TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaserikale abattibwa ku Kaleerwe baali basasulwa emitwalo 20 buli lunaku’

Abaserikale abattibwa ku Kaleerwe baali basasulwa emitwalo 20 buli lunaku’

By Musasi wa Bukedde

Added 24th September 2017

Abaserikale abattibwa ku Kaleerwe baali basasulwa emitwalo 20 buli lunaku’

Bat1 703x422

Ssekate ng'ayogera ne bannamawulire ku kitebe kyA psu e Bukoto

POLIISI ng’eyita mu kitongole kyayo ekya Professional Standards Unit ( PSU) etandise okunoonyereza ku ngeri abazigu gye battamu abaserikale baayo abaakubwa amasasi agattirawo babiri ku Kaleerwe wiiki ewedde.

Omwogezi wa poliisi atwala ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango era nga y’ayogerera PSU, Vicent Ssekate yagambye nti abaserikale, SPC Hussein Mubiru ne Moses Kalungi abakolera ku poliisi y’e Mutundwe abaakubwa amasasi ku Kaleerwe nga bawerekera aba kkampuni y’emigaati eya Denovo baali bakikola mu bumenyi bw’amateeka n’okuweebwa emitwalo 20 buli lunaku.

“Tuli mu kunoonyereza engeri abaserikale abaakubwa amasasi ku Kaleerwe gye baatandika okuwerekera aba kkampuni ya Denovo nga bakuhhaanya ssente mu ba ajenti baayo kuba kino baali bakikola mu bumenyi bw’amateeka,” Ssekate bwe yagambye.

Yagambye nti baazudde nti kino kibadde kikolebwa mu bukyamu okumala emyaka etaano n‘okusoba nga kibadde kizze kisikirwa buli abadde asindikibwayo okukulira poliisi y’e Mutundwe. Yategeezezza nti buli baserikale lwe babadde bagenda ku mulimu guno nga bawandiika mu kitabo nga bwe bagenze okulawuna oba nga bwe baliko amawulire ge bafunye mu kitundu ky’e Kabojja (awali kkampuni ya Denovo) nga batera okukikola ku ssaawa 1:00 ez’akawungeezi buli lunaku.

Yagambye nti oluvannyuma lw’okuwerekera abanona ssente poliisi ebadde eweebwa emitwalo 20 buli lunaku era nga guno gubadde gwafuuka mulimu eri Mubiru kuba abadde akikola buli lunaku ekibadde kimenya amateeka kuba abaagala okuwerekera ssente balina okuwandiikira omuduumizi wa poliisi mu ggwanga nga basaba era ssente zonna balina kuzisasula gavumenti so ssi poliisi.

Yannyonnyodde nti mu kunoonyereza kuno PSU egenda kuyita buli eyali akulira poliisi y’e Mutundwe mu bbanga ery’emyaka etaano emabega okubaako bye bannyonnyola ku nsonga eno.

Yagasseeko nti abaserikale basatu be baakwatiddwa okuli ASP Samuel Kazibwe abadde akulira poliisi y’e Mutundwe, Sgt. Patrick Omojong ne AIP Patrick Ouma bayambeko mu kunoonyereza.

Nga September 16, 2017 abazigu b’emmundu batta abaserikale babiri ne ddereeva eyali avuga mmotoka ya kkampuni ya Denovo ne bakuuliita n’emmotoka omwali ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte