TOP

Omusawo asimattuse okugajambulwa

By Musasi wa Bukedde

Added 26th September 2017

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Ndo1 703x422

Barch eyasimattuse.

SITAMPU ebizadde. Omusawo w’ebyobulamu ku Ggombolola y’e Nabweru asimattuse okugajambulwa abatuuze n’e Nakyesanja - Kawanda mu disitulikiti y’e Wakiso bwe bamuteeberezza okubeera omufere.

Samuel Barch yagenze e Nakyesanja n’atandika okuggya ku basuubuzi omusaayi azuule oba tebalina ndwadde ze bayinza kusiiga bakasitoma baabwe. Obuzibu bwavudde ku sitampu gye yabadde nayo ng’abamu bagamba erabika njingirire.

Abakulembeze b’ekitundu okuli ow’abakyala Nnaalongo Kizito baagenze okutuuka okutaasa Barch ng’abasuubuzi bamuli bubi, bakuba, okutuusa lwe baayise poliisi n’emutwala wakati mu bukuumi obw’amaanyi.

Nnalongo Kizito yagambye nti Gavumenti erina okusooka okusomesa abasuubuzi ku ngeri gye balina okukeberwamu omusaayi naye ssi kumala gagwira bantu nga tebeetegese nga n’abamu tebalina ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...