TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

By Musasi wa Bukedde

Added 26th September 2017

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Lob2 703x422

Maama w’omugenzi ng’ayaziirana.

OMUKUUMI w’essinzizo ly’Abayindi erya Nakasero Temple e Nakasero asattizza Abayindi n’abaliranyeewo bw’asangiddwa ng’attiddwa omulambo gwe nga gusuuliddwa mu kizimbe munda.

John Ogwanga 32, mukyala we Sylivia Kashubya ye yamusanze ng’attiddwa oluvannyuma lw’obudde okukya nga takomyewo waka n’asalawo okugenda ku mulimu amunoonye. Kashubya yategeezezza nti baalidde bulungi ekyeggulo mu kiro ky’Olwokutaano nga bba mulamu wabula yabadde yeebase ekiro omwana n’azuukuka ng’akaaba nnyo ng’ayagala kuva mu buliri bwe abeere ne kitaawe.

Yamuggyeeyo n’amusirisa kuba kitaawe asula bweru ng’akuuma. Yagambye nti zaabadde ziwera saawa 7:00 ez’ekiro n’awulira omulanga wabula naye engeri gye yabadde mu tulo otungi yabadde ng’aloota era teyafuddeyo.

Obudde nga bukedde ku ssaawa nga 1:00 nnyazaala we kwe kumubuuza nti, naye nga John tadda. Kashubya yagambye nti yasazeewo agende alabe bba ky’akola. Yasoose kulaba ngatto nga ziri mu luggya lw’essinzizo nga yagenze okutunula mu mulyango nga yeevuunise kyokka ng’abunye omusaayi ng’alina ekiwundu ku mutwe. “Nakubye enduulu era abazze baagenze okwetegereza nga mufu”.

Ssentebe wa LC1, mu Zooni ya Nakasero Hill Village mu Kampala, Sam Kizza yagambye nti omugezi Ogwanga baakomye okulabagana naye mu kiro ky’Olwokutaano bwe baabadde bakutte omubbi w’ekigaali eyabadde akiggye mu kifo kino ne bamutwala ku poliisi ya Buganda Road n’aleka omugenzi ng’akola sitatimenti.

N’agamba nti kimubuuseeko okukeera ku makya ne bamugamba nti yattiddwa. Yagambye nti bateebereza nti omusajja gwe baatutte ku poliisi yandiba nga yeenyigidde mu ttemu lino. Yasabye poliisi okunoonya okuzuula ekituufu kuba batidde olw’engeri gye yattiddwaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gaba 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA ALEESE GANO...

Museveni afulumizza pulaani kakongoliro ku byokwerinda era n’alangirira nti eby’okutemula Kaweesi y’abyekwatiddemu....

Goba1 220x290

'Abasika mukomye okwezza ebintu...

Paasita Luciano Ronald Kivumbi owa Real Liberty Church, Luteete awadde amagezi abasika okukomya okweza ebintu...

Pala3 220x290

Muloope Abapoliisi abeenyigira...

PULEZIDENTI Museveni agambye nti obumu ku bumenyi bw’amateeka obugenda maaso mu ggwanga bwenyigiddwamu n’abamu...

Bika 220x290

UCU erwanira Women's Cup

UCU Lady Cardinals erina omukisa okuzza ku nsimbi ze yasaasaanya okukansa bassita ba ttiimu y’eggwanga abasatu,...

Twala 220x290

Eng'onge eri ku Ngabo

BAZZUKULU ba Nakigoye Abekinyomo, baakamudde aba Kisoro (Abehhonge), entuuyo mu mpaka z'emipiira gy’Ebika by'Abaganda...