TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Musumba Muwanguzi avumiridde abasalira abagoberezi ebiweebwayo

Musumba Muwanguzi avumiridde abasalira abagoberezi ebiweebwayo

By Moses Lemisa

Added 24th September 2017

Musumba Muwanguzi avumiridde abasalira abagoberezi ebiweebwayo

Ngu1 703x422

Omusumba Zaid Muwanguzi ng'abuulira

OMUSUMBA w’abalokole alumbye banne abasalira abagoberezi ssente ze balina okuwaayo ng’ebirabo kye ky'agambye nti kino bakikola kubba bubbi bantu.

Zaid Muwanguzi ow’ekkanisa ya Ndejje Victory  Church esangibwa ku luguudo lwe Ndejje  asinzidde mu kusaba olwaleero n'avumirira abasumba abasalira endinga zaabwe ssente ez'okuwaayo mu kkanisa ky'ayise okuva ku mulamwa nga bino by'ebimu ku bivumaganya ekkanisa z'Abalokole.

“Abasumba  baayitibwa naye ne batafuna kutendekebwa ng’ebimu  babikola nga bbo abantu so si nga bbayibuli kuba mu bbayibuli waliwo omukazi eyawaayo ekiwebwayo ng’ekirabo era katonda teyakigaana naye gwe n’okutuuka okusalira abantu ssente nti toyagala binusu , omutwalo katonda tagwagala kikyamu obwo buba bubbi bwennyini obukontana n'amateeka g'akkanisa ya yesu; Muwanguzi bw'atyo bwategeezezza

Ayongedde n’avumirira n’abantu abawaayo  mu mmakanisa n’ekigendererwa ky’okweraga ng’abamu bakozesa n’emikuttu gy’amawulire okubalaga nti baawaddeyo oba balina abantu be bayambye nga kino bakikola nga bbo kuba Okugaba okwekyama kusinga okugaba okw'olwaatu.

Asabye n’abazadde okuyigiriza abaana baabwe empisa ennungi okusingira ddala n'okusingira ddala okubatwalanga mu kkanisa bakule nga batya Katonda.

Mu kusaba kwekumu omusumba Haruna Nsereko omumyuka wa Muwanguzi ategeezezza nga bwe bategese okusaba kwa Independence nga  8 October okuva ssaawa 11 ez'akawungezi okutuuka ssaawa 6 ez’ekiro olunaku lwa Independence  9 n’ekigendererwa ky’okusabira eggwanga ,Obufumbo bwa nannayuganda , Minisitule ez'enjawulo ssaako n'abantu sekinnoomu.

Agasseeko nti okusaba kuno kwa kusumululwa kuba  abantu bangi bali mu Bufumbo, ku mirimu naye nga balina ebibakutte nga betaaga okufuna obwetwaaze mu bulamu bwabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...