TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri akafubo ka Kayihura ne Kadaga gye kaasazeewo ebyaddiridde

Engeri akafubo ka Kayihura ne Kadaga gye kaasazeewo ebyaddiridde

By Musasi wa Bukedde

Added 28th September 2017

Engeri akafubo ka Kayihura ne Kadaga gye kaasazeewo ebyaddiridde

Kub2 703x422

Poliisi ng’etwala omubaka Odonga Otto owa Aruu.

PALAMENTI nga tennatuula, Gen. Kale Kayihura yasoose mu ofiisi ya Sipiika Rebecca Kadaga, era ababaka abawagira ekiteeso ky’okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti ne bawulirwa nga bagamba nti “Otyo…. kati omuzannyo guweddewo”. Wadde ng’olukiiko lwa Kadaga ne Kayihura terwakkiriziddwaamu bannamawulire, kyokka ensonda zaategeezezza nti abakulu bombi bakkaanyizza okuteekawo obukuumi obumala munda mu Palamenti n’ebweru waayo.

Ababaka abawakanya ekiteeso obwedda bagamba nti okujja kwa Kayihura tekubayigula ttama, kuba obuyinza bwe bukoma bweru; wabula baafunyeemu okutya nga balaba abasajja abali mu masuuti be batalabangako nga balawuna wano na wali. Obumotoka bwa poliisi obufaanana bwe batera okutambulizaamu embwa enkambwe, bwaleeteddwa ku Palamenti.

Kano kaabadde kabonero akalaga nti anaaguguba mw’ajja okutambuzibwa bamwongereyo nga bwe kizze kikolebwa ku bannabyabufuzi abamu okuli Loodi Meeya, Erias Lukwago ne Ssenkaggale wa DP Norbert Mao be baakatambulizaamu. Abaserikale ba poliisi baalabise nga bakola nnyo okukira bulijjo ku ngeri gye baabadde baazaamu abantu obwedda abayingira mu Palamenti.

Okwesika ebitogi wakati w’abaserikale n’ababaka ba Palamenti kwatandikidde mu kibangirizi ekisimbwamu emmotoka wansi w’ekizimbe. Obuzibu bwavudde ku baserikale okugezaako okulemesa ababaka okwabadde Joseph Ssewungu (Kalungu West), Francis Zaake (Mityana Munisipaali) Mubarak Munyagwa (Kawempe South) n’abalala okuggyayo enkoofiira emmyuufu mu mmotoka zaabwe.

 

Abaserikale baasoose kugaana bannamawulire okukwata ebyabadde bigenda mu maaso. Bannamawulire abamu baakoseddwa nga beesindika n’abaserikale obwedda abalagira abaamawulire okudda waggulu gye baavudde.

Katikkiro wa Uganda ng’ali n’omumyuka wa Ssaabawolereza wa Gavumenti, Mwesigwa Rukutana beesozze akafubo ne Sipiika Kadaga ne babeerako ensonga ze baayogeddeko ezeekuusa ku lutuula lwa Palamenti olwabadde luyiise ku Lwokubiri.

Rugunda yategeezezza bannamawulire ng’avudde mu lukiiko nti baabadde bateesezza ku nsonga nnyingi ze yagaanyi okulambulula, kyokka nga zonna zeekuusa ku nzirukanya y’emirimu ku Palamenti.

Ye Rukutana yakakasizza nti ensonga y’ababaka abawakanya ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti y’emu ku byayogeddwaako. Kigambibwa nti akafubo kano kaawedde bakkiriziganyizza nti k’abe lubaale k’abe Katonda olukiiko lw’eggulo lwabadde lulina okukomekkerezebwa ng’ekiteeso kya Raphael Magyezi kyanjuddwa.

Kyakkaanyiziddwaako nti ababaka abanaaguguba baabadde balina okufulumizibwa n’eryanyi. Muwanga Kivumbi (Butambala) yategeezezza bannamawulire nga bagenda okuyingira nti baabadde bagudde mu lukwe lwa Sipiika okulagira ababaka abawagira ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka bafulumizibwe ku kifuba.

Kyokka yaweze nti baabadde beetegefu okufiira mu Palamenti kyokka nga tebakkirizza muntu yenna kufulumya mubaka yenna mu Palamenti. Obutafaanana nga ku Lwokubiri ababaka lwe bajja nga beesibye obutambaala ku mutwe, eggulo ababaka abasajja bazze bambadde enkoofiira emmyuufu.

Latif Sebaggala (Kawempe North) yagambye nti ku Lwokubiri Sipiika yabawalirizza okuggyako obutambaala obumyufu ku mutwe kuba bwali tebukkirizibwa mu mateeka. Kye bava baasazeewo okwambala enkoofiira emmyuufu kuba tezikontana na mateeka ga byambalo.

Ensonda zaategeezezza nti Sipiika yabategeezezza nga bw’asazeewo okufulumya ababaka 25 era kyakkaanyiziddwaakookuleeta abaserikale beegatte kw’abo aba Palamenti okukwata ababaka bonna abanaajeemera ekiragiro kya Sipiika babafulumye. Abaserikale abaabadde bagenda okuleetebwa baabadde balina kwambala masuuti okufaanana n’abo abakuuma Palamenti. Abaserikale bano be baayiikidde ababaka abawakanya ekiteeso ky’okuggyawo ekkomo ku myaka era olutalo ne lutandika.

EKYABADDE EBWERU NGA BAFULUMIZZA ABABAKA Mu kufulumya ababaka okuva mu Palamenti, baasoose kuggala nguudo zonna ezeetoolodde Palamenti. Odonga Otto (Aruu) ye yasoose okufulumizibwa n’ateekebwa mu mmotoka ya poliisi eya bbulu.

Oluvannyuma abaserikale abaabadde bambadde engoye ezaabulijjo baayingidde mu kibinja ne batandika okufulumya ababaka ssekinnoomu, era abasinga baabatuusizza ebweru ng’empale baziwanise waggulu.

Francis Zaake (Mityana Munisipaali) baamutuusizza ataawa ekyalowoozesezza abantu nti yabadde azirize. Yabadde aggyiddwaamu engatto n’ekkooti era baamuleese bamuwaniridde mu ngalo ng’ekiteteme nga yenna alambadde! Baasoose kumuteeka mu mmotoka mwe baabadde basibidde banne, kyokka ababaka ne balaajana nti munnaabwe afa.

Kino kyawalirizza abaserikale okumuggyamu ne bamuteeka mu kabangali ya poliisi endala eyamuddusizza mu ddwaaliro eritaategeerekese. Ababaka abakyala okwabadde Betty Nambooze (Mukono Munisipaali) baabatwalidde mu kamotoka akeefaanaanyirizaako akatambuza embwa. Monicah Amodingi (Koboko Munisipaali) baamutwalidde mu kabangali ya poliisi.

Waliwo ababaka abaalumiziddwa nga Angeline Osegge (mukazi, Soroti) mu kulwanagana n’abaserikale era bano baabatambulizza mu mmotoka za ambyulensi okubongerayo mu malwaliro okufuna obujjanjabi. Ababaka abalala okuli Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) ne Nandala Mafabi nabo baabakunguzza nga babakutte jjeeke ne bayingizibwa mu mmotoka ya poliisi ne babaggyawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...