TOP

Makolo Kavuma ne Mutyaba batenda Nalufenya

By Musasi wa Bukedde

Added 25th September 2017

Makolo Kavuma ne Mutyaba batenda Nalufenya

Mak1 703x422

MAKOLO Kavuma ne Isaac Mutyaba bakyalojja bye baayiseemu e Nalufenya gye baabasibira ku misango egy’okukuma omuliro mu bantu. Baayimbuddwa nga bamaze ennaku ttaano mu buduukulu bwa poliisi obw’enjawulo okuli Nalufenya ne ku CPS mu Kampala.

Baakwatibwa ku Mmande ya wiiki ewedde oluvannyuma lw’okwogera ebikankana nga bawakanya eky’okukyusa ennyigo 102(b) eyogera ku kkomo ku myaka gya Pulezidenti. Balojja Nalufenya, gwe bagamba nti bwe bakusibirayo obeera ng’ali mu mpuku. Majidu Kavuma amanyiddwa nga Makolo Kavuma eby’ekkomera gye bamaze ennaku ttaano abinyumya nga lutabaalo:

Mu kiro ekyakeesa Mmande nga 18/09/17, zaali ssaawa nga 11 ez’oku makya, nnali nva ewange nga ng’enda ku muzikiti gwa BK okusaala ndyoke ngende ku mulimu, nnali ntambula okutuuka ku muzikiti, emmotoka ekika kya Mark II n’enneekiika mu maaso. Mwalimu abasajja bana, ne bakookinga emmundu ne bandagira nnyingire emmotoka yaabwe, nasooka ne njagala okuwalira, naye nga bangi bannwanyisa ne bankasuka mu mmotoka munda.

Bandagira nkubire Isaac Mutyaba bwe tukuba essimu ku leediyo nti naye ajje ne ng’aana, banziggyako essimu yange ne banoonya ennamba ya Mutyaba ne bagikubako nga bakozesa essimu yange, ne bandagira muyite ku mpaka. Saalina kyakukola ne muyita, n’atusanga ku Cafe Javas ewa Bakuli, naye olwatuuka ne bamukwata ne bamuteeka mu mmotoka.

Batulanga kuwakanya kkomo ku myaka Nga tebanatukwata, ku Lwomukaaga twali mu pulogulaamu ya “Ne Gw’ozadde” ku Top Leediyo, twaliyo n’omubaka Semeo Nsubuga, Kansala Muhammad Ssegirinya ow’e Kawempe, Wilson Wasswa wa NRM okuva e Mityana nga tuli ne Mutyaba. Twayogera ku nsonga ya pulezidenti bwe yali ku leediyo Buddu ng’ayogera ku nsonga z’ettaka, nti abantu abaakuba amasimu baali bategeke, kuba amasimu gaffe baagaana okugakwata nga bakwata ge bamanyi, mpozzi n’okuwakanya okukwata ku nnyingo ya 102b mu ssemateeka w’eggwanga okukyusa emyaka gy’omukulembeze w’eggwanga.

Ndowooza nti bino bye byatuzaalira ebizibu, era mu mmotoka twagenda bye batugamba. Baatuvuga okwetoloola Kampala nga baliko beebakubira essimu okubuuza gye baba batutwala. Baatutwala ku poliisi ya CPS, baatuggya mu mark II ne batuteeka mu ya poliisi enzimbe ne batusibiramu.

Waliwo omuvubka wa boda eyalina gw’aleese, namulaba ne mmuwa ennamba ya mukyala wange mu bubba n’amukubira ne bakubira bannabyabufuzi. Amangu ddala omubaka Alan Ssewanyana yatuuka, n’ajja n’abamawulire, bwe baalaba ng’abantu baweze ku mmotoka ne bagitwala emmanju wa poliisi. Wajja abasajja abalala ne batusiba ebigoye mu maaso, ne batutwala munda mu ofiisi ya Flying Squad ne batukuba emiggo, eno twabeerayo okutuusa akawungeezi. Batutwala mu kkomera munda, ku ssaawa nga 6.00 ez’ekiro, batuteeka ku mpingu, twababuuza gye batutwala, ne batugamba tetulina lukusa kubuuza.

Bankuba emiggo ne tteke ku busajja oluvannyuma ne batuteeka mu mmotoka ne batuvuga ne batutwala e Nalufeenya. Twatuuka tuli bubi E NALU FENYA Olw’okutulugunyizibwa kwe twayitamu twakosebwa nnyo, nga Mutyaba takyasobola na kutambula ate nga nze nfuuyisa musaayi.

Atwala poliisi y’e Nalufenya gwenzijukirako erya Tyson, bwe yalaba ng’embeera yaffe mbi n’agaana okututeeka mu kkomera, baatutwala mu kalwaliro k’e Nalufenya okutujjanjaba, abasawo bwebeekebejja ne balaba nga Mutyaba ali bubi, ye ne bagaana okumusigaza, ne bamukomyawo ekiro ekyo ku CPS, nze ne bansibirayo.

Nalufenya ntaana ya ku nsi Bannyingiza mu kaduukulu awatali wadde kulaba ku kitangaala, twalimu abasibe musanvu, naye nga tosobola kumanya nti oba obudde bukedde oba buzibye, ekyanewuunyisa twalimu n’omwana ow’emyaka 15 gwe baasibirayo.

Nnali naakasulayo olunaku lumu ne nziyira olw’embeera y’ekkomera lino, nasulayo ennaku bbiri, ku lwokusatu ku makya ne banzigyayo n’abasibe abalala ne batukomyawo ku poliisi ya CPS ku ssaawa nga 12 ez’akawungeezi. Nafuna omukisa ne nkubira Loodi meeya, Elias Lukwago essimu n’aweereza balooya be ne bakwatagana n’aba famire yange ne batandika okugoba ku ky’okutweyimirira.

Ku Lwokuna ku makya, twayogerako ne Hilarry akulira okunoonyereza mu Flying squad, twamusaba atukkirize tweyimirirwe era ku Lwokutaano ne batukkiriza okweyimirirwa.

Baggulewo omusango mu PSU Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Asan Kasingye bwe yatuukiriddwa ku bya Makolo ne Mutyaba okuvunaana poliisi okutulugunyizibwa mu kaduukulu ka poliisi e Nalufenya n’okukwatibwa ku misango emipaatiike, yagambye nti, bwe baba balina okwemulugunya, bakutwale mu kitongole kya poliisi ekikwasisa empisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...