TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubaka Abiriga kkooti emuyise ku by’okufuka ku kkubo

Omubaka Abiriga kkooti emuyise ku by’okufuka ku kkubo

By Musasi wa Bukedde

Added 29th September 2017

Omubaka Abiriga kkooti emuyise ku by’okufuka ku kkubo

Beb1 703x422

Omubaka Abiriga

KKOOTI ya KCCA eyise omubaka Yusuf Ibrahim Abiriga (Arua Municipality) agyeyanjulire nga October 6, 2017, oluvannyuma lw’okukkiriza nga bwe yafuse ku kikomera kya Minisitule y’eby’ensimbi okuliraana Palamenti.

Ekiwandiiko ekimuyita okweyanjula kyavudde mu kwemulugunya okwakoleddwa kansala w’omuluka gw’e Nakasero III, Hamza Kagimu. Kagimu yeemulugunyizza KCCA n’agisaba eggule omusango ku mubaka Abiriga olw’ekikolwa ky’okufuka kkubo ekiwa ekifaananyi ekibi. “ Abiriga yamenye etteeka erifuga eby’obulamu mu KCCA.

Yajamawazza ekibuga n’okwonoona obutonde bw’ensi. Omusulo gwe guyinza okuvaako endwadde ez’enjawulo mu Kampala ssaako okuwunyisa ekibuga n’okusikiriza ensowera okutabula Kampala,” Kagimu bwe yakirambise mu kiwandiiko kye yatutte mu KCCA.

Ku Lwokubiri, omubaka Abiriga bwe yabadde ku Palamenti yakkirizza nti yafuse ku kkubo kubanga omusulo gwabadde gumuluma kubanga yanywedde sooda mungi. Bino byabaddewo ku Mmande akawungeezi.

Mu kiseera kye kimu Abiriga era baamuwaabidde ewa minisita wa Kampala, Beti Namisango Kamya amubonereze ssaako ne ofiisi ya Loodi Meeya, Erias Lukwago ne Meeya wa Kampala Central olw’ekikolwa ekyo. Omubaka bamulumiriza nti yabadde asobola okuddayo ku Palamenti, okuyingira mu KCCA oba okwanguwa n’ayingira wooteeri ssaako okukozesa kaabuyonjo za KCCA ezolukale eziri mu Kampala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....