TOP

Engeri Bobi gye yeezoobye ne poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 24th September 2017

Engeri Bobi gye yeezoobye ne poliisi

Gu2 703x422

Poliisi ng’etwala Bobi Wine.

Omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) olwatuuse ku kisaawe e Ntebe, abapoliisi nga bakulembeddwaamu omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Frank Mwesigwa n’akulira ebikwekweto \mu Kampala James Ruhweza ne bamwetooloola. Baamusabye agende ku poliisi y’omu kisaawe boogeremu naye kyokka n’agaana wakati mu nduulu z’abawagizi be.

Yabazzeemu nti okwogera ne poliisi tekyabadde mu nteekateeka ze, olwo ne yeesogga emmotoka ye. Emmotoka yatambuddeko katono n’esanga nga poliisi esazeeko oluguudo. Wano baamazeewo essaawa bbiri nga poliisi emulagira ave mu mmotoka akole sitetimenti alyoke agende.

Kyokka yakalambidde nti lwaki akola sitetimenti nga talina musango? Mwesigwa yamutegeezezza nti, avunaanibwa omusango ogwekuusa ku katambi n’ekiwandiiko bye yaleka asaasaanyizza ku mikutu gya Social media ng’avumirira abawagira okuggya ekkomo ku myaka. Yakkirizza n’agenda okukola sitetimenti, era egimu ku misango egyamugguddwaako mulimu okukuma mu bantu omuliro. Bobi Wine eyayingidde poliisi ku ssaawa 7:00 ez’emisana yavuddeyo ku 3:00 ez’ekiro.

 obi ine ku poliisi e tebe Bobi Wine ku poliisi e Ntebe.

 

Okuyimbulwa yasoose kwekandagga, n’ayimbira mu kaduukulu nga bw’alangira abaserikale okuba abatiitiizi, abannanfuusi, era abalyake. Bwe yayongedde okwekalakaasa, akulira ebikwekweto bya poliisi mu Kampala, James Ruhweza yazze n’alagira bamuyimbule ku kakalu ka poliisi. Yatudde mu mmotoka ye ne bamuwa emmotoka ya poliisi eyamukulembedde okutuuka mu maka ge e Magere.

Ebimu ku BIRI mu katambi “ ...Pulezidenti Museveni ssebo, nkusaba oyimirire ku mazima era oleme kuswazibwa abo ababaka abaluvu abaagala okukusiba mu buyinza, bo baagala okukkusa famire zaabwe n’embuto zaabwe.

Jjukira mu 1986 watusaba emyaka 4 gyokka otereeze eggwanga era oweeyo obuyinza ekintu Bannyuganda kye bakkiriza. Mu 1990 waddamu n’otusaba emyaka emirala 5 gyokka osobole okuteekawo Engeri Bobi gye yeezoobye ne poliisi Ssemateeka eggwanga ligende mu maaso ne tukkiriza.

Mu 1995 wakomawo n’otusaba ekisanja ekisembayo osobole okutereeza by’otonnamaliriza era ne tukkiriza, mu 2001 wakomawo era n’otusaba ekisanja ekisembayo nga Ssemateeka bw’alagira, 2005 watusaba tukuwe obwesige osobole okutuukiriza byonna bye wali wasuubiza okutukolera, 2011 wakomawo ng’otusuubizza bonna bagaggawale abantu ne bakwesiga...

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono