TOP

Omugole eyawambiddwa amukwasizza

By Musasi wa Bukedde

Added 26th September 2017

Omugole eyawambiddwa amukwasizza

Nop1 703x422

Omugole Umwali

OMUYIGGO gw’omugole omusajja James Baingana eyabuziddwaawo e Bweyogerere guyingidde olunaku olwokuna poliisi n’ekwata omu ku bantu abaasembayo okwogera naye nga tebannamuwamba.

Baingana yabuziddwaawo ku lunaku lw’akasiki k’emabaga ye ku Lwomukaaga okuva mu maka ga kojja we Vincent Nabenda e Bukasa Kirinnya mu Munisipaali y’e Kira. Yawambiddwa abasajja bana abaabadde mu mmotoka enzirugavu kika kya Toyota Corona UAK 202B abaamukimye awaka mu ssawa z’amalya g’ekyemisana.

Okusinziira ku mugole omukyala, gwe baalese mu bitaala ng’ebula olunaku lumu lwokka embaga ye etuuke, Umwali Annomaomo yategeezezza Bukedde nti, bba okutwalibwa yanoneddwa omusajja Deo Sikubugaabo era ono poliisi gwe yakutte abitebye. John Musafiiri eyabadde ne Sikubugaabo ku kkanisa ya Bukasa SDA ku Lwomukaaga yagambye nti, basoose kukubira Sikubugaabo ssimu nga beefudde abaagala okubafunira ennyumba ey’okupangisa.

Yagambye nti, baamutegeezezza nti ennamba ye, baddereeva banne ku siteegi y’e Bukasa e Namboole be baabadde bagibawadde nti era bagenda kumwesiga ssente z’ennyumba bazimuwe.

Agattako nti, ku ssaawa nga 8:30 ez’emisana abasajja bana abaabadde mu mmotoka enzirugavu baabadde n’olupapula okwabadde ennamba z’essmu eziwera 10 nga tekuli mannya n’eya Baingana mwe yabadde.

Baamulagidde agiteeke mu ssimu ye agikubeko era olwaginyizeemu, n’ereeta emannya ga Baingana olwo ne bamutegeeza nti, balina essimu gye baabadde balondoola eyabbibwa era olwamutegeezezza ebyo, ne bamubuuza Baingana gy’ali kwe kubatwala awaka ewa kojja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata