TOP

Kansala w’abavubuka e Mpigi bamusse

By Musasi wa Bukedde

Added 26th September 2017

Kansala w’abavubuka e Mpigi bamusse

Kab3 703x422

Nakijoba (ku ddyo) ng’ali mu bulumi.

KANSALA w’abavubuka e Mpigi abatemu baamusse, mukazi we ne bamutema ne bamuleka nga bamusibye emiguwa. Tadeo Ssebunya Kasule 30, omusuubuzi w’ebizimbisibwa abatemu baamusanze mu maka ge e Mpambire mu Mpigi ne bamutema n’afa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro e Nsambya.

Abatemu baalinnye ekikomera kya Ssebunya ne bagwa munda, yagenze okukomawo awaka ne mukazi we nga babalindiridde era olwabadde okuggulawo oluggi, omu ku bazigu n’amutema ekiso ku mutwe. Mukazi we Sophia Nakijoba yabadde agezaako okukuba enduulu naye ne bamutema ekigere ne bamusiba emiguwa n’okumusaba ssente nga bw’aba tazirina waakiri abalagirire we ziri.

Obwedda abatemu bamusaba ssente nga bwe bamugamba nti, “Tetwazze kuzannya, tuvudde Kyotera twagala ssente bw’oba tozireese naawe tukutta”. Baabadde bamanyi nti Ssebunya bamaze okumutta. Olw’emiggo n’okutulugunyizibwa okw’amaanyi Nakijoba yabalimbye nti ssente baazisimira bweru kwe kumusiba omuguwa mu bulago ne bamutwala ebweru abalage we ziri.

Baatandise okusima kyokka bwe baalabye nga tebazituukako ne bata- 8 Bukedde Lwakubiri September 26, 2017 Amawulire Godfrey Nsimbi: Balabika abatemu baludde nga beetegekera okutta kansala naye nga tacakala nga kizibu okumusanga. Kye baavudde basalawo okumuteegera awaka we baamuttidde.

Aminah Babirye, mutuuze; Obutaba na bukulembeze bwa kyalo nakyo kireeseewo obutali butebenkevu mu kitundu kuba wano ssentebe waffe yafa dda kati tetulina ssentebe eyali amumyuka y’akola byonna ng’ate mukazi. Benna Nakijoba: Omugenzi abadde teyeeyisa nga bavubuka, ng’alina empisa ate nga teyeegulumiza nga kizibu okumanya nti mugagga. Tufiiriddwa omuvubuka ow’omugaso atasangika.

Abantu bye boogera buka. Yalabye bakaaye kwe kubalagirira nti ssente ziri mu dduuka lye erya hadiweya e Kalagala omugenzi gy’abadde akolera era ne bagendayo. Wabula baabadde baakatandika okumenya oluggi omukuumi kwe kubalaba n’akuba enduulu ne badduka ne basuulawo ebyuma byabwe. Akulira poliisi y’e Mpigi, Ronald Mugarura yagambye nti banoonyereza ku ttemu lino. Baatutte ebyuma ebyakozeseddwa era n’asaba abantu okuyamba ku poliisi okubazuula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza