nankabirwa baategeezezza nti embeera zonna ezireetawo kiremya ku kiteeso kya Magyezi baazeetegekedde.

3 Ebiteeso byonna ebitakkaanya na kuggyawo kkomo ku myaka gya Pulezidenti byakuleetebwa aba NRM okuli Nsamba ne Lyomoki era biwagirwe aba NRM n’abatalina bibiina kwe bajjira mu Palamenti.

Bakibaze nti kino kya kwongera okutemaatema mu NRM erina ababaka abangi ennyo mu Palamenti, ab’oludda oluvuganya bongere okufuna embavu. Wabula Nankabirwa yagambye nti ababaka ba NRM abawakanya ekiteeso kya Magyezi babalirwa ku ngalo era tebalina maanyi ge bayinza kwongera ku ludda luvuganya Gavumenti. Yagasseeko nti ekiteeso kya Nsamba nakyo baakiwa omukisa mu lukiiko lw’akabondo k’ababaka aba NRM kyokka abaakiwagira baali 4 bokka.

4 Kino bakijjulirizza n’enteekateeka gye bakoze okunafuya Magyezi akulembedde ekiteeso ekiggyawo ekkomo ku myaka nga beesigama ku lipoota eyakolebwa akakiiko ka Palamenti akaaliko Magyezi nga y’amyuka Florence Kintu mu 2013 bwe kaakola lipoota ku nsonga za KCCA kyokka nga kuliko emikono gy’abamu ku babaka egigambibwa nti gyali gijingiriddwa.

Awo we baagala beesigame basabe Sipiika, ensonga eyo eve mu mikono gy’omuntu omu, ezzibwe eri Gavumenti olw’obukulu bwayo kubanga tekibangawo omuntu ssekinnoomu okuleeta etteeka erikyusa Ssemateeka ne liyisibwa. Wabula aba NRM bagamba nti tewali tteeka lyonna likugira Magyezi kuleeta kiteeso ate naddala nga kiwagirwa ababaka abasukka mu 300.

5 Akalippo akalala ka musango ogwatwaliddwa mu kkooti ng’oludda oluwakanya okuggyawo ekkomo ku myaka lukulembeddwa Miria Matembe. Mu musango guno, Matembe yawaabidde Ssaabawolereza wa gavumenti ng’awakanya engeri ekkomo ku bisanja bya Pulezidenti gye lyaggyibwawo.

Mu kino baagala kunaanuula Gavumenti ebeere n’eby’okukolako ebingi kigiremese okutuukiriza nsalessale wa March 2018 eyabaweebwa Sipiika. Omu ku Baminisita awagira okuggyawo ekkomo yatuuse n’okulabula nti Sipiika oba omumyuka we bw’anaagaana okukkiriza kye basaba, balina obusobozi okwekolamu omulimu ne bamuggyamu obwesige ekifo ne bakironderamu omuntu omulala anaayisaamu kye basaba kuba tekirina bwe kikontana na mateeka.

nti ekiteeso kyonna okwanjulwa, kirina okuba nga kimaze ennaku ezitakka wansi wa ssatu nga kitwaliddwa mu ofiisi ya Sipiika nga kissiddwaako sitampu. 2 Bongeddeko n’akalippo akalala ak’ekiteeso ekyokusatu ekitegekeddwa omubaka w’abakozi, Sam Lyomoki ekyagala wateekebwewo etteeka eriwa Pulezidenti abeera awummudde enkizo ez’enjawulo; omuli n’obutavunaanibwa musango gwonna. Baagala n’okugattako ekiteeso ekirala ekikomyawo ekkomo ku bisanja bya Pulezidenti bireme kusukkanga bibiri nga bwe kyali nga Ssemateeka tannakyusibwa mu 2005. Mu kibalo kyabwe, okweyongera kw’ebiteeso ebigwa mu ttuluba erimu kyongera okuggumiza obwetaavu bw’okussaawo akakiiko akakuhhaanya ebirowoozo by’ennongoosereza zonna ezeetaagisa mu Ssemateeka. Okussaawo akakiiko bujja kuba buwanguzi eri abawakanya eky’okukyusa etteeka ku myaka; wabula aba NRM nga bakulemberwa Nnampala Ruth Nankabirwa baategeezezza nti embeera zonna ezireetawo kiremya ku kiteeso kya Magyezi baazeetegekedde. 3 Ebiteeso byonna ebitakkaanya na kuggyawo kkomo ku myaka gya Pulezidenti byakuleetebwa aba NRM okuli Nsamba ne Lyomoki era biwagirwe aba NRM n’abatalina bibiina kwe bajjira mu Palamenti. Bakibaze nti kino kya kwongera okutemaatema mu NRM erina ababaka abangi ennyo mu Palamenti, ab’oludda oluvuganya bongere okufuna embavu. Wabula Nankabirwa yagambye nti ababaka ba NRM abawakanya ekiteeso kya Magyezi babalirwa ku ngalo era tebalina maanyi ge bayinza kwongera ku ludda luvuganya Gavumenti. Yagasseeko nti ekiteeso kya Nsamba nakyo baakiwa omukisa mu lukiiko lw’akabondo k’ababaka aba NRM kyokka abaakiwagira baali 4 bokka. 4 Kino bakijjulirizza n’enteekateeka gye bakoze okunafuya Magyezi akulembedde ekiteeso ekiggyawo ekkomo ku myaka nga beesigama ku lipoota eyakolebwa akakiiko ka Palamenti akaaliko Magyezi nga y’amyuka Florence Kintu mu 2013 bwe kaakola lipoota ku nsonga za KCCA kyokka nga kuliko emikono gy’abamu ku babaka egigambibwa nti gyali gijingiriddwa. Awo we baagala beesigame basabe Sipiika, ensonga eyo eve mu mikono gy’omuntu omu, ezzibwe eri Gavumenti olw’obukulu bwayo kubanga tekibangawo omuntu ssekinnoomu okuleeta etteeka erikyusa Ssemateeka ne liyisibwa. Wabula aba NRM bagamba nti tewali tteeka lyonna likugira Magyezi kuleeta kiteeso ate naddala nga kiwagirwa ababaka abasukka mu 300. 5 Akalippo akalala ka musango ogwatwaliddwa mu kkooti ng’oludda oluwakanya okuggyawo ekkomo ku myaka lukulembeddwa Miria Matembe. Mu musango guno, Matembe yawaabidde Ssaabawolereza wa gavumenti ng’awakanya engeri ekkomo ku bisanja bya Pulezidenti gye lyaggyibwawo. Mu kino baagala kunaanuula Gavumenti ebeere n’eby’okukolako ebingi kigiremese okutuukiriza nsalessale wa March 2018 eyabaweebwa Sipiika. Omu ku Baminisita awagira okuggyawo ekkomo yatuuse n’okulabula nti Sipiika oba omumyuka we bw’anaagaana okukkiriza kye basaba, balina obusobozi okwekolamu omulimu ne bamuggyamu obwesige ekifo ne bakironderamu omuntu omulala anaayisaamu kye basaba kuba tekirina bwe kikontana na mateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...