TOP

Abakazi abalala babiri battiddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 27th September 2017

Abakazi abalala babiri battiddwa

Nun2 703x422

Omugenzi Nantege attiddwa mu bukambwe. (wakati) n’abaana.

ABATEMU abatta abakazi bongedde okweraliikiriza abatuuze b’e Mpigi omukyala omulala bwattiddwa mu bukambwe mu kiseera kye kimu omuwala omulala n’asimattuka abatemu ng’agenda okunaaba e Kabaale Baitababiri ku luguudo lw’e Ntebe. Obutemu obw’ekika kino bwasitudde ne Pulezidenti Museveni eyasisinkanye abatuuze b’e Katabi ne bamukaabira engeri abakazi gye battibwamu mu ngeri embi.

Museveni, yabasabye bakolagane bulungi n’ab’ebyokwerinda okusobola okutereeza embeera. Wabula abatemu baalumbye omuwala omulala ku kyalo Kabaale Kawafu mu ggombolola y’e Katabi mu kiro ekyakeesezza eggulo.

Annette Nagasha 20, abasajja babiri baamusanze waka ng’agenda mmanju ku ssaawa nga 2:00 ez’ekiro ne bamutaayiza. Agamba nti abasajja bano baamututte mu nsiko gye baasanze abasajja abalala 20 nga kuliko abambadde “wovulo” ate abalala nga bambadde essaati ne bamwekebejja omu kwe kugamba banne nti, “ono alina enkovu” nti kyokka abalala nga bwe bagamba nti “tetumuleka kugenda kubanga atulabye” ko omulala nti “tumusaleko omutwe” wabula oluvannyuma ne bamuleka ne badduka olwo omuwala n’agenda ku poliisi.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’oku Baitababiri, Patrick Sembatya baasobodde okutaasa omuwala wabula tebannakwatayo muntu yenna. Mpigi E Mpigi, abavubuka bana basobezza ku mukazi ekirindi oluvannyuma ne bamufumita ebiso n’ebiti mu mbugo ne bamutta omulambo gwe ne bagusuula ku kkubo nga bagwambudde. Kino, kyaggye abatuuze mu mbeera ne bataayizaako omu ku bavubuka bano naye ne bamukuba emiggo egyamuttiddewo.

Annet Namaganda 60, omutuuze w’e Kisubi mu ggombolola y’e Buwama mu Mpigi ye yattiddwa mu bukambwe ekibinja ky’abavubuka abayaga abaamuteeze ng’ava mu katale. Abaana ababadde bagenda ku ssomero be baagudde ku mulambo gwa Namaganda nga guli mu kitaba ky’omusaayi kyokka poliisi y’e Buwama bwe tuttewo embwa yaayo, yasibidde ku kifulukwa omubadde musula ekibinja ky’abavubuka ba kanyama era ne bakwatako omu wabula abalala ne badduka.

Kino kiggye abatuuze mu mbeera ne bakola omuyiggo ne bakwata abadde akulira ekibinja kino Kalooli Musenda ng’engoye ze zibunye omusaayi naye ne bamukuba ne bamutta. Abatuuze balumirizza mutuuze munnaabwe ategerekeseeko erya Ssenyama 50, okukulemberamu abavubuka bano okukola ettemu lino era poliisi ne mukwata n’abavubuka okuli Simon Ssempijja 23, Ronald Kiyemba 30 ne muto wa Musenda attiddwa abatuuze Kosima Ssemanda 19 ne batwalibwa ku kitebe e Mpigi gye bakuumirwa. LUWEERO Ate e Luweero, obutabanguko mu maka buvuddeko omukazi okufa.

Mmande Ddumba 40, omutuuze ku kyalo Ngogolo mu ggombolola y’e Butuntumula aliira ku nsiko oluvannyuma lw’okulumba eyali mukazi we Justine Nantege 26, mu kazigo gye yabadde yanobera n’amusala obulago. Ddumba ne Nantege babadde baayawukana nga Nantege yafuna akazigo mu Kasoma zooni e Luweero gye yamusanze okumusala obulago n’amutemako emikono n’amagulu.

Ettemu lino, lyabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri era baliraanwa ba Nantege balumiriza nti, Ddumba abadde aludde ng’akola effujjo ku muzigo Nantege kw’abadde apangisa. Omu ku mikwano gya Nantege ataayagadde kumwatuukiriza mannya yagambye nti omugenzi abadde yayawukana ne Ddumba gw’alinamu omwana omu ow’emyaka 12 emyezi etaano egiyise oluvannyuma lw’okumusalako okutu.

Yagasseeko nti bwe yamanya gye yanobera abaddenga agendayo n’amutiisatiisa era ensonga zaatuukako ne ku LC wabula Ddumba n’abategeeza nti ye talina kyatya kyonna n’abalaalika nti essaawa yonna ajja kumukola ekintu.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Savana Paul Kangave yagambye nti, baayazizza amaka ga Ddumba mu kaweefube w’okumuyigga ne batuukakone mu b’emikwano naye tebanamufuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...

Simba 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi